Daniel Kipkorir Chepyegon

Daniel Kipkorir Chepyegon (yazaaliwa nga1 Ogwomukaaga 1986) Munnayuganda omukugu mu [1]misinde egya mubunabyalo.

Yamalira mu kifo kyamunaana mu misinde mubunabyalo egya Nairobi Marathon nga yamalira mu ssaawa 2:14:54.[1] Yalondebwa mu misinde mubuna byalo egy'abasajja egya 2009 World Championships in Athletics era ye munnayuganda yekka eyamalako olw'okaano mu kibuga Berlin, nga yamalira mu saawa 2:17:47 mu kifo kya 31.[2] Yaddukira esaawa 2:17:07 mu kifo eky'okuna mu misinde gya 2010 Kuala Lumpur Marathon.[3]

Yadduka mu misinde gya 2010 Frankfurt Marathon era yaddukira esaawa 2:08:24ng'amalira mu kifo ky'akutaano.[4] Okudduka kuno kwateekawo omutindo okuva ku gwa Alex Malinga eyalina likodi y'ayuganda. Omutendesi we, Ronnie Kasirye, yagamba nti obuwanguzi bwa Chepyegon bw'ayoleka obusobozi bw'eggwanga mu misinde egy'amubunabyalo: "kiraga nti ekitone mwekiri era ky'etaaga kutumbulwa n'akutendekebwa kulungi". Mu myaka ena, Chepyegon yali avudde mu ssa ly'abaddukira mu bigere mu kibuga Kampala n'afuuka omuddusi omukugu akontana n'abaddusi abasinga mu nsi yonna.[5]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. http://www.iaaf.org/statistics/toplists/inout=o/age=n/season=2008/sex=M/all=n/legal=A/disc=MAR/detail.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2010-04-30. Retrieved 2022-11-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2010-02-24. Retrieved 2022-11-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://www.iaaf.org/LRR10/news/newsid=58625.html
  5. http://www.newvision.co.ug/D/8/30/736650

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]
  • Daniel Kipkorir Chepyegon ku musinde gy'ensi yonna egya World Athletics