Ennyanja Bisina

Ennyanja Bisina
Enyanja Salisbury

 

Ennyanja Bisina, nga erinya lyo eddala emannyikiddwa nga Ennyanja Salisbury, nnyanja esinganibwa mu buvanjubwa bwa Uganda nga eno terina is a freshwegya mazzi gaayo. Nnyanja okuva ku Nnyanja ya Kyoga nga yeetegeredde, nga muno mwegya amazzi gaayo, ng'era zino zombi zirina engeri gyezikwatagamu kuba wakati waazo walwio olutobozi olulimu ebitoogo.[1]Mu kaseera k'enkuba k'etonya amazzi mangi. Ennyanja Bisina esobola okubeera mita mukaaga, nga zefuuti 20 okuka wansi ng'era ebeera egatta ku Nnyanja Opeta entono, naye mu biseera by'ekyeeya zino zombi zibeera zawukanidde ddala.[2]

Endabirira n'enkwwatagana yaayo n'ebisolo ssaako n'ebimera

[kyusa | edit source]

Ennyanja Bisina bye bimu ku bifo 33 mu Uganda ewasinganibwa ebinyonyi eby'omugaso ng'era okuva mu 2006 olukungaana lwa Ramsar lwateeka olutobazi luno nga olumu ku zisinga okubeera ez'omugaso munsi yonna.[3]

Ennyanja eno erina omugaso gw'eby'enyanja, nga ebisinga okubeera nga bitiisibwa byebayita haplochromine cichlids nga Haplochromis orthostoma,[4] H. argenteus nga bino byagwaayo okuva gyebyaali bisinga okubeera mu Nnyanja Nalubaale, H. latifasciatus, H. lividus, H. martini ng BINO Byabuula okuva gyebyaali bisiinga okubeeera mu Nnyanja Nalubaale, H. maxillaris, H. nubilus, H. parvidens, H. phytophagus wamu n'omuwendo gw'ebitonde ogutasangusibwa.[5] Wadde nga engege yayanjulwa mu Nnyanja Bisina mu myaka gy'etandikwa ya 1970, mu biseera bino okunoonyereza kwebadde tekulaba byennyanja bino kika kino, nga kino kyabadde kiraga okusaanawo kwa haplochromine cichlids mu bifo ebirala.[2] Ekika ky'empuuta entono kyatwalibwa mu nnyanja Bisina ng'era zikyaliyo, wamu n'ezasinganibwaayo eza Singida ne Victoria tilapias.[2][5] Ebika by'ebyennyanja ebiralala ebisinganibwayo mu Nnyanja Bisina kuliko emmamba, semutundu, African tetras ne elephantfish.[2]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]
  • Kapir Atiira, ekyaalo ekisinganibwa okulinaana Ennyanja Bisina

Ebijjuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier)
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 Mbabazi, D. (2009). "Rapid assessment of the fish biodiversity of the Mburo-Nakivali wetland systems and Opeta-Bisina wetland systems, Uganda". In M.O. Opige; A. Byaruhanga (eds.). Ecological baseline surveys of Lake Bisina, Lake Opeta, Lake Mburo and Nakivali wetlands systems. Kampala, Uganda, Nature Uganda. pp. 75–84.
  3. https://web.archive.org/web/20130107023855/http://www.ramsar.org/cda/en/ramsar-pubs-notes-annotated-ramsar-15873/main/ramsar/1-30-168%5E15873_4000_0__
  4. http://www.fishbase.org/summary/SpeciesSummary.php?genusname=Haplochromis&speciesname=orthostoma
  5. 5.0 5.1 Wanda, F.; B. Gidudu; S. Wandera; R.S. Copeland; J.P. Cuda; W.A. Overholt (2011). "Herbivory of Hydrilla verticillata by Cichlid Fish in Lake Bisina, Uganda". Journal of East African Natural History. 100 (1&2): 113–121.