Martin Ssempa

 

Martin Ssempa (yazaalibwa 1968) Munnayuganda omusumba w'ekkanisa y'abalokole owa charismatic, omulwanirizi w'enkyukakyuka mu bantu ne by'obufuzi, era nga ye mutandisi w'ekkanisa ya Makerere Community Church. Yeeyitanga Pastor Doctor Martin Ssempa, naye kati yeeyita lya Gabriel Baaba Gwanga'mujje Eri Yesu.[1] Ssempa yayaatiikirira nnyo okutuuka ku mutendera gwensi yonna mu 2010, oluvannyuma lw'okukola akatambi ku kkanisa ye nga kawakanya ebisiyaga, ne kasasaana nnyo mu nsi.

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Martin Ssempa yazaalibwa Naluzaale mu Disitulikiti y'e Masaka mu Uganda mu 1968 nga ye maama ali yekka. Yali tamanyi kitaawe. Maama we yali musomesa era yakyusa amasomero emirundi mingi ng’akyali mwana muto. Ssempa yagenda ku Kimanya Primary School e Masaka ne St. Peter's Primary School e Nsambya . Oluvannyuma yagenda ku Rubaga Boys’ Secondary School, nga tannamaliriza ddaala lya A mu ttendekero lya Namilyango College . Mu myaka gye egy’obutiini yafuuka sereebu mu East Africa nga nnantameggwa w’eggwanga mu break dancing . Mu 1988, Ssempa yakkirizibwa mu Ssettendekero ya Makerere University .

Bwe yali ku Yunivasite, muganda wa Ssempa ne mwannyina baakwatibwa akawuka ka siriimu. Ssempa yatuulanga kumpi n’ebitanda byabwe nga bwe beeyongera okulwala. Bwe baafa mu 1990, yabanenya olw'obugwenyufu bwabwe era n’atya nti naye obulamu bwe bwandimuviirako okufa Mukenenya; bwe kityo, yasalawo okubaako ky’akolawo. Ssempa yakyuka n’adda mu ddiini y’Ekigambo bwe yali ku Wandegeya Baptist Youth Center. Yatalaaga eggwanga lyonna n’ekibiina kya katemba ekyayimba n'okuzannya mu masomero mu kaweefube w’okusomesa abayizi ku bulwadde bwa mukenenya.

Ssempa yatikkirwa e Makerere ne Diguli Esooka mu bya Social Science, nga essira alitadde mu nkwatagana z'abantu oba sociology. Oluvannyuma yafuna Diguli Ey'okubiri mu Arts mu kubuulirira abantu, era nga yasomera ku Cairn University.[2][3][4]

Obutuuze bwe

[kyusa | edit source]

Okusinziira ku bbaluwa y'abalonzi eyaweebwayo nga 6 Ogwomusanvu 2012, Ssempa mutuuze wa America.[5]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Obuweereza

[kyusa | edit source]

Mu 1996, yatandikawo ekkanisa ya Makerere Community Church ku ttaka lya Makerere University.[6]

Kaweefube w'okulwanirira enkyukakyuka

[kyusa | edit source]

Ssempa awakanya eky'ekkanisa okweyawula ku gavumenti era n'okukozesa obupiiira bu galimpitawa mu kwetangira okufuna akawuka akaleeta Mukenenya. Ye awagira obwetangize wamu n'okusomesa ku bwesimbu ku bulamu bw'omuntu mu kulwanyisa endwadde eziva mu kwegatta.[7] Ssempa agamba nti akulembeddemu okusaba okw'ekikungo okugendereddwamu "okugoba ebisiyaga mu Uganda, nga alangirira etteeka mu Uganda eryateesebwa nga lireetera ebikolwa bino ebikyamu okuviiramu ababtu okubonerezebwa nga basibwa obulamu bwonna mu makomera, oba mu mbeera ezimu okuvaamu okusobezebwako, oba okufa".

Ssempa awagidde nnyo ekkomo ku butabanguko obuva ku njawukana mu mawanga n'obukyayi mu Uganda.[8] Muwagizi nnyo Ow'ekiteeso Ekikugira Ebisiyaga mu Uganda.[9] Ssempa akulembeddemu okuwakanya kuno nga alaga obutambi bw'abalya ebisiyaga, nga kiraga nti bajaguza, anilingus, ne coprophilia mu kkanisa ye ne mu nkungaana. [10] Endaga zino zaasaasaana nnyo era nga baziyita "Eat Da Poo Poo" ku mitimbagano.[11] Ssempa afuuse mumanyifu ku mitimbagano oluvannyuma lwa bino n'ebikolwa bye ebirala ebiraga okuvumirira ebisiyaga, nga okusinga okumanyibwa kwali mu kukyazibwa ku ttivvi mu an appearance on the lulaga lw'okumakya olw'ayitibwa Morning Breeze mwe baali n'omuwagizi w'ebisiyaga ayitibwa Pepe Julian Onziema. Yatuumibwa erinnya lya Pasta" n'erya "Pasta Senpai" ku mutimbagano.

