Evangeline Barongo Munnayuganda, muwandiisi w'akatabo k'abaana aka children's literature. Barongo ye mutandisi w'ekitongole kya Uganda Children’s Writers and Illustrators Association (UCWIA), omukutu oguleeta awamu abawandiisi b'obutabo bw'abaana, abakwasaganya etterekero ly'obutabo, abasomesa, ab'abfulumya obutabo n'abatunzi b'obutabo.[1] Mmemba mu kibiina kya Reading Association of Uganda (RAU), Uganda Library and Information Association ne International Board on Books for Young People (IBBY) Uganda chapter eky'atandikibwawo mu 2004.[2][3][4] Aweereza ku kakiiko ka National Book Trust of Uganda okuva lw'ekyatandikibwawo mu 1997.[5]
Yasoma era n'atendekebwa ng'omusawo w'abaana era yakola omwaka gumu mu Bungereza oluvanyuma lw'okumaliriza essomo lye erya children's psychology. Oluvanyuma yafuna Dipuloma mu Library Science okuva mu Bayero University Kano mu Nigeria nga tannafuuka mukuumi w'ebitabo ku Yunivasite. Yakomawo mu Uganda mu 1986 okukola n'akakiiko k'abakuumi b'ebitabo aka Uganda Public Libraries Board ng'abwaddukanya etterekero ly'ebitabo by'abaana mu Kampala. Mu 1991, Barongo yawangula sikaala ey'emyezi ebiri ku International Youth Library mu Munich.[5]
Barongo akoze ku pulojekiti z'abaana mu Sweden, South Africa, ne mu United States. Awandiika olungereza n'olulimi lwa nnyina Olunyoro. Obutabo bwe butundibwa mu mawanga g'Ebulaaya era bumuwanguzza Awaadi eziwerako nga mwemuli ey'omuwandiisi w'omwaka eya NABOTU author of the year mu 2008. Barongo yawummula emirimu gya Gavumenti naye alina edduuka ly'ebitabo mu Hoima era yyongerayo n'okuwandiika obutabo bw'abaana n'okwenyigira mu mirimu egiyigiriza abaana okusoma.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Lua error: Invalid configuration file.