Emmanuel Tumusiime-Mutebile (27 Ogwolubereberye 1949 okutuusa nga 23 Ogwolubereberye 2022) yali Munnayuganda Munnabyanfuna era Omukozi mu Bbanka. Yaweereza nga Ssenkulu wa Ssenkulu wa Bbanka ya Uganda, eno ye eya bbanka enkulu eya Uganda okuva mu 2001 okutuusa lwe yafa nga 23 Ogwolubereberye 2022.[1]
Tumusiime-Mutebile yasomerako ku ssomero lya Kigezi College Butobere, nga eno gyeyamaliririza siniya eyookuna .[2] Yadda ku ssomero lya Makerere College School erisangibwa mu Kampala, Uganda, era gyeyamaliriza siniya eyoomukaaga.[3] Mu 1970, yayingira Makerere University, nga eno yalondebwa okubeera Omukulembeze W'abayizi omukulu.[3]
Yakakibwa okufuluma Uganda mu 1972 oluvannyuma lw'okwogera mu lujjudde nga awakanya eky'omukulembeze w'eggwanga Idi Amin okugoba abantu ba Asia. Yaddukira mu Bungereza nga ayitira Tanzania, era yasobola okumaliriza emisomo gye mu Durham University, nga yafuna Diguli Esooka naayitira ku ddaala ery'okubiri mu ssomo ly'ebyensimbi wamu n'ebyobufuzi.[4] Mu Gwekkumi gwa 1974, yatandika okusoma okweyongerayo era yatandikira ku Balliol College, mu Oxford, bwe yali tannaba kudda mu Buvanjuba bwa Africa. Yayingira Ssettendekero wa University of Dar es Salaam nga eno yali aliyo okusomesa era nookukola okunoonyereza nga bwasoma Diguli ye Ey'okusatu mu By'ensimbi.
Wakati w'omwaka 1979 ne 1984, Tumusiime-Mutebile yalondebwa ku bifo bingi mu gavumenti mu Uganda nga ava ku ky'omumyuka W'omuwandiisi Omukulu nadda mu ky'omukulembeze mu nnyumba y'omukulu w'eggwanga mu 1979, yadda mu kifo ky'omuyambi w'omuwandiisi mu kitongole ky'abapulaaningira eggwanga mu 198. Eno gyeyasuumuukira naafuuka Munnabyansimbi Omukulu era oluvannyuma naafuuka omukungu mu By'ensimbi mu 1984. Mu 1992, yalondebwa okubeera Omuwandiisi Ow'enkomeredde mu Kitongole ekipya ekyali kigatta okupulaaningira eby'ensimbi wamu n'enkulaakulana mu by'enfuna era nga ekitongole kino ekigatte yali yakisaba dda nga akyakolera mu Kitongole Ky'ebyensimbi ekyali wansi wa Gerald Ssendaula.[5]
Ye yali Ssenkulu wa He was the Ssenkulu wa Bbanka ya Uganda okuva mu 2001 okutuusa lwe yafa mu 2022.[6]Ye mukulu mu akayasinze okuweereza ebbanga eddene mu byafaayo bya Bbanka ya Uganda, era Ssenkulu wa Bbanka y'eggwanga akyasinze okulwa mu buweereza mu Africa okusinziira mu kiseera weyafiira.[7][8] Asiimibwa olwokuleeta ebiriwoozo ebizimba eggwanga era nga byatwalibwa gavumenti ya Uganda nga awabula Bbanka y'eggwanga mu myaka gya 1990s ne mu myaka ekkumu egyasooka mu gya 2000s.[5][9]
Okuva mu 2006, yalinga akyala nga ppulofeesa mu kifo awakolerwa emirimu gyessomo ly'ebyenfuna mu Makerere University, nga eno ye ssettendekero esinga obukulu noobugazi mu ggwanga. Tumusiime-Mutebile yeeyali Akulira owa International University of East Africa, nga eno ssettendekero ya bwannanyini eyatandikibwawo mu 2011, nga erina ettabi ly'omukibuga mu Kampala, ng a kino ky'ekibuga kya Uganda ekikulu.[10] Mu 2009, Nkumba University, nga neeno ya bwannanyini esangibwa e Nkumba, okuliraana Entebbe, yamutikkira Diguli Ey'okusatu awarded him an honorary Diguli Ey'okusatu nga emusiima olwa, "ebirungi eby'amanyi byakoze okukulaakulanya oludda lw'eggwanga olwensimbi".[11]
Tumusiime yafiira Nairobi nga 23 Ogwolubereberye gwa 2022, nga yalina emyaka 72. Yafuna obuzibu nga buva ku kirwadde kya Sukaali era bwe bwamuviirako obuzibu.[12][13]
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)