Makerere, Kampala | |
---|---|
Country | ![]() |
Region | Central Uganda |
District | Kampala Capital City Authority |
Division | Kampala Central Division |
Elevation | 1,240 m (4,070 ft) |
Saawa | EAT (UTC+3) |
Makerere ( /m ə ˈ k ɛr ər i / mə-KERR -ər-ee ) [1] kitundu ekisangibwa mu kibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda . Erinnya lino likwata ne ku lusozi ekitundu kino kwe kitudde; olumu ku nsozi omusanvu ezaasooka ezaakola Kampala mu kiseera we yatandikibwawo, ku ntandikwa y’emyaka gya 1900.
Makerere esangibwa mu Divizoni y'e Kawempe .mu bukiikakkono egabana ensalosalo ne Bwaise, ebuvanjuba ne Mulago, mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba ne Wandegeya ne Nakasero, mu bugwanjuba ne Kampala mukadde, mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ne Naakulabye . Kasubi ne Kawaala zisangibwa mu maserengeta ga Makerere. Ekifo kino kiri mu kilometres 2.5(1.6 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bwa Kampala disitulikiti y'ebyobusubuzi . [2] Ensengeka za Makerere ku maapu ziri :0° 20' 6.00"N, 32° 34' 12.00"E (Latitude:0.3350; Longitude:32.5700). [3]
Olusozi Makerere okusinga luli mu yunivasite y'e Makerere . Mu myaka gya 1970 ne 1980, yunivasite eno yalina ebisulo ebisulumu ebiwerera ddala mwenda, mukaaga nga bya basajja ate bissatu nga bya bakazi. Mu myaka gya 1990 n’entandikwa ya 2000, ng’abayizi abayingira mu yunivasite n'omuwendo gw’abayizi gweyongera okuva ku 5,000 okutuuka nga ku 40,000, ebisulo by’obwannannyini byazimbibwa okwetooloola olusozi, ebweru wa yunivasite, okusobola okusikiriza abayizi abapya abayingira. Ebisulo eby’okusulamu ebyasooka bye bino:
Ebifo bino ebikulu bisangibwa ku lusozi Makerere oba okumpi n’ensalo zaalwo:
Ebifo ebirala bino eby’enjawulo nabyo biri mu Makerere oba okumpi nayo:
Template:Kampala District00°20′06″N 32°34′12″E / 0.33500°N 32.57000°E