Template:Infobox football club Sports Club Victoria University (SCVU) kilaabu y'omupiira gw'ebigere eya Uganda, esangibwa mu Kampala.Emizannyo gyaabwe egy'awaka bagizanyira mu kisaawe kya Mandela National Stadium.
SCVU yatandikibwawo mu Gwomunaana nga 19 2011, era nezannya mu liigi ya Uganda eya Big League nga yawangula Aurum Roses ne goolo 4-0 ekyagisobozesa okukuzibwa mu liigi ya Uganda ey'ababinywera. Omutendesi wa kilaabu ya SC Victoria University eyasooka yali Ivan Zoric omukugu okuva mu Serbia. Okugoberera okukuzibwa kwa kilaabu ya Sports Club Victoria University (SCVU) okuyingira mu liigi ya Uganda Super League mu 2012, SCVU yamalira mu kifo ky'akutaano mu sizoni ya 2012-13 era ekikopo ky'abangi ekya Uganda Cup mu 2013. SCVU yazannya mu mpaka za 2014 CAF Confederation Cup, nga yawangulwa kilaabu ya CS Don Bosco mu lawundi eyasooka.
Mu kikopo kya Uganda ekya 2014, SCVU yakubibwa mu mpaka ezaali ziddirira ez'akamalirizo aba kilaabu ya KCC FC nga yawangulwa ne ggoolo 2-1, oluvannyuma lw'omupiira igw'okubiri ogw'ali mu kusaawe ky'e Namboole nga gwaweera mu kulemagana.[1]