Ennyanja Opeta, y'ennyanja mu Uganda eriko entobazi enene.
Entobazi zino ziri mu bukiika kkono obw'ekifo kya Pian Upe webakuumira ebisolo by'omunsiiko nga kiyamba ebisolo by'omunsino okububuddamya mu biseera by'ekyeeya eri ebisolo, nga kuno kwekuli n'ente ezetolodde nga zino zibeera zaba Karamoja n'abantu ba Pokoto.[1]
Ennyanja Opeta esinga kufuna amazzi okuva mu nkuba evva ku Lusozi Elgon, era nga egayiwa mu Nnyanja Kyoga ng'eyise mu Nnyanja Bisina. Yeetoloddwa entobazi n'ebifo ebitera okujula amazzi olw'amataba agava ku nkuba ebeera etonye.[2]
Ennyanja Opeta y'emu ku bifo 33 mu Uganda ebisinga okubeerako ebinnyonyi, nga mu 2006 olukungaana lwa Ramsar lwateeka olutabazi luno lu lukalala olusinga okubeera olw'omugaso.[1]
Obutonde obwenjawulo wamu n'obulambuzi by'obutonde y'ensibuko era nga etekebwamu ssente ab'ekitongole kya Global Environmental Facility ne UNDP abawereza ku nnyanja eno.[3]
Ennyanja Opeta wamu n'entobazi ezetoloddewo zisinganibwa mu mu buvanjuba bwa Uganda, kiromita 25 mu bukiika ddyo bwa buvanjuba bwa tawuni y'e Kumi. Ekifo kya Ramsar kiri ku mayiro 1,050 mu kwambuka wagulu nga ova ku mazzi era nga kiriko obunene bwa yiika 68,913. Olutabazi luno lukiikirira ekifo ekiri mu buvanjuva bw'Ennyanja Kyoga. Lujuza ekifo ekibeeramu amazzi oluvannyuma lw'enkuba okutonya, wakati w'Ennyanja Bisina mu kifo Ramsar, ekiyiwa amazzi gaakyo okugenda mu Nnyanja Kyoga mu bugwanjuba, wansi w'Olusozi Elgon, obunene bw'olusozi olwakolebwa ookuva mu muliro ogwali guva mu nsozi wabula nga tegukyaliwo, mu bukiika kkono bwa buvanjuba. Entobazi z'Ennyanja Opeta zitandikira mu bifo by'omubukiika kkono mu Karamoja nga byeyongerayo mu bitundu by'omubuvanjuba bwa Uganda wakati w'Olusozi Elgon wamu n'ensalosalo za Sudan, ku kiromita 300 okutuuka mu bukiika ddyo.[4]
Ekinnyonyi kya Fox's weaver, kyekika kyokka ky'otayinza kusingaana wala mu Uganda okugyako wano, ng'era kimannyikiddwa okubeera mu lutobazi luno,[1] nga kuno kw'oteeka nebisinga okubeera ne shoebill ebitali byabulabe, n'ebisinga okulumbibwa ebiyitibwa papyrus gonolek, wamu n'ebika ebirala 160.[2]