Gladys Kalema-Zikusoka

Gladys Kalema

Gladys Kalema-Zikusoka (yazaalibwa nga 8 Ogusooka 1970) ye munayuganda omusawo w'ebisolo era eyatandikawo ekitongole ekiyitibwa Conservation Through Public Health, ekitongole ekikola ku kukulaba ng'abantu n'ebisolo eby'obulabe eby'omu nsiko nga mountain gorillas, ebisolo eborala, abantu n'ebisolo ebirundwa ewaka mu Afirika okubeera nga biwngaala awatali bukuubagano bwonna.

Kalema-Zikusoka ye musawo w'ebisolo eyasooka mu Uganda era ye yali emunyeenye oy'emboozi empanvu ku BBC, Gladys the African Vet. Mu 2009 yawangula ekirabo kya Whitley Gold Award olw'omulimu gwe ogw'okukuuma obutonde. Mu Ogwekkuminebiri 2021 yalangirirwa nga nnaggwano ow'ensi, ekitongole ekya United Nations Environment Programme olwa sayansi n'obuyiiya bw'emirimu gye egya One Health initiative.

Obulamu bwe n'okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yayagala nnyo ebisolo okuva nga wa myaka 12 ng'akula mu Kampala, Kalema-Zikusoka yatandikawo ekibiina ky'ebisolo eby'omu nsiko mu ssomero lye era n'ategeka okulambula mu Queen Elizabeth National Park. Okusoma kwe okw'obukugu kwatandika bwe yafuna sikaala okusoma mu University of London Royal Veterinary College, n'afuna diguli esooka eya Veterinary Medicine. Oluvannyuma, mu 2003, yafuna diguli ey'okubiri mu Veterinary Medicine okuva mu North Carolina State University. Alina n'ebbaluwa y'obukulembeze mu bibiina by'obwa nakyeewa, gyeyafuna okuva mu Duke University. Ekikyasembayo kye yakola mu kusoma ye Master of Business Administration, gye yafuna mu 2016.[1]

Kalema-Zikusoka mufumbo eri Lawrence Zikusoka, omukozi w'emirimu egya wa tekinologiya era omu ku batandikawo ekitongole kya Conservation Through Public Health. Balina abaana babiri.

Ebituukiddwako

[kyusa | kolera mu edit source]

Kalema-Zikusoka bwe yaweza emyaka 25, yalondebwa okubeera omusawo w'ebisolo mu kitongole ekya Uganda Wildlife Service, oluvannyuma ekyagattibwa n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku madundiro g'ebisolo eby'omunsiko ekya Uganda Wildlife Authority. Ye muntu eyasooka okubeera mu kifo ekyo. Yatandika yasooka okutambuza ebisolo by'omunsiko ng'abiteeka mu madundiro g'eggwanga oluvannyuma lw'emyaka egiwera nga biyiggibwa mu ntalo z'omunda ezaliwo mu Uganda.

Ng'ekitundu ky'okunoonyereza kwe ku kunjajaba ebisolo, yazuula akawuka akasiigibwa abantu eri amazike n'alaba nga amazike gabeera mu kabaate ok'okulwaala.[2]

Oluvannyuma lw'okulaga engeri endwadde z'abantu gye ziyinz okulumya oba okutta amazike, Gladys Kalema-Zikusoka,Lawrence Zikusoka ne Stephen Rubanga baatandikawo ekitongole kya Conservation Through Public Health okulongoosa eby'obulamu obw'abantu n'obutonde obubetoolodde mu Afirika. CTPH kitongole eky'obwa nakyeewa ekisangibwa mu Uganda ne Amerika ekikola enteekateeka ezi'okutaasa amazike n'ebisolo by'omunsiko ebirala okuva ku bulabe bw'obulwadde obw'abantu n'ebisolo ebirundibwa ewaka obutasiigibwa,okukendeeza ku ndwadde z'abantu n'ebisolo ebirundibwa abantu ku ndwadde eziri mu kifo ewali ebisolo by'omunsiko, eokwagazisa abantu okwettanira enkola eza kizaala ggumba, n'okukozesa tekinologiya w'okuwuliziganya okuyamba okukulaakulana kw'ekitundu n'okusomesa abatu ebikwata ku mbeera y'obutonde. Kalema-Zikusoka y;avunaanyizibwa ku ndabika y'ekitongole ekyo.[1]

