Lake Mulehe

Template:Infobox lakeLake Mulehe nyanja eyalegama ku lusozi esangibwa mu Disitulikiti y'e Kisoro mu Bukiikaddyobwobugwanjuba bwa Uganda, okuliraana n'ensalosalo za Rwanda. Enyanja eno kitundu ku Albertine Rift, era ng'emanyikiddwa lwa ngeri gye yatondebwawo.

Lake Mulehe

Endagiriro y'ekifo w'ekisangibwa

[kyusa | edit source]

Ennyanja Mulehe esangibwa mu bibalo bino wammanga 1°13'05.0"S 29°43'21.9"E n'obuwanvu bwa mita 1,800. Yetoloddwa omuddo n'ebiyinja ebyawagamira oluvanyuma lw'okuwandula omuliro, enyanja eno ntono ng'egerageranyizibwa ku bugazi bwa 4.11 square kilometers.[1][2]

Ebintu eby'etoloddewo

[kyusa | edit source]

Enyanja n'ebyetoloddewo ggulu eri ebinyonyi eby'enjawulo, ekikifuula ekifo ekirungi aw'okulabira ebinyonyi. Ebinyonyi ebimu eby'enjawulo ebisangibwayo mulimu n'ebinyonyi okuva ku Albertine Rift nga Engaali ne Rwenzori nightjar. Embeera y'enyanja eno esobozesa ebisolo by'omunyanja wabula ebitundu eby'etolodde n'okusobozesa ebimuli by'okuttale okukula.[3]

Ebikolebwawo n'ebyobulambuzi

[kyusa | edit source]

Lake Mulehe, esangibwa mu Virunga Mountains, efunye etutumu mu balambuzi olw'obulungi bw'ayo, ebisolo by'okuttale n'eby'obuwangwa ebikolebwawo. Ekifo kino kirimu emirimu egy'enjawulo egikolebwamu nga Okulaba ebinyonyi, okuseeyeyeza mu lyato, n'okulinya ensozi. Olusozi lwa Virunga Mountains, nga mulimu Muhabura, Mgahinga, ne Sabinyo, bikola kinene mu kwongera amakulu mu kitundu. Lake Mulehe ewaayo omuwedo mu by'obulambuzi n'okuvumbula emiriraano ng'ekkumiro ly'ebisolo Bwindi Impenetrable National Park, nga emanyikiddwa ng'ekifo ekisingamu amazike.[3][4]

Eby'obuwangwa

[kyusa | edit source]

Ebyalo ebiriranyewo ku Lake Mulehe eliko eby'obuwangwa eby'enjawulo nga emikolo gy'ebyobuwangwa ebisikirirza abalambuzi. Abalambuzi b'ogerezeganya n'abantu mu bitundu ebyo okwongera okumanya ku bulombolombo bw'abwe, ebibumbe n'embeera zaabwe ez'obulamu. Abakiga n'Abafumbira, ababeera mu bitundu ebyo, bamanyikiddwa olw'omutima ogw'okwaniriza n'amazina gaabwe amanyuvu.

Ebikolebwa okukuuma ekifo kino

[kyusa | edit source]

Ng'ekitundu ku Albertine Rift, engeri ez'enjawulo zituukibwako okukuuma obulungi n'obutonde bw'ekifo kino okuliraana enyanja Mulehe n'ebitundu ebiriraanyewo. Enkola zino zigendereramu okutumbula eby'obulambuzi n'okukuuma obutonde bw'ensi okuva eri abantu n'emirimu gy'abwe. Enkola zino zikolebwa okukwasaganya eby'etaaga by'abantu b'omu kitundu saako n'okukuuma embeera y'enyanja eno.[5][6][7]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.ugandagorillatrekkingtrips.com/lake-mulehe/
  2. https://www.insidemgahinganationalpark.com/visit-lake-mulehe.html
  3. 3.0 3.1 https://www.africangorilla.com/information/lake-mulehe/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  4. https://www.mgahinganationalpark.com/places/lake-mulehe.html
  5. (302–310). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/lake-mulehe-turns-green-kisoro-leaders-ask-govt-to-intervene-1711372
  7. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined