Jean Namayega Sseninde, (yazaalibwa nga 4 Ntenvu 1992), era amanyikiddwako nga Jean Sseninde, muzannyi y'akapiira omunnayuganda era azannya mu kitongole ekizibizi mu ttiimu ya Queens Park Rangers W.F.C. mu kibinja ky'abakyala eky'omupiira ekya FA Women's National League South.[1]
Sseninde yazaalibwa mu kitundu ky'amsekkati ga Uganda nga 4 Ntenvu 1992.[2] Maama we ye Rosemary Sseninde, minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebisookerwako mu kabineeti ya Uganda, era nga mukaseera ke kamu ye mukiise omukyala akiikirira abakyala ba disitulikiti y'e Wakiso mu lukiiko lw'eggwanga olukulu.[3] Namayega yasomera pulayimale ku ssomero. Oluvannyuma yeegatta ku ssomero lya Gayaza High School okusoma siniya ye eyookuna. Oluvannyuma yeegatta ku ssomero lya Saint Mary's School Kitende, gye yasomera siniya ye eyoomukaaga.[4]
Oluvannyuma lw'okumaliriza okusoma siniya eyoomukaaga ku ssomero lya Kitende, Sseninde yeebuuza ku mubuziibuzi w'abantu Majida Nantanda, era omutendesi wa ttiimu y'abakyala enkulu mu ggwanga. Nantanda yamuwa amagezi okutandika okuzannya omupiira ogw'ensimbi mu mu ttiimu emu mu ggwanga lya Bungereza ng'ayita mu kibiina ekifuga omupiira mu ggwanga erya Uganda Federation of Uganda Football Associations (FUFA). Bwe yali nga tannaba kwegatta ku ttiimu ya London Phoenix Ladies FC, Jean yazannyirako mu ttiimu ya Charlton Athletic Women's Football Club,[5] olw'ensonga emu.[6] Ekyo nga tekinnabaawo, yazannyirako ttiimu ya Queens Park Rangers Ladies Football Club (QPRLFC), okumala sizoni ssatu.[7]
Sseninde mmemba w'ekibiina ya Common Goal, nga kitongole bammemba baakyo mwe baweerayo waakiri ekitundu kimu ku buli kikumi ku musaala gwabwe okudduukiria ebitongole ebirabirira abatalina mwasirizi.[8] Yatandikawo ekibiina kya Jean Sseninde Foundation, ekiteeka ssente mu mpaka z'omupiira eza Jean Sseninde Women Football Development Tournament buli mwaka, ekiruubiria okuzuula wamu n'okukulaakulanya ebitone by'abawala abazannyi b'omupiira mu Uganda.[9][10]
{{cite web}}
: Empty citation (help)