Kampala Capital City Authority ( KCCA ) kitongole kya Gavumenti ya Uganda ekyatondebwawo eteeka eryayisibwa mu Palamenti ya Uganda eriyitibwa KCCA ACT eryayisibwa mu mwaka 2010 ate nelikolebwamu ennongoosereza mu mwaka 2019. Mu teeka eryo, ekitongole kino kyekivunaanyizibwa ku nzirukanya ey'emirimu gy'ekibuga ekikulu ekya Kampala mu Uganda . Kino kyasikira ekitongole ki Kampala City Council (KCC). [1]
Ekitebe kya KCCA kisangibwa ku lusozi Nakasero mu masekati g'ekibuga Kampala era kiriraaniganye nekizimbe kya Palamenti ya Uganda . Omulyango omukulu oguyingira mu kizimbe kya KCCA gusangibwa ku luguudo Kimathi Avenue, oluva ku luguudo oluyitibwa Parliament Avenue. Ensengeka z'ekizimbe kino ku maapu ziri 0° 18' 54.00"N, 32° 35' 9.00"E (Obusimba:0.315000; Obukiika:32.585832). [2]
Mu teeka omuddukanyizibwa ekitongole ki KCCA, obuvunaanyizibwa ku kuddukanya n'okufuga ekibuga Kampala bwazibwa mu mikono gya gavumenti eyawakati. Mu nkyukakyuuka ezajjira mu tteeka, bunji ku buvunaanyizibwa n'obuyinza mu zi yafeesi ez'enjawulo bwakyuusibwa oba okusikizibwa ebifo ebirala. Okugeza City Clerk eyaliwo mu biseera bya KCC nga yavunaanyizibwa ku byensimbi mu Kibuga Kampala yasikizibwa ssenkulu w'ekibuga mu lufuutifuuti ayitibwa Executive Directoralondebwa Pulezidenti butereevu era nga emirimu gye giroondolebwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala mu kiseera kino ye Hajat Minsa Kabanda . [3] Meeya wa Kampala nga yye alondobwa eyalondebwa bannakibuga ekitiibwa kye kyakyuusibwa okuva ku Mayor nafuuka Lord Mayor era nga yakulira ekiwayi ky'ebyobufuzi mu Kampala 'political head' yadde nga obuvunaanyizibwa mu ofiisi eno obusinga bwamikolo.[4] Mu ntekateeka eno empya abakiise ku lukiiko lw'ekibuga Kampala oba bakansala omuwendo gwabwe gwalinyisibwa era n'ebibiina ebikola emirimu egyabakugu kati bikiikirirwa ku lukiiko luno olutuula ku City Hall mu Kampala. Ebimu ku bibiina ebikiikirirwa kuliko ekya Uganda Institute of Professional Engineers(kino kya ba Yinginiya abakakasibwa) Uganda Society of Architects (Bano bakubi ba pulaani za bizimbe), Uganda Medical Association (Kino kibiina ekitaba abasawo abakugu), ne Uganda Law Society (ekibiina ekitaba bannamateeka).
Oluvannyuma lw'okulonda kwa bonna mu mwaka 2021, abakulu abavunaanyizibwa ku nsonga za KCCA be bano;
Kampala ekolebwa amagombolola ataano(5).[5][6] Buli ggombolola mu Kampala ekulirwa meeya alondebwa abantu abatuuze mu ggombolola eyo oluvannyuma n'alonda olukiiko lwafuga nalwo okuva mu bakiise abalondeddwa abantu (ba kkansala). Bano wammanga beba Meeya b'amagombolola ga Kampala oluvannyuma lw'okulonda okwaliwo mu mwaka 2021;[7]
Ekifo | Erinnya | Egombolola |
---|---|---|
Meeya | Kasirye Nganda Ali | Makindye |
Meeya | Salim Uhuru | Kampala Central |
Meeya | Paul Mugambe | Nakawa |
Meeya | Emmanuel Serunjoji | Kawempe |
Meeya | Mbaraze Mawula Zacchy | Lubaga |
Ebibalo biraga nti wegwatuukira omwezi ogwokubiri 2019 nga ekitongole ki KCCA kirina abakozi 1,113 nga ku bano 391 baali bakozi ba nkalakkalira abaafuna emirimu gino okuyita mu kakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti.[8] [9]
Ekibuga Kampala ekiddukanyizibwa ekitongole ki KCCA kirimu okusoomozebwa okwenjawulo omuli enguundo embi, enkungaanya n'enkwata ya kasasiro embi, ebizimbe ebizimbibwa awatali lukusa, abantu abeesenza mu bifo ebikuumibwa nga entobazi n'ebirala[10]. [11]Ekitongole ki KCCA okuva mu kutondebwawo kwakyo kizze kikola entegeka okulaba nga obulamu bwabannakibuga bulongooka awamu n'okubatuusaako empereza ennunji. Zino z'ezimu ku ntekateeka ezizze zikolebwa;
Mu Gwokubiri 2015, kkampuni ya Rift Valley Railways, ng’ekolagana ne KCCA, yatandika okugezesa eggaali y’omukka eyali ey'okusaabaza abantu mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyewo, kino kyagenderera okusobola okwanguyiza abantu okutambula mu kibuga ku nsimbi ensamusaamu n'okwewala akalipaggano k'ebidduka oba Jaamu nga bwayitibwa mu lungereza. [12] Gavumenti ya Uganda nga eyita mu KCCA yateeka omukono ku ndagaano neginaayo eya China okusobola okuzimba Kiromita 35 ez'oluguudo lweggaali y'omuka. [13] Mu byobulamu n'obuyonja KCCA ezze ezimba kabuyonjo mu bifo ebyenjawulo mu kibuga okusobozesa bannakibuga okufuna ebifo awakyamirwa eby'omutindo[14][15]
Mu mwaka 2024, Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda RTD. MAJ. Jessica Alupo yatongoza entekateeka ey'okukola amakubo ag'enjawulo mu kibuga Kampala n'emiriraano. Entekateeka eno ebalirirwa siringi za Uganda Tuliriyoni 2.2[16][17][18]