Joel Besekezi Ssenyonyi, yazaalibwa 20 Ogwekumineebiri mu 1986 nga munamawulire omunayuganda era mu nabyabufuzi. Ye mubaka wa Paalamenti owa konsitituweensi y'e Nakawa ey'Oubugwanjuba mu Kampala Kampala[1][2][3] era akulira abavuganya gavumenti mu Paalamenti ya Uganda,ekifo ekyalimu mubaka mune Mathias Mpuga Nsamba.[4] Awereza ng'omwogezi w'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya National Unity Platform.[3]
Ssenyonyi yalondebwa ng'omubaka wa Paalamenti eyali agenda okukiikirira NUP ku kifo kya Nakawa Eyobugwanjuba mu kalulu ka bonna aka Uganda mu 2021 .[5] Yawangula ekifo kino oluvannyuma lw'okusinga eyali agidde mu kibiina kya National Resistance Movement Margret Zziwa Nantongo.[1][2]
Yalondebwa okubeera omukulembezze w'abavuganya gavumenti mu Paalamenti nga 22 Ogwekuineebiri 2023,[6] n'akwasibwa ofiisi nga 9 Ogusooka mu 2024.[7]
Joel Ssenyonyi mufumbo nga mukyala we ye Febress Nagawa. Ababiri bano baagatibwa mu 2020, nga balina abaana babbiri okuli omuwala n'omulenzi.[8][9]