David Otti yali omu ku batendesi ba Uganda abaali baweebwa ekitiibwa era omusambi w'omupiira mu Uganda eyaweebwa emidaali egiwerako. Yazaalibwa mu Gulu, Bukiikakkono bwa Uganda n'afiira ku myaka 71 nga 3 Ogwokusatu 2011 ku ddwaliroa lya Case MedCare Hospital mu Kampala.[1] Lipooti z'eddwaliro z'alaga nti yafa olw'omusuwa gw'omumawuggwe okuzibikira ng'omubiri gwe tegunnaba kutwalibwa mu ddwalro ekkulu ery'eMulago National Referral Hospital okwongera okwekennezebwa. Yali asumbuyibwa ekirwadde kya sukaali, ng'akyali mutendesi wa kiraabu ya Uganda eya Express FC, a Ugandan football club.[2]
Okugulu kwa Otti kwasalibwa mu Gwokutaano era oluvannyuma lw'emyaka ena n'atandika okulwanagana n'ekirwadde kya sukaali. Mu kaseera ke, yatendeka Kiraabu ssatu ez'amaanyi mu Uganda - Express, KCC and SC Villa.
Yasaasanya obukugu bwe bweyasalawo okukolera mu Kenya ng'atendeka Volcano United ne Gor Mahia (1981–83),[3] eya Somalia Mogadishu Municipal Council (1987–1990) n'eya Rwanda APR (1995–96) okwo kw'ogatta n'okuweereza ng'omukulembeze w'akakiiko k'eggwanga ak'ebyemizannyo aka National Council of Sports (NCS).[4]
Yali mu Express FC Otti gyeyakungirizibwa oluvanyuma lw'okubawangulira ekikopo kya liigi eky'asooka mu kiraabu oluvanyuma lw'ebyasa okuva mu 1993. Era ng'akyali eyo, yawangula ebikopo bisatu ebya Ugandan Cup. [1]
Otti ajjukirwa ng'omu ku batendesi b'omupiira mu Uganda ab'amaanyi era akulembedde mu kiraabu z'omupiira ez'amaanyi mu Uganda omuli Express, SC Villa ne KCC FC mu bikopo ebiwerako, era yali w'amaanyi mu bukugu bw'okulumba n'okuzibira.[5] Emirimu yagitandika mu myaka gya 1960, ng'azannyira mu Bitumastic ne Uganda Cranes (Ttimu y'eggwanga Uganda),[6] kw'ogatta n'empaka za 1968 African Cup of Nations. Emirimu gye egy'obutendesi yagitandika mu 1973.[7]
Era yatendekako Uganda Cranes, Ttiimu ya Uganda enkulu eyayitamu mu mpaka za Africa Cup of Nations ezaali zitojjera mu kibuga Cairo (1974) ne Ethiopia (1976).
Era alina obutendesi obw'enjawulo bweyakola mu Somalia ne Rwanda.
David Otti yali mufumbo eri Faith, era nga baalina abaana bataano, Richard Otti, Juddy Akello Olunga, Leonard Odong, David Ochan, ne Jackie Otti. Yaziikibwa mu Pece.[7]
<ref>
tag; name "Opiyo" defined multiple times with different content
Template:Uganda national football team managers