Kyetume FC

Template:Infobox football clubKyetume FC kiraabu ya mupiira esibuka okuva e Mukono, mu Uganda nga esangi zino eri mu kibinja kya Uganda eky'okusatu.

Nga kisigaddeko emyezi esatu mu sizoni ya 2018–19 eya FUFA Big League, Kyetume FC yaleeta omutendesi Allen Kabonge kundagaano ya myezi esatu okubasobozesa okusumusibwa. Kabonge asinga kumannyikwa olw'okutwala ttiimu nnya ez'enjawulo okuva mu kibinja eky'okubiri ekya Uganda okuyingira ekyababinywera.[1]

Kyetume oluvannyuma yasobola okutiyamu mu zaali ez'okusalawo abaalina okuva mu FUFA Big League playoffs. Robert Ssentongo yateeba ggoolo satu mu mupiira gumu eza Kyetume mu zaali ezakamalirizo, nga kiraabu eno yaziwangula 4–1, nga bakuba Kansai Plascon, ekyabasobozesa okugenda mu kibinja kyababinyweera omulundi ogwaali gusokera ddala mu byafaayo bya kiraabu eno.[2][3]

Kyetume yawa George "Best" Nsinga okubeera omutendesi waabwe mu sizoni ya 2019–20 ey'ekininja kyawagulu.[3] Jackson Mayanja yaliko omutendesi waabwe.[4]

Kyetume ezannyira ku kisaawe kya Nakisunga Saaza Ground ng'era eno gyebakyaliza, nga kino kituuza abantu 1,000.[5]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Isabirye, David (21 February 2019). "Kyetume FC agrees terms with promotional 'king' Kabonge".
  2. Ssenoga, Shafik (18 May 2019). "Kyetume secures Uganda Premier League promotion".
  3. 3.0 3.1 Lubega, Shaban (24 June 2019). "George Best takes over at Kyetume FC". PML Daily.
  4. https://kawowo.com/2021/04/04/kyetume-fc-announce-legend-mayanja-as-head-coach/
  5. https://us.soccerway.com/teams/uganda/kyetume/42214/

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]