Annet Negesa

 

Annet Negesa yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 24, mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 1992 nga munayuganda aduka eyali aduka emisinde gy'okwetoloola ekisaawe eyali yateeka esira mu mita 800. Yamenya likodi ya Uganda ey'eggwanga eya mita 800  n'eya mita 1500 bweyali akyali akyali mumyaka gy'ekitiini, ng'era yaliko kyampiyoni wa Uganda emirundi esatu mu misinde gya Ugandan Athletics Championships. Yakiikirira eggwanga lye mu misinde egyaliwo mu mwaka gwa 2011 egya [./2011_World_Championships_in_Athleticshttps://en.wikipedia.org/wiki/2011_World_Championships_in_Athletics World Championships in Athletics] ngera yeeyawangula omudaali ogwa zaabu mu mita 800  mu mizannyo All-Africa Games egy'omwaka gwa 2011.

Ng'akyali muto oba muyiga eyali adukira mu bali wansi w'emyaka 20, yawangula omudaali ogw'ekikome ne ttiimu eyali egenze mu misinde gya IAAF World Cross Country Championships mu mwaka gwa 2010, yawangula omudaali gw'ekikomo mu mita 800 mu z'omwaka gwa 2010 eza World Junior Championships in Athletics, n'emidaali gya zaabu ebiri mu misinde gy'omwaka gwa 2011 egya African Junior Athletics Championships. Yalondebwa okubeera munabyamizannyo ow'omwaka gwa 2011 ab'ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'emizinde mu Uganda ekya Uganda Athletics Federation.[1]

Negesa yalinamu enkula y'omusajja ekyamuviirako okubeera ng'oubiri gwe gukola nnyo. Wansi w'amateeka ekifuga abadusi munsi yonna oba ekidukanya ebibiina ebitwala abadusi kunsi yonna ekya International Association of Athletics Federations (IAAF), yalina okukendezaamu ku ngeri omubiri gwe gyegwali gukyukamu, okumusobozesa okuvuganya mu mitendera gy'abakazi. Negesa yagamba omugaso gw'okumulongoosa gwali gulemeseddwa okulaga olw'okuba baali bamugeerageranya kumpiso.[2][3] Obutalabirirwa bulungi nga bayita mu by'okumujanjaba kyamuviirako okufuna obuzibu ku mubiri, mu bwongo ebyaali biva mu kumulongoosa ekyamuvirako okukomekereza eby'okuduka emisinde. Yakomawo okuduka emisinde mu mwaka gwa 2017 mu misinde gya Ugandan Championships naye yamalako mita 1500 mu budde bwa 5:06.18 nga ye dakiika emu wansi kubudde bwe ekyamutekesa kumutendeka gw'omudusi wa kiraabu mukifo ky'omudusi omugundiivu.[4]

Empaka z'ensi yonna zeyetabyemu

[kyusa | edit source]
2010 World Cross Country Championships Bydgoszcz, Poland 14th Junior race 19:44
3rd Junior team 81 pts
World Junior Championships Moncton, Canada 3rd 800 m 2:02.51
8th (h1) 1500 m 4:22.14
Commonwealth Games New Delhi, India 4th (h3) 800 m 2:03.69
1500 m Template:AthAbbr
4 × 400 m relay Template:AthAbbr
2011 IAAF World Cross Country Championships Punta Umbría, Spain 66th Senior race 27:56
6th Senior team 148 pts
African Junior Championships Gaborone, Botswana 1st 800 m 2:04.94
1st 1500 m 4:09.17 Template:AthAbbr
World Championships Daegu, South Korea 18th (sf) 800 m 2:01.51
All-Africa Games Maputo, Mozambique 1st 800 m 2:01.81
7th 1500 m 4:24.32
2012 African Cross Country Championships Cape Town, South Africa 9th Senior race 27:58
3rd Senior team 1:53:17
African Championships Porto-Novo, Benin 6th 800 m 2:02.84

Engule z'awangudde

[kyusa | edit source]

Laba ne

[kyusa | edit source]

References

[kyusa | edit source]
  1. Uganda: Negesa Pips Kipsiro to 2011 Athlete of the Year Award
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190929090654/https://www.sportschau.de/hintergrund/schwere-vorwuerfe-gegen-iaaf-arzt-100.html
  3. Morgan, Tom (2019-09-27). Female athletes claim careers ruined after being 'coerced' into surgery to curb testosterone levels . The Guardian. Retrieved 2019-09-29.https://www.telegraph.co.uk/athletics/2019/09/27/female-athletes-claim-careers-ruined-coerced-surgery-curb-testosterone/
  4. Annet Negesa. IAAF. Retrieved 2019-09-29.https://www.iaaf.org/athletes/uganda/annet-negesa-252344