Ennyanja Nabugabo, zeezimu ku nnyanja entono mu Uganda wabula nga zeetoloddwa ettaka.
Ennyanja eni eri mu Disitulikiti y'e Masaka, mu bitundu by'omumasekati ga Uganda, ku kiromita 23 nga ze mita 14, nga oyise kuluguudo mu buvanjuba bwa tawuni y'e Masaka.[1]
Ennyanja Nabugabo yeeyawudde nnyo okuva ku Nnyanja Nalubaale, nga eri kiromita nnya nga zino za mayiro 2.5 okuva kumbalama.
Ekifo kino kyalondebwa okubeera ku ebyo ebisinga okukuumibwa n'okulabirirwa olw'omugaso gaakyo eri abantu n'ebisolo.[2]
Namungi w'omuntu wamu n'okulimira ku bitundu eby'etolodde ekifo kino byebisinga okubeera ku nnyanja eno. Enima embi erina kinene nnyo ky'eredde amazzi gano wamu n'enfulumya y'emere. [3]
Ennyanja Nabugabo yava ku kubeera nga waali ngawo ensozi z'omusenyu ezaali ziva ku mubuyaga ogwaali nga ogwamaanyi. Ekifo ekyakolebwa okuva mu ttaka okwetuuma awamu kyeyawula Ennyanja eno okuva ku Nnyanja Nalubaale. Okunoonyereza kulaga nga mita 2.7 ne fuutu 8.9 ez'akungaanyizibwa okulinaana amasekati g'ennyanja eno kulaga Ennyanja Nabugabo eriyoka okuva ku Nnyanja Nalubaale okuviira ddala mu myaka 5,000 egiyise.[4]
Ebika by'ebimera 300 byebiteberezebwa okubeera nga bibeera mu kifo kino. Ekifo kino g'emaka ewasinganibwa ebimera ebiriko ebimuli nga tozinza kubigya walala wonna, n'ebika 14 mu Uganda nga bisinga kumannyikibwa wano wokka. Ekika ekisinga okumannyikibwa wabula nga tekifunika kyekimera kya Nabugabo nga kyefananyiriza ebimera bya carnivorous.[5][6][7][8][9]
Ebisolo ebisingaibwa mu kitundu kino kuliko envubu, engabi. Ebinyonyi kuliko, kamunye efuba eby'enyanja, n'engaali erina engule eyakikuusikuusi nagyo gisinganibwaayo.[10] Ennyanja Nabugabo yaamugaso nnyo nadala eri ebinyonyi ebisengayo nga birina gyebiva.
Embeera y'ennyanja Nabugabo, nga muno mulimu ne nnyanja y'enyini ,okuli n'ennyanga nga Kayanja, Kayugi ne Manywa zonna entobazi zaagyawula okuva ku Nnyanja Nabugabo), zirina eby'ennyanja ebiwerako, nga ebisinga bya bika munaana okuli haplochromine cichlids: the endemic Haplochromis annectidens, H. beadlei, H. simpsoni, H. velifer ne H. venator, ng'ate H. nubilus, Astatoreochromis alluaudi ne Pseudocrenilabrus multicolor n'ebitundu ebisinganibwa okubeeramu ennyanja ezisinga okubeera ez'amaanyi .[11][12][13] Nga bwwegwali mu Mu Nnyanaja Nalubaale, empuuta yatwalibwa mu Nabugabo. Wabula nga eby'ennyanja ebitasinganibwa mu Nnyanja Nalubaale tebikyalabika, ebika ebirala ebisinganibwa mu nnyanja ya Nabugabo mwokka byonna byawona, wabula nga bitwalibwa okubeera nga biri mu buzibu obwamaanyi.[11][12] Okusingira ddala ekika kya H. annectidens ne H. venator tebikyalabikirako ddala, nga n'ebirala birabika okubeera nga byabulira ddala okuva mu Nnyanja Nabugabo yo yennyini, nga wadde tebiyinza kuwona nga biri mu nnyanja Kayanja ne Kayugi.[12] Empuuta tenaleetebwa mu nnyanja Kayanja, Kayugi ne Manywa, ng'era byamugaso nnyo eri okubeerawo kw'ekika kya haplochromines.[11][12] Biyamba mu kubeerawo kw'engege ezisinga okubeera mu kutiisibwa, nga zino zaabula okuva mu Nabugabo n'ennyanja endala eziri mu bitundu ewasinganibwa ennyanja ez'amaanyi.[12] Ebika ebirala ebibiri ebisinganibwa mu bifo ewali ennyanja ez'amaanyi, kwekuli Bagrus docmak eri buli wamu wamu n'engege za Nalulaale ezisinga okubeera mu bulabe, nga zino zaaliko mu Nnyanja Nabugabo nga mu byafaayo zaali zamugaso nnyo eri abavubi. Birabika nga ebyabula okuva mu Nnyanja Nabugabo, ng'era tewali walala webimannyikiddwa nti webisinganibwa mu bitundu eby'etolodde ennyanja Nabugabo.[12] Eby'ennyanja ebika ebirala bisinganibwa mu Nnyanja Nabugabo ng'era bikyabeerayo, nga kuno kuliko, emmamba , Mastacembelus frenatus, Enteromius barbs, Sadler's robber tetra, silver butter catfish, Fischer's Victoria squeaker, longnose stonebasher, Victoria stonebasher ne Petrocephalus catostoma.[12] Okwongerezaako ku mpuuta, engege erimu obutolobojjo obwa bulu, engege, empuuta erina ebeere erimyuufu, wamu n'empuuta erina olubuto olumyuufu nazo zaatwalibwayo.[11][12]