Jessica Ejjembe

Jessica Horn (yazaalibwa mu 1979) mulwanirizi w'eddembe ly'abakyala, muwandiisi, mutontomi, era muwi w'amagezi ku ddembe ly'abakyala ng'asibuka mu Uganda n'e Mali. Emirimu gye essira lisinga kuba ku ddembe ly'abakyala, eddembe ly'omuntu okuba n'obuyinza n'okwesalirawo ku bulamu bwe ssaako eddembe ly'obutatuusibwako bulabe n'okulwanirira eddembe ly'oAbakyala mu Africa. Yatuumibwa ery'omukyusa w'oulamu bw'Omukyala Omufirika nga lino lyamuweebwa aba ARISE Magazine era n'alangirirwa ng'omu ku Bafirika 40 abali wansi w'emyaka 40 abakyusizza obulamu bw'abantu. Mu Gwekkumi, 2015 yeegatta ku kibiina kya African Women's Development Fund nga director of programmes 2015.

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Horn yazaalibwa Bungereza nga nnyina Munnayuganda ate kitaawe Mumerica n'akulira e Lesotho n'e Fiji. Yayita ebigezo bya international baccalaureate bye yakolera mu ttendekero lya Armand Hammer United World College of the American West. Yatikkirwa Diguli esooka eya Bachelor of Arts degree (magna cum laude) in anthropology gye yasomera mu ttendekero lya Smith College mu 2001 ne Diguli eyookubiri eya Master of Science (Distinction) degree in gender and development mu ttendekero lya London School of Economics mu 2002.

Horn Emirimu emitongole egy'okulwanirira eddembe ly'abakazi yagitandikira mu kitongole kya RAINBO gye yakola ng'omukwanaganya w'ekibiina kya Amanitare - nga kino kibiina kya Africa ekirwanirira eddembe ly'abakyala ku ddembe ly'ebyokwegatta n'ebyokuzaala. Yaweerezaako ng'oweebyensimbi mu kitongole kya Sigrid Rausing Trust, ekimu ku bitongole by'obwannannyini ebirudde nga bivujjirira okulwanirira eddembe ly'obuntu nga kisibuka Bulaaya. Yagenda mu maaso n'atandika ekibiina kye ekya Akiiki Consulting, ng'akola n'ebibiina ebiteeka ssente mu ddembe ly'obuntu, ebitongole ebikola amateeka, n'ebibiina ebirwanirira eddembe ly'obuntu, ng'ekya:Stephen Lewis Foundation, the International Rescue Committee, Action Aid, the Association for Women's Rights in Development, Ford Foundation East Africa, n'ekya United Nations. Kino kizze kimuviirako okukolera mu mawanga ga Africa agalimu entalo. Akola nga director of programmes mu kitongole kya African Women's Development Fund.

Ng'omunoonyereza, Horn yaweebwa awaadi ya Soros Reproductive Health and Rights Fellowship mu 2003 era yakola okunoonyereza ku ndowooza y'abakazi ku ky'okubakekejjula mu bukyala e Misiri. Yawandiika ebiwandiiko(monographs) bibiri ku ngeri enzikiriza ez'Ekikristaayo gye zikosa eddembe ly'Abakyala mu Africa wansi w'ekibiina kya Association for Women's Rights in Development (AWID). Y e yakulembera abawandiisi b'ekitabo kya Cutting Edge Pack on Gender and Social Movements ekyafulumizibwa aba BRIDGE ab'oku ttendekero lya Institute for Development Studies, mu University of Sussex mu 2013.

Horn aweerezza ng'omuwi w'amagezi mu bitongole ebirwanirira eddembe ly'abakyala omuli: ekya Mama Cash, Urgent Action Fund-Africa, Comic Relief, the Kings College Conflict, Security & Development Group Knowledge Building and Mentoring Programme, ne the journal Development. Yakolako nga commissioning editor wa magaziini ya "Our Africa" on openDemocracy 5050 okuva mu 2011 okutuuka mu 2015. Y'omu ku batandisi b'ekibiina kya African Feminist Forum.

Ebitongome bye

[kyusa | kolera mu edit source]

Horn yawangula awaadi ya IRN FannyAnn Eddy Poetry Award mu 2009 olw'ekitontome kye, kye yatuuma "They have killed Sizakele" n'awangula n'eya Sojourner Poetry Prize azaasalwa June Jordan mu 2001 olw'ekitontome kye, kye yatuuma "Dis U.N: For Rwanda". Ekitontome kye ekya "Dreamings" kyatontomebwa mu mwoleso gw'abakazi ogw'ensi yonna ogwa International Museum of Women's online exhibition Imagining Ourselves. Era ye muwandiisi w'ebitontome omuli ekya, Speaking in Tongues (Mouthmark, 2006), ekyateekebwa mu kitabo ky'ebitontome ekya Mouthmark Book of Poetry omuli n'eby'abatontomi nga Warsan Shire, Malika Booker, ne Inua Ellams. Ebitontome bye bizze bisomebwa ku leediyo ya Pan-African poetry platform Badilisha Poetry Radio.

Ng'omutontomi omulwanirizi w'eddembe, Horn akozesezza obutontomi ng'omukutu okuggyayo n'okuvumirira abalinnyirira eddembe ly'obuntu n'okusomesa abantu okwagala balabe baabwe n'ababatulugunya ng'ayita ku mukutu gw'abatontomi ogwa The Love Mic.

Ebimu ku bitabo n'ebiwandiiko by'afulumizza

[kyusa | kolera mu edit source]

Okunoonyereza n'okusunusla ensonga

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebitontome bye

[kyusa | kolera mu edit source]
  •  
  • "Speaking in Tongues" in The Mouthmark Book of Poetry, Flipped Eye Publishing Limited, 2013.  ISBN 9781905233151.

Ebitontome bye ebirala

[kyusa | kolera mu edit source]

Awaadi z'awangudde

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Winner IRN FannyAnn Eddy Poetry Award 2009 
  • Winner Sojourner Poetry Prize 2001 

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. (150–154). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)

Ebijuliziddwamu ebiva wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]