CTPH yatandikibwawo mu 2003. Mu 2015, CTPH yatandikawo pulogulaamu eyitibwa Gorilla Conservation Coffee. Okusinziira ku nteekateeka eno, ekitongole eky'obwa nnakyewa kitereeza embeera z'abantu abeetolodde ekitundu nga kibayambako okubafunira akatale k'ensi yonna naddala eri ekirime ekya Arabica coffee. Olw'okweyongera kw'ensimbi, endwadde z'omu kitundu zikendedde. N'olw'ensonga eyo, endwadde ntono nnyo zezisiigibwa eri amazike g'omukitundu. Mu ngeri y'emu, abalimi baliko akasente katono kebasigaza buli abalambuzi lwe balambula ennimiro zabwe nga batambula okwerabira ku mazike agali mu kitundu.

Ebitabo, Ebitiibwa, Awaadi, Ebirabo, n'ebirala

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutambula n'ebisolo ebiyitibwa Gorillas: Olugendo lw'ebisulo by'omu Afirika Vet https://www.amazon.com/Walking-Gorillas-Dr-Gladys-Kalema-Zikusoka/dp/1950994260

Kalema-Zikusoka afunye ebitiibwa bingi, awaadi n'okusiimibwa okw'olwaatu olw'omullimu gwakoze erii obutonde ne mubuntu. Mu 2009, yawangula ekirabo kya Whitley Gold Award, ekirabo ekisingayo okubeera ekya waggulu ekigereaageranyizibwa n'ekimanyidwa nga "Green Oscars". Mu 2008, San Diego Zoo yamuwa ekirabo ekya Conservation-in-Action Award. Mu 2006, Kalema-Zikusoka yalondebwa okubeera ku kibiina kya Ashoka Fellowship. Mu 2007, Seed Magazine yamuyita omu ku bantu omunaana aba Revolutionary Minds in Science.[3]

Kalema-Zikusoka yayogerwako mu firimu ya BBC, Gladys the African Vet. Era yalabikira mu firimu za National Geographic, Animal Planet, MNet ne Uganda Television. Yalondebwa okuva mu bakulembeze b'ensi yonna omwenda okuwandiikira pulezidenti wa Amerika addako mu Sierra Club Magazine, November/December 2008.

Mu 2018, Dr. Kalema-Zikusoka yaweebwa ekirabo ekya EarthCare Awardmu United States ekiri mu Sierra Club, nga bamusiima obuyambi "obw'enjawulo mu kukuuma n'okutaasa obutonde bw'ensi", nga bwe kyali kikwatagana n'omulimu gwe gw'okukuuma embeera y'obutonde bw'ensi n'ebibwetoolodde awamu n'amazike mu Uganda. Yafuna awaadi nga 29 Ogwomwenda 2018 ku mukolo ogwategekebwa e Denver, Colorado mu United States.

Mu Ogwekkuminebiri 2021 yalangirirwa ekitongole ky'amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku pulogulaamu ey'obutonde bwensi ekya Champion of the Earth olwa sayansi n'obuyiiya.

Mu Gwokuna 2022, Dr. Kalema-Zikusoka yaweebwa engule eya Edinburgh Medal 2022 olw'omulimu gwe ogw'okulongoosa embeera z'abantu okubeera ez'omutindo nga bawangala bulungi n'ebisolo mu bifo webikuumibwa mu Afirika. Ye yatandikao enkola eya 'One Health' ey'ekitundu ekikulemberwa okunoonyereza ku kukuuma obutonde n'okutumbuula enkolagana wakati w'abantu n'ebisolo eby'omu nsiko.

