Ettendekero lya Law Development Centre ( LDC ) ttendekero lya bannamateeka mu Uganda era nga lisomesa amasomo gamateeka agenjawulo nga gasomesebwa mu bbanga okuva ku mwezi gumu okutuuka ku mwaka [1]
LDC lye ttendekero lyokka mu Uganda erisomesa Bar Course nga lino lyessomo erisobozesa bannamateeka okusobola okuwoza emisango mu kooti era nga omuyizi amaliriza emisomo gino atikkirwa Dipulooma eyitibwa Diploma in Legal Practice . Yadde nga LDC yokka yeesomesa Bar Course mu Uganda, ebiseera binji yesanga mu kusoomozebwa okwamanyi olwensonga nti abayizi banji ku ttendekero lino bagwa nnyo ebibuuzo ku ttendekero lino nga oluusi abayizi 90 ku buli 100 bagwa ebibuuzo ku LDC nga bwegwali mu mwaka 2019/2020.[2][3][4] LDC nga eri wamu ne Minisitule y’ebyamateeka n'essiga eddamuzi kwossa n'ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society, bazze bakola enkyukakyuka ezenjawulo okunogera ekizibu kino eddagala. Mu bimu ku byebaze bakola mulimu okuteekawo ebigezo ebituuliibwa abayizi nga tebannayingizibwa mu ttendekero lino okusobola okukasa nti abayizi bayina obusobozi okusoma n'okutegeera ebyo ebisomesebwa ku LDC, Okulinnyisa ebisaanyizo ebyetaagisa omuntu okuba omusomesa ku LDC, n’okwongera okutendeka abasomesa ku LDC ku ngeri ezenjawulo zebayinza okusomesa abayizi. Etterekero ly’ebitabo erya LDC library era lizze liteekebwamu ebitabo n'ebiwandiiko ebijja kwossa n'okuliyunga ku mutimbagano okusobozesa abayizi okusoma awatali kutaataganyizibwa. [5]
LDC esangibwa ku lusozi Makerere ku luguudo oluyitibwa Gadafi Road, kumpi ne Yunivasite e Makerere.LDC esangibwa kiromita nga 3.5 okuva mu masekatti g'ekibuga Kampala. [6] Ensengeka za LDC ku maapu ziri 0°19'28.0"N, 32°34'07.0"E (Obusimba:0.324444; Obukiika:32.568611). [7]
Mu mwaka gwa 2018, gavumenti ya Uganda yayisa enteekateeka z’okutandikawo amatabi ga LDC mu bibuga ebyenjawulo omuli Mbale mu buvanjuba bwa Uganda, e Mbarara mu bugwanjuba bwa Uganda, ne mu kitundu kya Lira mu mambuka ga Uganda. Ettabi lya LDC e Mbarara lyelyasooka okuggulwawo mu mwaka gwebyensimbi 2018/2019. [8]Ettabi e Mbale lyatandika okukola mu mwaka 2024, sso nga ettabi e Lira lyatandika mu mwaka 2021 nga liri ku Yunivasite ya gavumenti eya Lira yunivasite.[9][10][11]
Ettendekero lya LDC lyatandikibwawo mu mwaka 1970 era lyatondebwawo etteeeka li Law Development Center Act . LDC ttendekero lya gavumenti era nga lirina obuvunaanyizibwa okukola okunoonyereza, okulambika ku nnongoseereza mu mateeka, okufulumya ebitabo n'ebiwandiiko ku nsonga z'amateeka, okukola alipoota ku mateeka n'okuwabula abantu ku nsonga z'amateeka. LDC efugibwa akakiiko ak'okuntikko era nga kano kavunaanyizibwa kukutekateeka enkola okuddukanyizibwa ettendekero lino. Wansi w'olukiiko luno olufuzi waliwo omukulu w'ettendekero lino ayitibwa dayirekita era nga ono yaddukanya emirimu n'okukulira Dayirekita wa LDC eyasooka yali Kutlu Fuad . naddirirwa Francis Muzingu Ssekandi, oluvannyuma eyatwalibwa mu kkooti enkulu mu mwaka 1974 ate mu 1978 n’atwalibwa mu kkooti ejulirwamu eyasooka mu Uganda, oluvannyuma neyafuuka kkooti esukkulumu eya Uganda. Dayirekita mu kiseera kino ye Dr. Pamela Tibihikirra-Kalyegira .[12][13] [14]
Bano bebamu ku bantu abatutumufu abaasomerako ku LDC;