Betty Lalam

  Betty Lalam munayuganda omusomesa, ng'era y'omu kubaali baawambibwa abayeekera b'ekibinja kya Lord's Resistance Army.Y'akulira ekifo ekibuda buda abantu abaatataganyizibwa olutalo, ekiyitibwa .[1]

Obulamu bwe, n'emirimu

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1994, Lalam bweyalina emyaka 14, yawambibwa abayeekera okuva mu kibiinja kya Lord's Resistance Army okuva mu maka gaabwe agaali mu gombolola ly'e Koro, erisingaanibwa mu disitulikiti y'e Amuru, mu bukiika ddyo bwa Uganda.[1]

Maama wa Lalam teyasoobola kutuusa lunaku luddako kuba y'omu kubaatemwa temwa abayeekera b'ekibiinja kya Lord's Resistance Army (LRA) abamusingaana mu nyumba yabwe olunaku lwerumu. Wabula kitaawe eyali yasooka okukakibwa abayeekera okwetika esepiki enene ezaali zijuddemu ennyama, yatibwa oluvannyuma lw'okwemuliugunya olw'okubeera nga yeyeetise ebintu by'ekika bwekiti ng'ate byaali bizitowa. Yagenda mu maaso ng'alaba okutibwa okulala, okutulugunya, ogw'obuliisa maanyi, n'engeri nnyingi ezaali ez'okumala abantu emirembe, nga bino byonna byali bikolebwa abayeekera b'ekibiinja kya LRA. Mu mwaka gwa 1995, Lalam yafuna akakisa k'obulamu bwe ak'okutoloka okuva mu buwambe, abayeekera aba LRA webaali balumbye akabuga Atiak, mu disitulikiti y'e Amuru. Oluvannyuma yagenda mu Kampala okubeera ne muganda we, nga bw'anoonya kyeyali asobola okukola. Lalam yatandika okutunda omwenge omuganda asobola okukungaanya ssente okweweerera mutendekero erisomesa eby'emikono mu kutuunga, n'okutona tona. Obukugu bwe obwamuyamba okwegulirawo enzigi z'ebirubirirwa bye eby'enjawulo.[1]

Oluvannyuma lwa koosi eyo, yafuna omulimu mu kitongole kya Gulu Support Children Organization (GUSCO) ekiyamba abaana nga kisingaanibwa mu disitulikiti y'e Gulu,[2] nga kiri mu kitundu ng'era kikolaganan'aba World Vision okuyamba okufunira abo abatataganyiziddwa entalo, n'abaana ababadde abajaasi, nga kibawa okubudabudibwa, n'obuyambi obwabulijjo. Mu mwaka gwa 2004, yalekulira omulimu gwe n'atandika olugendo olutaali lwangu, ng'ayamba abakazi n'abawala ababeera bavudde mu kuwambibwa, nga yalitandikira wabweru w'omuzigo gwe gweyali apangisa, n'abwala 5, beyatandekera kubweereere nga tewali gw'asasuza, n'akozesa ekyaalani kimu, wabula obudde webwagenda butambula, bano beeyongerako obungi.[3]

Mu mwaka gwa 2006, Lalam yateeka omukono kundagaano nekitongole kya World Vision, okutendeka abakzi 60 n'abawala abaali bavudde mukuwambibwa, yakozesa ssente zeyali afunye okuva ndagaano ab'ekitongole kya World Vision gyebaali baamuwa okugula ettaka kweyateeka amaka agabeeramu abantu ababeera batatagayizibwa entalo, nga gayitibwa ''Gulu War Affected Training Centre''.[4]

Mu mwaka gwa 2008,ekirooto kya Lalam kyatukirira, omubaka w'eggwanga lya South Afrika mu Uganda, Thanduyise Henry Chiliza, bweyeeyama okuzimba ekifo webatendekera, nga baakozesa kampuni y'e South Afrika eyitibwa Eskom.[5] Ekyava mu bino kwaliko ebibiina, ebisulo, eterekero lya kompuyuuta era mwebazisomera byebazimbibwa. Mu mwaka gwa 2010, ekifo kino ekya Gulu War Affected Training Centre kyagulwawo mu butongole, ng'era okuva kulunaku olwo okusinziira ku kifo kino, kyakatikira abayizi 4,300 okuva mu koosi z'emikono ez'enjawulo gamba g'okukanika, okusiba enviiri, okutungisa ekyalaani, okufuma n'okudukanya ebya bizineensi.[6][7]

Okumusiima

[kyusa | edit source]

Yasiimibwa ng'omu kubakazi 100 abalondebwa omukutu gwa ttivi ogwa mawuliri ogwa BBC mu mwaka ga 2014.[8]

Laba ne

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/news/av/world-africa-29809674
  2. Gulu Support Children Organization (GUSCO)
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://nilepost.co.ug/2021/02/12/meet-betty-lalam-a-heroine-in-the-lives-of-more-than-4000-former-lra-captives/
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/changing-lives-in-gulu-through-skills-training-1610428
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.gov.za/address-deputy-minister-correctional-services-hlengiwe-mkhize-launch-training-centre-women-survivors#
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://newafricanmagazine.com/20257/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.eskom.co.ug/node/115
  8. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/news/world-29758792