Joanita Kawalya

Jonita Kawalya

Joanita Kawalya muyimbi ate mulwanirizi wa ddembe.[1] Munnakibiina ky'abayimbi ekya Afrigo Band , ekibiina ekikyasinze okuwangaala mu Uganda, ekyakabeerawo okuva mu mwaka1975.[2][3]

Obulamubwe n'ebyenjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Kawalya yazaalibwa omuyimbi omugenzi Eclaus Kawalya nga 5 omwezi ogusooka 1967.[4] Yakola ng'omusomesa ku ssomero lya Lubiri Senior Secondary School wakati wa 1989 ne 1993.[5]

Obulamu bwe obw'okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Kawalya yatandika okuyimba ng'akyali mwana muto ddala. Yeegatta ku kwaaya y'essomero oluvannyuma yafuuka omu ku ba "The Wrens", kitaawe bwe yali omugenyi omuyimbi ku bbandi eyo.Yali atwala ffamire ye yonna. Yeegatta ku Afrigo Band  mu 1986 ng'alina emyaka 19 gyokka bwe yali asikira mugandawe eyali ayimba ng'ennyonza Margaret eyali agenda e Germany. Yayimbanga nga bw'agattako okusoma kkoosi y'obusomesa ku Ssetendekero wa Kyambogo mu 1993, yalekulira obusomesa essira n'aliteeka ku kuyimba n'okulabirira abaana be ababiri baalina.[6]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]
Joanita Kawalya Muganga

Akozeeko nga omuwabuzi mu pulojekiti ekwanaganya okubudaabuda abalina akawuka akaleeta mukenenya eyitibwa "Walter Reed project"[7] nga beegattira wamu ne pulojekiti ya Makerere Johns Hopkins. Kawalya era akolaganira wamu kkampeyini elwanyisa siriimu ng'akola ng'omulungamya ku mukolo gwa Nabagereka gw'ategeka buli mwaka ogwa by'obuwangwa, n'e Kisakaate. Kawalya yenyigira mu kugunjula emiti emito.[6]

Gyebuvuddeko yenyigira lukungaana olwamala wiiki e Makerere n'ekigendererwa ky'okulaba eddembe ly'obuntu olwategekebwa e ssomero ly'abakyala n'eddembe ly'obuntu[8].

Joanita Kawalya mufumbo alina abaana babiri.[4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-23. Retrieved 2022-11-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-16. Retrieved 2022-11-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2014-12-25. Retrieved 2022-11-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2014-12-25. Retrieved 2022-11-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Hits" defined multiple times with different content
  5. https://web.archive.org/web/20150203020715/http://www.newvision.co.ug/D/8/28/733166
  6. 6.0 6.1 http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/Joanita-Kawalya--Afrigo-s-first-lady/-/1370466/1407688/-/r42i76z/-/index.html Cite error: Invalid <ref> tag; name "Lady" defined multiple times with different content
  7. https://www.muwrp.org/
  8. https://www.watchdoguganda.com/news/20200302/88455/gender-identity-week-cultural-religious-leaders-believe-positive-cultural-aspects-play-a-big-role-in-empowering-women.html

Lua error: Invalid configuration file.