Lillian Tibatemwa-Ekirikubinza

 

Lillian Tibatemwa-Ekirikubinza Munnayuganda, Munnamateeka, musomesa era Mulamuzi ng'aweereza ng'omulamuzi mu Kkooti ya Uganda Ensukkulumu, okuva mu 2015.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Iganga mu 1961.[2] Yasomera ku Gayaza High School mu myaka gya 1970[3] ate amateeka n'agasomera ku Ssettendekero wa Makerere, mu Kampala, Uganda, nga yatikkirwa Diguli mu mateeka. Era alina Dipuloma mu kukola amateeka, nga yamuweebwa aba Law Development Centre, nga n'ayo eri mu Kampala.[2]

Diguli ye ey'okubiri mu mateeka ga commercial law, yagifunira ku University of Bristol mu Bungereza. Alina Doctor of Philosophy mu mateeka, gye yafunira ku University of Copenhagen mu Denmark.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Tibatemwa-Ekirikubinza yaweerezaako nga lekikyala, n'asomesaako ne pulofeesa n'oluvanyuma n'afuuka Pulofeesa owa mateeka ku Makerere Yunivasite. Ekyaddirira oluvanyuma lw'ekyo, yalinyisibwa ku ddaala ly'omumyuka akulira Makerere nga yali avunaanyizibwa ku by'enjigiriza mu Ttendekero.[4] Okumala ebbanga lya myezi mukaaga, okuva mu Gwokuna 2009 okutuusa mu Gwekkumi 2009 yaweerezaako nga akulira Yunivasite y'e Makerere.[1][2] Mu 2013, yalondebwa okwegatta ku Kkooti ya Uganda ejuulirwamu nga yaweereza okutuusa mu 2015, lwe yalodebwa okugenda mu Kkooti ensukkulumu.[1][2] Yalondebwa ku kakiikok'ensi yonna ak'abalamuzi ku kisanja eky'emyaka etaano.[5]

Omulamuzi Tibatemwa-Ekirikubinza yali mu ku balamuzi ba Kkooti etaputa Ssemateeka nga y'omu ku bangi abalonda (4 ku 1) nti "tewali kanyomero mu Ssemateeka akalaga nti Omulamuzi ey'awummula asobola okuddamu okulondebwa". Ye yawandiika akalulu k'abantu abangi akaava mu kusala okwo. Okusalawo kwa Kkooti okwo kwaleetera Omulamuzi Benjamin Odoki obutaddamu ku londebwa nga Ssabalamuzi olw'okuba nti yali atuusizza emyaka egy'okuwummula (70).

Ebikulu ebirala

[kyusa | edit source]

Mmemba mu kakiiko ka Uganda National Academy of Sciences ne an alumnus of the International Women's Leadership Forum. Lillian Tibatemwa-Ekirikubinza mufumbo eri Paul Ekirikubinza, omukugu mu by'enguudo okumala emyaka 20 era balina abatabani basatu.[2]

Emirimu gye yakolera ku sikaala

[kyusa | edit source]

Pulofeesa Tibatemwa-Ekirikubinza y'etabye buterevu mu kunoonyereza ku by'enjigiriza mu masomo g'amateeka n'okunoonyereza ku misango, eddembe ly'abaana, amateeka agafuga abaana abtannetuuka, eddembe ly'abakyala n'ekikula ky'abantu nga bino bye byamututumula ennyo. Emirimu gye gy'ekuusiza nnyo ku mateeka, eby'enfuna n'obyobuwangwa by'ekitundu nga akola emirimu ngasinziira ku kumanya kwe. Yetabye mu kunoonyereza ku mutindo gw'amatendekero aga waggulu.[6] Ng'ayita mu kunonyereza, afulumiza obutabo obw'enjawulo saako n'emikolo mu mpapula z'amawulire ng'akozesa okugerageranya mu mateeka, emsango emipagirire, emisango egikolebwa ku byuma bikalimazi, amateeka ag'akwata ku ddembe ly'obuntu, ekikula ky'abantu, emisango n'okunonyereza ku misango, amateeka g'abaana, amateeka agafuga abaana abatannaba kwetuuka, eddembe ly'obantu abaliko obulemu, amateeka agafuga amawulire n'embyempuliziganya (ICT); E-Commerce, emisango gy'oku kompyuta n'obujulizi.[7]

