Anita Kyarimpa asinga okumanyika nga Anita Fabiola Munnayuganda omuzannyi wa firimu, ambassador w'ebyokulambula, Omwoogezi ku mikolo, munnabizinensi, era eyaliko nalulungi.[1] Mu Gwokubiri 2019 yalondebwa nga ambassador w'ebyokulambula akulira campaign ya "Tulambule" nga akolagana ne Uganda Tourism Board okutumbuula eby'okulambula a okweetooloola Uganda yonna.[2] Nga tanatandika kuweereza ku pulogulaamu ya Be my date ku NTV mu 2014, Fabiola yafuuka [./Miss_Ugandahttps://en.wikipedia.org/wiki/Miss_Uganda Nalulungi wa Uganda] owomu Bugwanjuba era ne first runner-up mu mpaka z'obwanalulungi wa Uganda yonna mu musono gwa Miss Uganda beauty pageant mu 2013.[3] Era amanyikiddwa okwoogerera emikolo gya Afirika eminene egy'oku red carpet. Muno mulimu Africa Magic Viewer's Choice Awards mu Nigeria (2016), Namibia Annual Music Awards (2016 ne 2017), Ghana Movie Awards 2017, [./2016_Ghana_Music_Awardshttps://en.wikipedia.org/wiki/2016_Ghana_Music_Awards Ghana Music Awards 2016],[4] Glitz Awards Ghana 2017, Abryanz Style and Fashion Awards 2016 omuli n'endala.[5]
Ku myaaka 12 yali model ku Arapapa modelling agency. Mu kiseera kino, yakola bu catwalks n'obulango bwa Flair Magazine mu 2008.[6] Nga asoma mu siniya, Fabiola yettaba mu mpaka z'obwanalulungi mu somero ekyasobozesa okumuwa ebittiibwa nga, Miss London College, Miss St. Lawrence schools ne colleges. Kino kyamuleetera okwetaba mu mpaka z'omugwanga lyonna, Miss High School Kadanke mu 2012 zeyawangula, ezaamufuula "Miss Kadanke" eyasookera ddala.
Mu 2013, Fabiola yettaba mu mpaka z'obwa nalulungi wa Uganda era n'aweebwa engule ya Nalulungi w'omubugwanjuba bwa Uganda era naafuuka First runner first runner-up mu mpaka zonna ez'obwa Nalulungi wa Uganda yonna mu 2013[7]
Fabiola yatandika eby'emirimu gye ku ttivi mu 2014 nga aweereza n'okukufulumya pulogulaamu ya Be my date ku NTV eyalagibwanga buli Sunday ku saawa bbiri ez'ekiro. Mu 2014 pulogulaamu yalondebwa nga eyo pulogulamu esanyusa abantu ekyaasinze okulabibwa mu Uganda.[8] Oluvanyuma, olwa pulogulaamu okukola obulungi, Fabiola yasunsulibwa mwabo era nawangula engule ya 2015 Buzz Teeniez Awards ey'omuweereza w'oku TV omukyaala asinga.
Nga omuzannyi wa firimu, Fabiola amanyikiddwa nnyo okuzannya nga Angella mu firimu ya NTV eyadibwaamu eya telenovela, Second Chance eyafulumizibwa mu Gwekkumi 2016 ku ttivi station y'emu. Naye, olw'okuba yalina ebyokukola bingi, yalekulira pulogulaamu okusobola okukola ebya bizinensi okwetooloola ensi yonna. Fabiola era yazanyirako mu firimu ya the 2015 series Studio 256 era eya NTV.[9] She also starred in the 2013 Bollywood Malayalam thriller, Escape from Uganda nga Oldra.
Fabiola kati aweereza ku pulogulaamu y'Omuziki n'ebisanyusa , "Katch Up" elagibwa bbuli lwakuttaano ku NBS TV.[10]
Fabiola era aweereza ku mikolo ejenjawulo mu kolerero ly'ebyokusanyusa mu Ugandan omuli Hip Hop Awards 2016, Uganda Entertainment Awards 2017, Miss Uganda 2016, Tekno ne ku kivulu kya MR. Eazi, Belaire launch omuli ebirala.
Mu 2018, yafuuka Munnayuganda eyasookera ddala okwanirizibwa ku bikujuko bya bakungu ebya Cannes Film Festival era n'atambulira ku carpet emyuufu ku mukolo ogwaaliko abatutumufu amanyikiddwa bboka.[11]
Yatongoza puloogulaamu ye eya buli wiiki, "The Fabiola Podcast" ku Afripods, channel y'oku yintaneeti era App okuva mu Sweden. Nga amaliriza kino, yafuuka Munnayuganda ow'ebyamawulire eyasooka okuba nanyini n'okuweereza ku podcast ye.[12]
Mu Gwokubbiri 2019, yalangibwa nga ambassador w'ebyokulambula avunaanyizibwa ku campaign y'okulambula eya "Tulambule", eyalina okutumbula eby'okulambula mu Uganda.[13] Wamu ne ba ambassador banne abalala omwaali Salvador (Patrick Idringi), Gaetano Kaggwa, Marcus Kwikiriza and kickboxer Moses Golola, ttiimu yatambula mu bintundu ebyenjawulo mu gwanga nga balambula si panoramic landscape yokka[14] naye n'obuwangwa n'enono ezenjawulo nga bwe bakubiliriza ba na Uganda abalala okukola nga bo.[15]
Emirimu gya Fabiola okuyitamu obulungi kisikiriza ebitongole eby'enjawulo byalangiriddeko ebintu byaabyo. Abadde brand ambassador wa brand eziwerako nga, CAT footwear,[16] Paramour Cosmetics, Lux Belaire, Virginia Black MTN Pulse, Jumia Uganda, Lauma Uganda omuli n'ebirala[17]
AWARD | YEAR | COUNTRY | DETAILS |
Buzz Teeniez Awards | 2015 | Uganda | Omuwanguzi-Omuweereza wa ku TV Omukyaala |
Abryanz Style & Fashion Awards | 2016 | Uganda | Omuwanguzi-Most stylish TV personality |
Fabiola yatandikawo ekitongole kya Fab Girls Foundation n'ekiluubirirwa eky'okuzaamu abawala amaanyi nga ayita mu ngeri nga okubasomesa, obuyonjo, okubategeeza ku kawuka ka sirimu aka HIV/AIDS omuli n'ebirala. Ku ntandikwa ya 2019,yatongoza campaign, nga atunda calendar ze yekoledde nga engeri y'okuweza ssente.[18][19]
Fabiola yafumbilwa Mark Ronald Mukiibi ku mukolo gw'okwanjula ogwabalondemu ogumanyikiddwa nga okugamba obugyenyi mu 2022 oluvanyuma lw'omusajja ono okumusaba obufumbo mu 2021 mu Maldives.[20][21]
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)