Bank of Uganda

Banka of Uganda ye bbanka enkulu eya Uganda . Bbanka eno yatandikibwawo mu 1966, era nga eteeka eryasibwa Palamenti lyajitondawo. Banka eno ya gavumenti ya Uganda era egirinamu emigabo kikumi ku kikumi kyokka nga bweguli mu mawanga amalala ne Bbanka ya Uganda enkulu ssi kitongole kya gavumenti Kino kiba bwekiti okusobola okutangira eby'obufuzi oba bannabyabufuzi okusensera enzirukanya y'ebyensimbi mu ggwanga ekiyinza okubidobonkanya n'okubigootaanya.[1] [2]

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Mu 1979 ne 1987, Bank of Uganda yassawo omuwendo gwa ssente ogw'essalira omuntu kweyali asobola okuvungisiriza ssente mu Uganda. Mu muwendo guno, buli ddoola ya America emu(1) yali ezitowa siringi za Uganda musanvu(7) [3] Mu mwaka 1987 ekitongole ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa ku byenfuna ki IMF kyatandika okuwagira okukulaakulannya Bbanka ya Uganda, era nekimaliriza omutendera ogusooka ogw’okussa ssente mu bbanka enkulu mu 1997 n'ekigendererwa eky'okujongera embavu. [4]

Mu lukungaana lwebyensimbi n'ebyenfuna olwa AFI Global Policy Forum olwatuula mu Riviera Maya mu ggwanga lya Mexico mu 2011, Bank yaUganda enkulu kye kimu ku bitongole 17 ebyasooka okussa omukono ku kiwandiiko ekyalimu obweyamo obw'okufuba okulaba nga abanyu n'ebitongole benyigira mu mirimu egivaamu ensimbi okusobola okulwanyisa obwavu Ekiwandiiko kino kyatuumibwa The Maya Declaration . [5]

Mu gwomukaaga gwa 2019, abamu ku bakungu ku madaala agawaggulu mu bbanka eno 7 baagobwa oluvannyuma lw’okulumiriza nti baali beenyigidde buteerevu mu kukubisa ensimbi ezaabwe ku lwabwe era nebaziteeka ku nnyonyi okuziyingiza mu ggwanga[6][7]

Obukelembeze mu Bbanka eno

[kyusa | edit source]

Bbanka ya Uganda enkulu erina Olukiiko olufuzi era nga luno lwelukola okusalawo okwenkomeredde ku nzirukanya y'emirimu mu bbanka eno. Akulira olukiiko luno olufuzi era naakubiriza entula zalwo ye Gavana oba omumyuka we mu kiseera nga gavana taliiwo.

Emirimu n’obuyinza bw’olukiiko luno birambikiddwa mu tteeka erifuga bbanka enkulu li Bank of Uganda Act. [8]Etteeka liwa obuyinza obwenkomeredde olukiiko olufuzi okuvunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu gya bbanka eno. Olukiiko luno era luvuaanyizibwa nekukubangawo enkola n'entegeka ezengeri ezitali zimu n'ekigendererwa eky'okulaba nga bbanka eddukanyizibwa bulunji.

Pulezidenti wa Uganda yalonda akulira bbanka eno ayitibwa Gavana n’omumyuka we era nga mu kukola kino yesigam ku magezi awamu n'okuwabulwa kw'olukiiko lwa ba minisita oluyitibwa kabineti. Ekisanja kya Gavana oba ssenkulu wa Bbanka kiba kya myaka etaano kyokka Pulezidenti ayina eddembe okukizza obuggya.[9] Nga ogyeko Gavana n'omumyuka we, ku lukiiko luno olufuzi kutuulako abantu abalala era nga omuwendo gwabwe tegukka wansi wa bana ate nga teguyina kusukka mukaaga era nga bano balondebwa minisita w’ebyensimbi era ekisanja kyabano kya myaka esatu nga kisobola okuzibwa obuggya Omuteesiteesi omukulu mu minisitule y'ebyensimbi era omuwandiisi w'eggwanika mu luzungu ayitibwa PSST naye atuula ku lukiiko luno nga omukugu naye takuba kalulu.[10]