Ebitabo ebiragiddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Kalema G. 1994. Letter entitled "Veterinarians and Zoological Medicine" to the Veterinary Record. The Veterinary Record, 135 (1).
  • Nizeyi J. B., Mwebe R, Nanteza A, Cranfield M.R, Kalema G.R.N.N., Graczyk T. 1999. Cryptosporidium sp. and Giardia sp. Infections in mountain gorillas (Gorilla gorilla beringei) of the Bwindi Impenetrable National Park, Uganda. Journal Parasitology 85 (7). American Society of Parasitologists.
  • Nizeye J. B., Innocent R. B., Erume J, Kalema G. R. N. N., Cranfield M. R. and Graczyk T. K. 2001. Campylobacteriosis, Salmonellosis, and Shigellosis in free-ranging human-habituated mountain gorillas in Uganda. Journal of Wildlife Diseases 37(2): 239–244.
  • Graczyk T. K., DaSilva A. J., Cranfield M. R., Nizeye J. B., Kalema G. R and Pieniazek N. J. 2001. Cryptosporidium parvum genotype 2 infections in free-ranging mountain gorillas (Gorilla gorilla beringei) of the Bwindi Impenetrable National park, Uganda. Parasitology Research 87(5):368-70.
  • Kalema-Zikusoka G, Kock R. A., Macfie E. J. 2002. Scabies in free-ranging mountain gorillas (Gorilla beringei beringei) in Bwindi Impenetrable National Park, Uganda. Veterinary Record 150(1):12-5.
  • Kalema-Zikusoka G and Lowenstine L. 2001. Rectal prolapse in a free-ranging mountain gorilla (Gorilla beringei beringei): clinical presentation and surgical management. Journal of Zoo and Wildlife Medicine 32(4):509–513.
  • Kalema-Zikusoka G, Horne W. A., Levine J. and Loomis M. R. 2003. Comparison of the cardiopulmonary effects of medetomidine-butorphanol-ketamine and medetomidine-butorphanol- midazolam in patas monkeys (Erthyrocebus patas). Journal of Zoo and Wildlife Medicine 34(1):47–52.
  • Kalema-Zikusoka G, Rothman JM, Fox MT. 2005. Intestinal parasites and bacteria of mountain gorillas ( Gorilla beringei beringei) in Bwindi Impenetrable National Park, Uganda. Primates 46:59–63.
  • Osofsky, Steven A., Richard A. Kock, Michael D. Kock, Gladys Kalema-Zikusoka, Richard Grahn, Tim Leyland, William. B. Karesh. 2005. Building support for Protected Ares using a One Health perspective In: Friends for Life, New partners in support of protected areas. Edited by Jeff McNeily. Published by IUCN, Species Survival Commission.
  • Kalema-Zikusoka G, Bengis R, G., A. L. Michel and M. H. Woodford. 2005. A preliminary investigation of tuberculosis and other diseases in African buffalo (Syncerus caffer) in Queen Elizabeth National Park, Uganda. Onderstepoort Journal of Veterinary Research, 72:145–151.
  • Gladys Kalema-Zikusoka, and Lynne Gaffikin. 2008. Sharing the Forest, Protecting Gorillas and Helping Families in Uganda. Focus series, published by the Woodrow Wilson International Centre for International Scholars and USAID, Issue 17 October 2008.
  • Gladys Kalema-Zikusoka. 2009. Lair of a Silverback. Wild Places. National Geographic Traveler, Issue October 2009.
  • Fabien H.Leendertz and Gladys Kalema-Zikusoka. 2021. Vaccinate in biodiversity hotspots to protect people and wildlife from each other. Nature 591:369.

Ebyawandiikibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 4R
  2. (59–63). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  3. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 7R

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]