Kitante Hill Secondary School

Kitante Hill Senior Secondary School (KHSS), oluusi eyitibwa Kitante Hill School, ssomero lya gavumenti, erisomesa abawala n'abalenzi, nga abayizi bonna basoma bava waka. Essomero lino lisangibwa Kitante mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda (era nga wewava erinnya ly'essomero). Kitante hill esomesa abayizi ku mutendera gwa siniya mu bibiina okuva ku Siniya esooka okutuuka ku siniya eyomukaaga.[1]

Endagiriro

[kyusa | edit source]

Essomero lino lisangibwa mu kitundu kya Kitante mu ggombolola ya Kampala Central kilomita ssatu okuva mu ntabiro yeby'obusuubuuzi mu kibuga Kampala nga otambula odda mu bugwanjuba bwamambuka g'ekibuga. [2] Essomero lino liriraniganye n'essomero lya Kitante Primary School, wamu ne Uganda Museum. Essomero lino osobola okulituuka nga okozesa oluguudo lwa Acacia Avenue (John Babiiha Avenue), ku kasozi Kololo oba n'okozesa oluguudo Kira road. Ensengeka z'essomero lino ku maapu ziri 0°20'02.4"N, 32°35'06.0"E (Obusimba:0.3340; Obukiika:32.5850). [3]

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Kitante siniya yatandikibwawo mu 1960 nga ebula emyaka ebiri gyokka Uganda yeefuge. Essomero lino lyatandikibwa n'ekigendererwa eky'okusomesa abaana b'abakozi ba gavumenti ya Uganda abaana bano mu ntandikwa baali balenzi bokka. Ebyafaayo biraga nti essomero lino lyatandika n’abayizi 200 era nga mu budde obwo lyasomesanga bayizi abali ku mutendera ogwa siniya naye nga bali mu bibiina eby'awansi obudde buno ekiyitibwa O-Level. Mu 1986, emisomo gya haaya mu siniya oba jiyite A-Level nagyo gyagattibwa kw'ebyo ebisomesebwa mu ssomero lino n'okutuusa kati era oluvannyuma lw'omwaka gumu n'abayizi abawala n'ebakkirizibwa okusomera mu ssomero lino. Omuwendo gw’abayizi mu April wa 2014 gusukka 1,600. [4]

Ebyensoma

[kyusa | edit source]

Essomero lino lisomesa amasomo ga ssaayansi wamu n'ago agatali (Arts)

Abamanyifu abaasomerayo

[kyusa | edit source]

Abaamanyi abasomesayo

[kyusa | edit source]
  • Jacqueline Mbabazi – Omusomesa era munnabyabufuzi. Yasomesa amasomo ga ssaayansi mu ssomero lino wakati wa 1976 ne 1981 ono ye mukyala w'eyali ssaabaminisita wa Uganda Amama Mbabazi.[9]

Laba nebino

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://schoolsuganda.com/schools/kitante-hill-school
  2. Map Showing Kampala And Kitante With Distance Marker
  3. https://www.google.com/maps/dir/Kampala/Kitante+Hill+Secondary+School,+Somero+Road,+Kampala/data=!4m8!4m7!1m2!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!1m2!1m1!1s0x177dbba085d3ec0d:0x1d79811878ef9e42!3e0?sa=X&ved=1t:3747&ictx=111
  4. https://schoolsuganda.com/schools/kitante-hill-school
  5. https://www.thenewhumanitarian.org/report/58147/uganda-profile-main-opposition-leader-kiiza-besigye
  6. https://www.pulse.ug/entertainment/celebrities/moving-conversation-bebe-cool-had-with-his-mother-before-dropping-out-of-school/fvb6yxr
  7. https://www.watchdoguganda.com/news/20200831/99929/bobi-wine-i-attended-17-schools-in-my-academic-career.html
  8. https://www.watchdoguganda.com/sports/20200212/87341/profile-meet-moses-muhangi-a-youthful-businessman-giving-face-to-ugandas-boxing-sport.html
  9. https://chimpreports.com/50-year-journey-how-amama-mbabazi-met-canon-jacqueline/