Dorcus Inzikuru yazalibwa nga 2 Ogwokubiri mu1982 ku kyalo Vurra mu disitulikiti ya Arua, nga munayuganda adduka emisinde emiwanvu egy'okwetoloola ekisaawe, wamu n'okuvuganya mu gy'okuduka nga bw'obuuka obuntu obubeera butekeddwa mu kubo nga bw'olinya mu mazzi. Yawangula emisinde gy'ensi yonna egy'okudduka nga wetoloola ekisaawe egya mita 3000, wamu n'omudaali gw'emisinde egyetabwamu amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza nga gwegwali gusooka mubulamu bwe mu mpaka ezo. Omutendesi we ye Renato Canova. Ebiseera ebimu erinya lye baliwandiika nga "Docus". Baalikyamya mu paasipooti nga ensobi eno yazuulibwa bweyali mu misinde gy'ensi yonna.[1]
Inzikuru yawangula omudaali gw'ekikomo mu misinde gya mita 5000 mu mpaka za Afro-Asian Games mu 2003 nga yamaliriza emabage wa Meseret Defar, ne Tirunesh Dibaba. Yawangula emisinde gy'okwetoloola ebyalo oluvannyuma lw'okuwangula buli yali azze mu munsisinkano za Eurocross mu mwaka ogwo.[2]
Mu 2005, ku mpaka z'ensi yonna mu Helsinki ekya Finland, Inzikuru yakomya okulindirira kwa Uganda okw'emyaka 33 okuwangula omudaali gw'ensi yonna mu mpaka z'ensi yonna bweyasitukira mu za mita 3000 egy'okuduka ng'obuuka obuuma obubeera butereddwa mu kubo nga bw'olinya mu mazzi, ng'addukiddewo obudde 9:18.24, nga mu kaseera ako, yali egwa mu kyamukaaga mu baali bakoze obulungi. Inzikuru yakimannya luvannyuma nti yali wakuweebwa 60,000 za doola za Amerika oluvannyuma lw'okuwangula ez'akamalirizo, ekintu kyeyagamba nti ssente zino yali wakuzikozesa mukuzimba ennyumba n'okuyamba abaddusi abato.
Yali avuganyizako mu mpaka za 2005 egy'ekibiina ekitegeka emisinde gy'okwetoloola ebyaalo munsi yonna mu mwaka ogwo, naye nga yamaliriza mu kifo kya 18. Mu 2006, yawangula emisinde gya Oeiras International egy'okwetoloola ebyaalo , wabula naava mu gya sizoni eyo egya egy'ensi yonna egy'okwetoloola ebyaalo.[3]
Oluvannyuma lw'emyaka ebiri nga teyeetaba mu misinde olw'okuba yali y'akamaliriza okuzaala omwana we eyali asooka Emmanuelle Munguci n'okufuna obujanjabi bw'obulwadde bw'ekiwanga ne alagye ezitali zimu, Inzikuru yakomawo okwetaba mu mpaka z'okuvuganya. Yawangula emisinde gya mita 800 egyali e Namboole ng'adduliddewo obudde bwa 2:12.0, oluvannyuma n'agamba:''Gino gy'emisinde gyange egisoose oluvannyuma lw'emyaka ebiri. Nkomawo bukomi era nga ndi musanyufu. Kindetera okubeera omuvumu era nekizimba okwekiririzaamu munzi".[4] Yavuganya mungeri eyali tekirizibwa wabula n'atasobola kukomyawo mutindo gweyalina mu misinde gy'okudduka ng'obuuka obuuma nga bw'olinya mu kadiba k'amazzi, n'atakamyawo likodi ya sizoni gyeyalina eyali enungi bweyaduka ng'obudde bwa 9:53.02 ne 9:54.50 mu 2010 ne 2011.[5]
Inzikuru yakomawo kuntiko y'emizannyo mu 2012 bweyaddukira obudde bwa 9:30.95 mu mpaka z'okudduka ng'obuuka obuuma, nga bw'olinya mu butaba bw'amazzi, n'asunsulwa okugenda okwetaba mu mizannyo gya Olympics wa 2012 eyali e London. Ekikujuko kino kyali kitambuddeko okuva lweyali yasemba okuwangula empaka, naye teyali wa sipiidi kimala kutuuka ku zakamalirizo.[6] Yadduka empaka za Weltklasse ne Internationales Stadionfest ezaali ez'amannyi mu Girimaani oluvannyuma lw'emizannyo gya Olympics, naye nga teyasobola yadde okumalira mu bifo 10 ebisooka. Mu 2013, yagezaako okuleeta amaanyi amapya mungeri y'okusitula ekitone kye bweyakyusa n'adda ku misinde gimubuna byalo wabula ng'ez'omulundi gwe ogwasooka mu gya Brighton Marathon yamaliriza ng'addukiddewo obudde bwa saawa 2:42:38, n'asubwa okutekawo likodi ya Uganda gyeyali agenderedde.[7]
Inzikuru yakulira ku kyalo ekiyitibwa Vurra mu disitulikiti ya Arua nga muwala w'omubuulizi omukulisitaayo. Bazadde bbe b'ombi baali baddusi balungi abaalina ekitone naye nga tebavuganya ku mutendera gwansi yonna. Yali wakusatu ku baana omunaana naye nga yafiirwa bannyina abakulu babbiri nga omu y'alina emyaka munaana ate omulala 14 olw'ekirwadde ky'ensiri n'eky'embiro .[8]
Inzikurru yafumbirwa omubalirizi w'ebitabo, Martin Bosco Acidri, eyaliko omudusi w'emisinde egy'akafubutuko nga bano baazaala omwana ow'obuwala, Emmanuela Munguci. Baayawukana mu 2012 Ogwokubiri.[9] Wabula bbaawe yafa mu 2013 Ogwekumi.[10]
Inzikuru atera kubeera era n'atendekera mu Turin ng'avuganyiza mu kiraabu ya Milan eya Camelot. Atera kutendekebwa n'omusajja alina likodi y'ensi yonna, Saif Saaeed Shaheen, nga bombi bagabana omutendesi Renato Canova.
Template:S-start Template:S-sports Template:Succession box Template:S-end