Ekisaawe ky'e Lugogo Stadium, era ekimanyikiddwa nga Lugogo Cricket Oval, ky'ekifo omuzannyirwa omuzannyo gwa Kuliketi mu Kampala, Uganda. Omuzannyo ogw'asooka okuteekebwa mu likodi gw'ali gwa Kenya Asians mu 1957 lw'ebazannya ne kilaabu ya Sunder Cricket.
Mu mwaka gw'ennyini Uganda yasooka okuzanyira mu kisaawe kino nga ttiimu y'eggwanga ezannya kilaabu ya Sunder Cricket.[1] Ekisaawe ky'ategeka omuzannyo gw'akyo ogwasooka mu first-class ttiimu ya East African Invitation XI bweyazannya ne Marylebone Cricket Club mu 1963.
Omupiira ogwaddako gw'azannyibwa mu 1967 nga ttiimu ey'awamu ey'abazannyi b'omukago gwa East Africa lw'eyazannya n'abagenyi ba India. Emizannyo egyaddako okuzanyibwa gy'ali mu 2005, Uganda mweyazanyira emizannyo gyayo egy'ekikopo kya Intercontinental Cup ng'evuganya Kenya ne Namibia.[2] Ekisaawe ky'e Lugogo ky'ekifo kyokka mu Uganda omutegekebwa omuzannyo gwa Kuliketi.
Okwetoloola ekisaawe kino, waliwo ebisaawe omuli ekisaawe kya tenisi n'eky'omupiira gw'ebigere nga ky'ekisaawe kya ttiimu ya Kampala City Council FC.