Jackee Budesta Batanda Munnayuganda munnamawulire,[1] muwandiisi era munnabizinensi. Ye maneja omukulu owa Kampuni y'ebyempuliziganya n'ebyenjigiriza eya Success Spark Brand Limited, era omu ku batandiisi b'ekibiina kya Mastermind Africa Group Limited, a business-networking group.[2] Mu 2006, Batanda yakola ng'omuwandiisi awandiika ku ddembe ku Joan B. Kroc Institute for Peace and Justice ku University of San Diego.[3] Yasiimibwa olw'okunonyereza kweyakola okuva mu ba Africa fellowship Programme n'ettendekero lya Institute for Justice and Reconciliation mu Cape Town, South Africa, mu 2008.[4] Mu 2010, Batanda yali omu ku bawandiisi ba International Writer-in-Residence at the Housing Authors and Literature Denmark,[5] gye yamaliririza katabo ke aka, A Lesson in Forgetting. Mu 2012, yali omu kubalabikira mu The Times wamu n'abakyala abalala 19 mu kuwunda ebiseera eby'omumaaso ebya Africa.[6] Omwaka ogwo gwennyini, yawangula Awaadi ya 2012 Trust Women journalism Award. Abadde muwandiisi mu Lancaster University mu Bungereza.[7] Yalondebwa ekitongole kya International Women's Media Foundation nga 2011–12 Elizabeth Neuffer Fellow.[8] Mu biseera ebyo yali asomera ku Massachusetts Institute of Technology mu misomo gye egy'ebulaaya ne Yunivasite endala mu bitundu bya Boston era y'akolera ne ku The New York Times ne The Boston Globe.
Ye yafuna Awaadi ya 2010 Uganda Young Achievers Awards mu ttuluba ly'abakugu era omulamuzi mu Africa program fellowship. Aweereza nga munnamawulire ow'akaseera n'e Global Press Institute, abakolera ku mutimbagano era yali akwasaganya eby'empuliziganya mu pulojekiti y'amateeka ku banoonyi b'obubudamo ku ssomero lya Mateeka ku Makerere Yunivasite, Kampala, Uganda.[9] Y'omu ku bawandiisi 39 abalangirirwa okuva mu Africa okubeera ekitundu ku pulojekiti ya Africa39 eyali egenderera okwanja abasiyazi, Hay Festival ne Bloomsbury Publishing ku London Book Fair mu Gwokuna 2014. Olukalala luliko abawandiisi abamaanyi okuva mu Africa abali wansi w'emyaka 40.[10][11][12][13][14][15]
Batanda Musamya ava mu Buvanjuba bwa Uganda. Yasomera ku Mary Hill High School mu Mbarara, Bweranyangi Girls' Secondary School mu Bushenyi ne St. Paul's College mu Mbale. Alina Diguli ey'okubiri eya master's degree in forced migration studies okuva mu University of the Witwatersrand mu South Africa ne Diguli mu ssomo eddala ery'ebyempulizigazanya okuva ku Makerere Yunivasite mu Uganda.
Batanda abadde awandiika n'obukugu okumala emyaka kkumi nga munnamawulire omupangise saako ne mu luapula lw'eggwanga–The Sunday Vision and Sunday Monitor. Mu Awaadi z'eyafuna olw'okuwandiika ku bintu ebilowoozebwa obulowoozebwa mulimu n'eya Commonwealth Short Story Competition, 2003, era n'okuvuganya mu mpaka za Macmillan Writers Prize for Africa, 2003. Emirimu gye gilagiddwa ku BBC World Service, BBC 3 ne emikutu gya kediyo emirala.[16][17][18][19][20] Batanda awandiise emboozi ennyimpi eziwerako era nga zifulumiziddwa mu bitabo eby'abawandiisi ab'amaanyi omuli "The Thing That Ate Your Brain", "Holding onto the Memories" ne "Dora's Turn", n'endala nyingi. Awandiise ku nkyukakyuka ku mukutu gwa Foreign Policy magazine website, the New York Times, Boston Globe, Latitude News, the Global Post, The Star, the Mail&Guardian, the Sunday Vision ne Sunday Monitor.
Batanda memba mu kibiina ky'abakyala abawandiisi mu Uganda eka FEMRITE,[21] era abadde muwandiisi wa Lancaster University,[22] gyeyakolera ku kitabo kya The Big Picture, ekitabo eky'awandiikibwa abawandiisi basatu okuva mu Bulaaya, abadde omu ku b'akakiiko ka British Council's Crossing Borders programme.[23]
Yali muwanguzi w'empaka z'abawaniisi b'mboozi nnyimpi za 2003 Commonwealth Short Story Competition[24] era yalondebwa mu mpaka za Caine Prize for African Writing ez'ategekebwa aba Macmillan Writer's Prize for Africa.[25] Afulumiza obutabo bw'abaana, The Blue Marble, nga yali akolagana n'aba UNESCO-Paris n'aba Sub-Saharan Publishers (Ghana). Emboozi ze zafulumizibwa mu bitabo eby'enjawulo n'ebitabo ebiwandiikibwamu emboozi z'abawandiisi ab'enjawulo nga Farafina, Edinburgh Review, Moving Worlds, Gifts of Harvest, The Spirit of the Commonwealth, Wasafiri, Jazz, Miracles and Dreams, n'ebifo ebirala era omu ku bawandiisi abawandiika mu kitabo kya Margaret Busby ekya 2019 anthology New Daughters of Africa.[26] Amaliriza pulojekiti ze bbiri, Everyday People,ekitabo akirimu emboozi n'ennyimpi ne Our Time of Sorrow, akatabo.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Lua error: Invalid configuration file.