Ebyamuwandiikibwako

[kyusa | edit source]

Multiple Partnering, Gender Relations and Violence by Women in Uganda kyafulumizibwa mu 1998 nga ky'afulumizibwa aba East African Journal of Peace and Human Rights volume 4 issue 1 pages 15–40.[8] Property Rights, Institutional Credit and Gender in Uganda nga kyafulumizibwa mu 1995 nga ky'afulumizibwa aba East African Journal of Peace and Human Rights volume 2 issue 1 empapula 68–80[9] The Judiciary and Enforcement of Human Rights: Between Judicial Activism and Judicial Restraint nga kyafulumizibwa mu 2002 nga kyafulumizibwa aba East African Journal of Peace and Human Rights volume 8 issue 2 empapula 145–173.[10] Family Relations and the Law in Uganda: Insights into Current Issues kyafulumizibwa mu 2002 mu Int'l Surv. Fam. L page 433. Amateeka agafuga abaana abatannetuuka mu Uganda: Towards Restorative Justice kyafuluizibwa mu 2003 mu Ddembe ly'obuntu volume 9 issue 1 empapula 293–346.[11] Okutegeera eddembe ly'abaana: Omusango gw'okubigika n'okutulugunya abaana mu Uganda nga kyafulumizibwa mu 2003 mu East African Journal of Peace and Human Rights Volume 9 issue 1.[12]

Ebitabo bye y'awandiika

[kyusa | edit source]

More Sinned against Than Sinning: Women's Violent Crime in Uganda. Ph.D. dissertation: Kriminalistik Institut, Kobenhavn, Denmark mu 1995.[13] Women's Violent Crime in Uganda: More Sinned against than Sinning kyafulumizibwa mu 1999 nga Fountain publishers b'ebabifulumya.[14] Criminal Law in Uganda. Sexual Assaults and Offences Against Morality ky'afulumizibwa aba Fountain publishers mu 2005.[15] Offences against the person: Homicides and Non-fatal Assaults in Uganda kyafulumizibwa aba Fountain publishers mu 2005.[16] Judicial Bench Book on Violence Against Women in Commonwealth East Africa byafulumizibwa aba Commonwealth Secretariat mu 2016.[17] A Comparative Review of Presidential Election Court Decisions in East Africa. With F. Ssempebwa, E. Munuo, and Busingye Kabumba ky'afulumizibwa aba Fountain publishers mu 2016.[18]

Bye yatuukako

[kyusa | edit source]

Omulamuzi Lillian Tibatemwa-Ekirikubinza yali omu ku bakyala abasooka okufuna;

  • Omukyala eyasooka mu Buvanjuba bwa Africa okufuna PhD mu mateeka[19]
  • Omukyala eyasooka okufuuka Pulofeesa w'amateeka ajjudde mu kitundu kya East African
  • Omukyala eyasooka okulondebwa mu kifo ky'omumyuka w'amyuka okulembera Yunivasite ye Makerere mu Uganda[6]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-07. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 https://medium.com/@princemulindwaisaac/profiling-the-justices-of-the-supreme-court-the-career-side-b3a3d0e02bc9
  3. https://gayazaoldgirls.com/imt_team/justice-lillian-tibatemwa/
  4. http://www.monitor.co.ug/News/National/Controversy-as-Tibatemwa-remains-Makerere-deputy-VC/688334-1487022-e13igq/index.html
  5. http://theinsider.ug/index.php/2018/03/02/lady-justice-prof-tibatemwa-elected-to-the-icj/
  6. 6.0 6.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-22. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-03. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://africabib.org/rec.php?RID=170616444&DB=w
  9. https://africabib.org/rec.php?RID=15761882X&DB=w
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-02. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://brill.com/view/journals/hron/9/1/article-p293_11.xml
  12. https://www.africabib.org/rec.php?RID=269615296
  13. https://africabib.org/rec.php?RID=W00097121&DB=w
  14. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-9970021666
  15. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-9970024780
  16. https://www.africanbookscollective.com/books/offences-against-the-person
  17. https://books.thecommonwealth.org/judicial-bench-book-violence-against-women-commonwealth-east-africa-paperback
  18. https://www.worldcat.org/oclc/959068381
  19. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-31. Retrieved 2024-04-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.Template:Supreme Court of Uganda