Tumisiime Mutebile eyaliko gavana wa Bbanka ya Uganda enkulu(2001-2022)

Ekifo ky'obwa Gavana wa Bbanka ya Uganda kizze kibeeramu abantu banji okuva lweyatondebwawo mu mwaka 1966 era nga eyasooka ye Joseph Mubiru. [11]Kyokka akyasinze okukiwangaaliramu yeEmmanuel Tumusiime-Mutebile nga ono yali Gavana okuva mu mwaka 2001 okutuusa lweyafa mu January wa 2022 mu ddwaliro e Nairobi Mu Kenya.[12] [13]Okuva Mutebile lweyafa, Banka ya Uganda tebadde na gavana era nga omumyuka wa Gavana Micheal Atingi-Ego yaakola nga Gavana okuva olwo okutuusa leero.[14] Okubulawo kwa Gavana wa bbanka okumala ebbanga oluvanyuma lw'okufa kwa Mutebile kwavaako nebanna Uganda abamu okugenda mu kooti nga basaba erangirire nti ensimbi eziriko omukono gwa Atingi-Ego nfu kuba mu teeka tayina buyinza bukola ekyo nga omusigile wa gavana[15]

Amatabi

[kyusa | edit source]

Bbanka enkulu eyina amatabi ag'enjawulo kwetoloola eggwanga era nga gano egakozesa mu kuddukanya emirimu gyayo mu bitundu mwegasangibwa. Amatabi gegano wammanga; [16]

  1. Ettabi ly'e Arua - Arua
  2. Ettabi lya Fort Portal - Fort Portal
  3. Ettabi ly'e Gulu - Gulu
  4. Ettabi ly'e Jinja - Jinja
  5. Ettabi ly'e Kabale - Kabale
  6. Ettabi lya Kampala - Kampala
  7. Ettabi ly'e Masaka - Masaka
  8. Ettabi ly'e Mbale - Mbale
  9. Ettabi ly'e Mbarara - Mbarara

Laba nabino

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]

Emitimbagano emirala

[kyusa | edit source]
  1. https://www.investopedia.com/terms/c/centralbank.asp
  2. George Asiimwe (20 September 2022). "Government Has Never Borrowed From Us And Failed To Pay Back - Bank of Uganda". ChimpReports.com. Kampala, Uganda. Retrieved 20 September 2022.
  3. Richard Omongole (10 May 2020). "Bank of Uganda will kill the Ugandan economy after coronavirus". Pmdaily.com. Retrieved 5 June 2020.
  4. https://www.imf.org/external/np/pfp/uganda/uganda.pdf
  5. Alliance for Financial Inclusion (30 September 2011). "Maya Declaration Urges Financial Inclusion for World's Unbanked Populations". PR Newswire. Retrieved 20 April 2014.
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/police-recover-evidence-on-bou-currency-saga--1832432
  7. https://web.archive.org/web/20210526112940/https://taarifa.rw/bank-of-uganda-directors-fired-for-gross-fraud/
  8. https://archive.bou.or.ug/bou/bou-downloads/acts/bou_act/BoU_act_1969.pdf
  9. https://www.observer.ug/viewpoint/75714-what-does-it-take-to-have-a-central-bank-governor
  10. https://kampalapost.com/content/josephine-ossiya-reappointed-bank-uganda-board-member
  11. https://archive.bou.or.ug/bou/bou-downloads/misc/Joseph_Mubiru_PROFILE.pdf
  12. https://www.theeastafrican.co.ke/tea/business/bank-of-uganda-governor-mutebile-dies-in-nairobi-3691848#google_vignette
  13. Nelson Naturinda (24 January 2022). "Bank of Uganda Governor Mutebile Dies in Nairobi". The East African. Nairobi, Kenya. Retrieved 20 September 2022.
  14. https://www.independent.co.ug/governor-atingi-ego-steps-out-of-mutebiles-shadow/
  15. https://www.independent.co.ug/citizen-petitions-scrap-of-all-uganda-shilling-notes-and-coins-in-circulation/
  16. Bank of Uganda (29 September 2016). "Bank of Uganda Branches And Currency Training Center". Kampala: Bank of Uganda. Archived from the original on 13 March 2016. Retrieved 29 September 2016.