Irene Ovonji-Odida

 

Irene Ovonji-Odida (yazaalibwa mu 1964)[1] Munnayuganda ow'ebyamateeka, munnaby'abufuzi, era omulwaanirizi w'eddembe ly'abakyaala. Mmemba wa Uganda Law Reform Commission, yetabba mu kuwandiika kwa Constitution ya Uganda eya 1995 era nayamba mu bumba East African Community. Akoze n'ebitongole ebyenjawulo ebigaba obuyambi omuli ActionAid era n'alabaalaba ekulonda mu Uganda ne Tanzania. Yalondebwa nga mmemba wa East African Legislative Assembly okuva mu 2001 okutuusa mu 2006.

Obulamu bwe n'emisomo

[kyusa | edit source]

Irene Ovonji yazaalibwa mu Uganda eri Valerian Ovonji, eyaweereza nga saabawandiisi wa Public Service ne Cabinet Affairs era nga minisita wa Gavumentti ya for Public Service wansi wa Idi Amin. Maama we Helen Ovonji yali omusomesa omutendeke era yakola nga n'okutunga.[1] Mu 1972, naye, taata we yamujja mu kifo ky'obwa minisita ku lw'okuwanga enkola za Gavumenti mu lujudde, era mu 1977 taata we nadukila e Kenya bwe yamanya nti amajje ga Amin gaali muntegeka ez'okumuta.[1] Omwaaka ogwaddako famire ye yamwegatako nga abanoonya obubudamu. Yadde nga baasobola okudda mu Uganda mu 1979 nga Amin awanguddwa, Irene yasigala mu Kenya emyaaka emirala ettaano okumaliriza emisomo gye egya siniya. Yasigala n'abeganda nabo abaali badukidde mu Kenya nga banoonya obubudamu.[1]

Bwe yakomawo mu Uganda, yewandiisa mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere], gyeyafunira Diguli y'Ebyamateeka. Oluvanyuma yafuna diguli ya master mu comparative jurisprudence okuva mu Yunivasitte ya Howard, Washington DC USA.[1][2][3]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Akoze emirimu ku bwereere era n'aweereza ku bukiiko bw'ebitongole ebitakolera magoba ne INGOs eby'enjawulo okuva mu 1989, n'essira eyejawulo kw'ebyo eby'ekwasaganya ku kulwaanirira eddembe n'enkulaakulana.[3] Ovonji-Odida aweereza nga dayirekita w'ebyamateeka owa Directorate of Ethics and Integrity ya Gavumenti ya Uganda[4] Yafuuka Mmemba wa Uganda Law Reform Commission mu 1994.[2] Yaliko offiisa w'ebyamateeka mu Law Reform Commission era nga omunoonyereza mu Constituent Assembly Commission, ebitongole bibbiri ku bimu ebivunaanyizibwa okuteekateeka okuwandiika kwa constitution ya 1995.[3][4]

Ovonji-Odida yeetabba mu campaign ya 1997–98 ey'abakyaala b'omu Buvanjuba bw'Afirika eyali ekulembeddwa Akina Mama wa Afrika okweetegeereza draft ya East African Community (EAC) okugaziya ebikolwa byaayo okuva mu kitongole eky'ebyekitunzi kyoka naye n'okuteekamu obuvunaanyizibwa bw'enkulaakulana ez'omuwanga g'ebweeru.[4] Yakolera ebitongole by'omugwanga ne mu mawanga g'ebweru omwaali ekimu ekya EAC ekyali kikola ku bibiina by'obufuzi. Mmmemba wa joint African Union-United Nations Economic Commission for Africa Panel ey'okumutendera gw'awagulu ku bikolwa ebimenya amateeka (High Level Panel) mu nsonga z'ensimbi ssentebe waayo eyali H.E Thabo Mbeki, eyali Pulezidenti w'Amaselengeta ga Afirika (South Africa) (emanyikiddwa nga Mbeki Panel ku IFFs okuva mu Afirika). Yali mmemba wa UN High Level Panel ku mbalirira ya sente, Obwerufu n'Obwesigwa eya Financial Accountability, Transparency and Integrity (UN FACTI Panel) okuva mu 2020-2021. capital.[4][3]

Hon Ovonji-Odida ayogerera z'obwenkanya, obw'enkanya mu bakyaala n'abaami n'eddembe ly'abantu omuli campaign ya Black Monday anti-corruption.[4] Yalondebbwa nga mmemba wa East African Legislative Assembly okuva mu 2001 okutuusa 2006,[1] eyo gy'eyakulira pulogulaamu z'okuteereza mu bweerufu n'embalirira, okukendeeza obutabanguko n'obutakwaatagana mu bitundu, era n'okuwa ku magezi mu by'ekitunzi.[4] Yaweereza nga kalaabaalaba w'ebyokulonda owa 2005 Ugandan multi-party referendum era mu mwaaka gwe gumu n'aweereza ku kakiiko ka ActionAid Uganda.[3] Ovonji-Odida yatuula ku board ya ActionAid's international board okuva mu 2007 era naweereza ebisanjja bibbiri nga ssentebe wa international board chair wakatai wa 2009 ne 2015.[4] Yaweereza nga omulabi wa Commonwealth of Nations mu mission ezenjawulo omwaali 2010 Tanzanian general election, 2015 Zambian national elections and 2018 Belize referendum.[3]

Irene Ovonji-Odida kati aweereza nga Commissioner ku Independent Commission for Reform of Corporate Income Tax (ICRICT), era nga mmemba wa South Center Tax Steering Initiative, Tax Justice Network Africa Advisory Board ne Pan African Lawyers Union task force ku nsonga ezimenya amateeka eza Illicit Financial Flows. Yaliko omumyuuka wa ssentebe wa Council ya Yunivasitte y'e Makerere okuva mu 2013 okutuusa 2018.,[4] ssentebe wa Center for Basic Research Trustees ne Chief Executive w'ekibiina ky'abakyaala ba na mateeka ekya Uganda Association of Women Lawyers mu kiseera kyekimu.[4] era naweereza ku bukiiko obulala obuwerako, omuli The ONE Foundation African Policy Advisory Board. Irene Ovonji-Odida alwaniridde, atendese era/ oba akoze okunoonyereza mu nsonga ezenjawulo omuli global tax justice ne illicit financial flows, eddembe ly'abakyaala mu nsonga ze ttaka, the Ugandan constitution ne East African regional integration.[3]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Ovonji-Odida mufumbo era maama w'abaana babiri.[1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]