Template:Infobox university Bugema University (BMU) ssettendekero ya ngattikantondwa mu Uganda addukanyizibwa ku nnono n'empisa z'ekkanisa y'Abaadiventi. Bugema University ye emu ku matendekero agatambulira ku nnono n'enjigiriza y'Abaadiventi, enjigiriza y'ekikulisitaayo ekwata ekifo eky'okubiri mu mu nsi yonna.
Ssettendekero eno eri ku ttaka eriweza yiika 640 (1.00 sq mi), mu Kalagala sub-county, Bamunanika county, mu ddisitulikiti ya Luweeroesangibwa mu kitundu eky'omu masekkati ga Uganda. Ettabi ekkulu liri ku bugazi bwa kkiromita 33 (21 mi) bw'ogoberera oluguudo era nga lisangibwa mu bukiikakkono-vvanjuba bw'ekibuga kya Uganda ekikulu, Kampala. Liri ku bugazi bwa kkiromita nga 18.2 ku luguudo oluli mu bukiikaddyo bw'akabuga k'e Ziroobwe, ku luguudo oluva e Gayaza ne ludda e Ziroobwe (Gayaza–Ziroobwe Road). Obugazi bw'ettabi lino buli 0°34'10.48"N, 32°38'30.55"E (Latitude: 0.57; Longitude: 32.6418).
Ettendekero lino lyatandikibwawo mu mwaka gwa 1948 ng'ettendekero ly'abasomesa n'abasumba b'ekkanisa y'abaadiventi mu buvanjuba bwa Africa. Mu kiseera ekyo lyali liyitibwa Bugema Missionary Training School. Oluvannyuma ennyo, erinnya eryo lyakyusibwa ne lifuuka Bugema Missionary College ate nalyo ne likyusibwa okufuuka Bugema Adventist College.
Mu mwaka gwa 1976, ekitongole ky'ebyenjigiriza mu Uganda n'ekibiina ekitwala ekkanisa y'Abaadiventi byawa Bugema Adventist College olukusa okusomesa ddiguli mu busumba n'obuweereza (Bachelor of Theology). Ebbanguliro lino lyali lyasaba dda olukusa olulikkiriza okusomesa ddiguli y'obusumba naye ekitongole ky'ebyenjigiriza ne kikomba ku erima kubanga mu kiseera ekyo, Makerere University ye ssettendekero yokka eyali ekkirizibwa okusomesa amasomo ga ddiguli mu ggwanga. Abayizi 35 be baasobola okwewandiisa era ne batandika okubangulwa mu buweereza n'obusumba. Musumba ne muky. Villagomez wamu ne musumba Gary Fordham be baali abayigisa b'abayizi abo mu kiseera ekyo. Idi Amin, eyali omukulembeze w'eggwanga mu kiseera ekyo bwe yawera ekkanisa y'Abaseveniside mu Uganda mu mwaka gwa 1977, okutendeka abayizi mu ssomo lino kwajjululwa ne kuzzibwa e Nairobi okumala akaseera akatonotono era mu mwaka gwa 1978 ne wabaawo abayizi abaasooka okutikkirwa era ne baweebwa ddiguli mu busumba n'obuweereza (BTh). Nga wayiseewo akaseera, ebbanguliro lino lyazzibwa mu lusiisira lw'ekkanisa olw'abavubuka mu kifo ekiyitibwa Watamu ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Mombasa okutuusa Amin bwe yava mu Uganda. Reuben Mugerwa yamaliriza ddiguli ye ey'okubiri ku Andrews University n'oluvannyuma n'afuuka omu ku bayigisa b'essomo lino. Ebbanguliro lino oluvannyuma lyazzibwa ku ttabi ly'e Bugema.
Ebbanguliro lino lyatandika okugaziwa. Ku nkomerero y'emyaka gy'ekinaana (1980s), amasomo g'ebyenfuna n'ago ag'ebyobusomesa gaatandikibwa okusomesebwa. Mu 1994, Bugema Adventist College yakyuka okuva ku ddaala ly'ettendekero n'efuuka ssettendekero. Mu 1997, Bugema University yaweebwa ebbaluwa okuva mu kitongole ky'ebyenjigiriza n'ebyamizannyo egikkiriza okuweereza ng'ettendekero erya waggulu.
Bugema University erimu amabanguliro gano wammanga:
Ebbanguliro ly'abo abasoma ddiguli ey'okubiri/ey'okusatu ku Bugema University likolagana ne University of Eastern Africa, Baraton mu Kenya okusomesa amasomo agamu. Ebbanguliro lino era likolagana ne Central Luzon State University mu kusomesa amasomo agamu ate era nga y'entabiro y'ensomesa-nnamutimbagano ey'amasomo agamu agasomesebwa abayizi abasoma ddiguli ey'okusatu ku Central Luzon State University mu Philippines.
Gano wammanga ge masomo agatendekebwa ku Bugema University: