Ber (Harriet) Anena
| |
---|---|
Yazaalibwa | Harriet Anena Disitulikiti y'e Gulu, Uganda |
Omulimu | Muwandiisi |
Obuyigirize | Yunivasite y'e Makerere (Diguli esooka mu mawulire) (Master of Arts in human rights) Columbia University |
Ekika ky'obutabo bw'awandiika | Ebitontome, ebiyiiye, ebyaliwo |
Emirimu gyeyakola | A Nation In Labour (2015) |
Awaadi zeyafuna | 2018 Wole Soyinka Prize for Literature in Africa |
Website | |
beranena.com |
Ber Anena yazaalibwa era yafulumizibwa nga Harriet Anena[1] Munnayuganda, muwandiis, era muyimbi ng'ebiwandiiko bye mulimu ebitontome, ebiyiiye, n'ebyabaawo. Ye muwandiisi w'ebitontome bya, A Nation In Labour, ebyafulumizibwa mu 2015,[2] era kawangula ekirabo mu 2018 ekya Wole Soyinka Prize for Literature in Africa.[3] Aba The Economist bannyonyola ebitontome by nga "ebijjudde omukwano oguwamba n'olutalo".[4]
Anena yazaalibwa abazadde okuva mu Acholi era n'akulira mu Disitulikiti y'e Gulu mu Uganda.[5] Yakulira mu byasa by'entala ebiri ezaaliwo omuli abayeekera ba Lord's Resistance Army, esuula ey'asibukamu okuwandiika kwe okwasooka. Anena yasomera ku Gulu Public Primary School, Sacred Heart Secondary School, ne Gulu Central High School. Yatikkirwa Diguli mu by'empuliziganya eya Bachelor of Mass Communication degree okuva ku Makerere University mu 2010 era n'amaliriza Diguli ye ey'okubiri mu ku lwanirira eddembe ly'obuntu eya Master of Arts degree in human rights fokuva mu Yunivasit y'emu mu 2018.[6] Asoma MFA Writing program ku Columbia University mu New York.[7][8]
Anena yakola ng'omuwandiisi, omusunsuzi, n'omumyuka w'omusunsuzi w'amawulire mu Daily Monitor okuva mu 2009 okutuusa mu Gwomwenda 2014.[9] Yegatta ku African Centre for Media Excellence mu 2014 ng'ayakola nga munnamawulire, munnamawulire w'okunoonyereza, akwasaganya pulogulaamu era pulodusa w'ebiteekebwa ku mutimbagano okutuusa 2019. Mu Gwomunaana 2019, Anena yegatta ku Columbia Journal ng'omusunsuzi w'ebiteekebwa ku mutimbagano. Emboozi ze mu mawulire zifulumiziddwa mu mpapula za Daily Monitor,[10][11] New Vision, The Observer, Columbia Journal, The Atlantic ne Popula. Asomeseza abayizi abasoma amwulire okukuguka mu kuwandiika ku Islamic University in Uganda.[12]
Anena yawandiika ekitontome kye ekyasooka, "The plight of the Acholi child", mu 2003.[13] ky'awangula empaka z'okuwandiika ezaali zitegekeddwa bannaddiini aba Acholi Religious Leaders Peace Initiative era ky'ayambako okumukuumira basale ye mu misomo gye egya A-Levo. Yetabamu musomo gwa 2013 Caine Prize ogwategekebwa mu Uganda, era olugro lwe olwa "Watchdog Games" lw'afulumizibwa mu bitontome A Memory This Size and Other Stories: The Caine Prize for African Writing, 2013.[14] Mu 2013, yali omu ku baali bavuganya ku kirabo "Ghana Poetry prize" olw'ekitontome kye "We Arise".[15]
A Nation In Labour, akafulumizibwa mu 2015, ke kaali akatabo ke akasooka okufulumizibwa,[16] Olupapula lwa The New Vision lw'awandiika nti "ebitontome bya Anena bigya kuleka ng'okyayagala."[17]. Ebitontome bya Anena bilabula ku by'obuwangwa ebikyusiddwa nga bayita mu kugunjula. Buli kitundu ku biwandiikibwa ky'ongera kubbika ebikolwa eby'obuntu mu maloboozi."[18]
Mu Gwekkuminogumu 2018, A Nation In Labour yateekebwa mu lukalala lwa biennial Wole Soyinka Prize for Literature in Africa, wamu n'ebitontome bya Tanure Ojaide ne Servio Gbadamosi.[19][20][21][22] Nga 9 Ogwekkuminebiri 2018, ku mukolo gw'okujaguza ogwategekebwa mu Lagos, Nigeria, Anena ne Ojaide balangirirwa nga abawanguzi. Empaka z'alamulwa Toyin Falola, Olu Obafemi ne Margaret Busby.[23] Awaadi yalangirirwa Nobel Laureate, Pulofeesa Wole Soyinka.[24][25][26]
Emirimu gye gilabikira mu 2019 New Daughters of Africa: An International Anthology of Writing by Women of African Descent,[27] akasunsulwa Margaret Busby.
Mu Gwekkuminebiri 2018, Harriet Anena ye yawangula ekirabo kya 2018 Wole Soyinka Prize for Literature in Africa olw'akatabo ke A Nation in Labour, akafulumizibwa mu 2015.[28][29] Ekirabo yakiwangula ne Pulofeesa Tanure Ojaide. Anena Awaadi ye yagifunira ku mukolo mu Lagos, Nigeria, ogwaliko Wole Soyinka, omuwandiiso eyasooka mu Africa, ng'ono elinnya ly'engule mwe lyagibwa. Awaadi ya Wole Soyinka Prize for Literature "pan-African writing prize awarded biennially to the best literary work produced by an African".[30]
Olugero lwa Anena "Dancing with Ma" lwateekebwa ku lukala lw'empaka za 2018 Commonwealth Short Story Prize.[31][32] Mu 2017 ne 2018, olugero lwe olwa, "The Satans Inside My Jimmy" ne "Waiting", n'azo zateekebwa mu mpaka za Short Story Day Africa Prize.[33]
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Lua error: Invalid configuration file.