Ku kiteeso ekyo, Ssempa ayogedde bino:

Abantu abamu babuuza lwaki waliwo ekibonerezo ky'okufa mu kiteeso kino. Wabaddewo okutambuza amawulira amakyamu ku nsonga eno era emitwe emikulu egimu gisoma nti: “Abali b'ebisiyaga b'akutiibwa mu Uganda”. Emitwe gino giwabya mu bugendelevu. Ekibonerezo kino kikola mu mbeera ezimu ezimanyiddwa nga 'esusse', nga muno mulimu, abo abawawaabiddwa okukituusa ku balala nga babakaka omuli abaana oba abaliko obulemu; kino kikola ku abo abakwasi b'abaana abato! Nga bwe kyatangaazibwa nti waliwo obuzibu bwa 'okukwata omwana embeerera kuwonya Akawuka n'Obulwadde bwa Mukeneya' omuzzi w'omusango guno aba alina Akawuka; omuzadde oba alabirira omwana asobezeddwako omuntu we! Era bano bakomekkerera bakozesezza eddagala eriwunza abaana bano oluvannyuma ne babasobyako! Kirabwa bulungi nti ekigendererwa mu kino ky'akukuuma abo abanafu mu bitundu gyetubeera okuva ku bantu ababi. Bambi mumanye nti okusukka mu myaka 15 Uganda ezze egaba ekibonerezo kino nga kiweebwa abantu abakwasi b'abaana n'abantu nga tebasosola mu kikula, okusinga nga kikolebwa kutaasa omwana ow'obuwala ku basajja. Ku mulundi guno ekigendererwa ky'akutaasizaamu n'omwana omulenzi, naabalala.[12]

Amaanyi ge mu bantu

[kyusa | edit source]

Amaanyi ga Ssempa mu nsi yonna gayoleseddwa ng’ayita mu mirimu gyakoze n’ettabi ly’ekitongole kya Amerika ekikola ku nkulaakulana y’ensi yonna, President's Emergency Plan for AIDS Relief (PEPFAR). Olw’okwenyigira mu nsonga z’ekiteeso ky’okulwanyisa ebisiyaga ly’awagira mu nsi ye, PEPFAR ebibiina by'abawagizi b'ebisiyaga abakazi n'abasajja bibadde bi kiraba nga ekitumbula okutya okukola omuze gw'ebisiyaga. [13]

Mu kugatta ku kigendererwa kye eky'okulwanyisa ebisiyaga, Ssempa abadde omu ku bawandiisi abaakola enkola ya "Obwetangize n'okubeera omwesigwa" eya Uganda mu 2004; enkola eno yava mu kuddamu kutunula mu yali eriwo eya " ABC" – Okwewala, Okubeera Omwesigwa, n'Okukozesa Obupiira. Ng’oggyeeko ekyo, ye mukiise ow’enjawulo ow’ekibiina ekivunaanyizibwa ku mukenenya ekya Task Force on AIDS of Uganda ekya Mukyala W'omukulembeze W'eggwanga Janet Museveni . Ssempa awadde obujulizi mu lukiiko lwa United [14]States Congress ku kirwadde kya siriimu mu Africa .

Edda, Ssempa yali akwatagana ne Rick Warren ne Saddleback Church mu kigendererwa eky'okulwanyisa Mukenenya. [15] Mu kiseera ekyo, yali aweereza ng’omwogezi omukulu mu lukungaana lwa Warren olwa Disturbing Voices AIDS; Okuva olwo Warren yeeyawula ku Ssempa n’asalako ddala enkolagana naye mu 2007. [16]

Okukwatibwa kwe n'okuvunaanibwa

[kyusa | edit source]

Mu Gwekkumi gwa 2012, Ssempa n’abantu abalala bataano baasingisibwa omusango mu kkooti ya Buganda Road ogw’okwekobaana okwonoona erinnya ly’omusumba gwe yali avuganya naye nga bamulumiriza mu bukyamu nti yeenyigira mu bisiyaga. Omusango guno gwava ku musango ogwagwawo mu Gwokutaano, 2009 Ssempa n'abalala mwe beenyigira mu lukwe ne bakaka abasajja b'ekkanisa mu Lutikko ya Robert Kayanja e Rubaga Miracle Center Cathedral okugamba nti beegatta ne Kayanja. Oluvanyuma lwa poliisi okunoonyereza, abavubuka bano baggyayo okulumiriza kwabwe era ne beewozaako nti baali baafunye ssente okwogera nti basobezebwako omusumba Kayanja. Abantu bano omukaaga okuli ne Ssempa baavunaanibwa omusango gw’okutyoboola erinnya lyabwe ne basalirwa engassi ya kakadde kamu buli omu (mu Dollar ziri 390) n’okuweereza abantu essaawa kikumi.

Okumukomerera

[kyusa | edit source]

Mu 2014, omuwandiisi w’ebitabo Munnayuganda Paul Kaliisa yamuvumirira okutumbula ebisiyaga olw’okulaga obutambi bw’obuseegu obw'ebisiyaga mu masinzizo, n’ayogera nti ebikolwa bino birina okuteekebwako envumbo mu tteeka lya Kiteeso kya Uganda Eky'okulwanyisa Ebisiyaga . [17]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://twitter.com/martinssempa/status/1078632566083719168
  2. https://web.archive.org/web/20091219034539/http://www.newvision.co.ug/D/9/657/631662/
  3. https://www.independent.co.ug/interview-pastor-martin-ssempa-on-bobi-wine/
  4. http://www.crosswalk.com/blogs/ewthrockmorton/11616589/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2010-02-21. Retrieved 2024-09-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.ccrjustice.org/home/press-center/press-releases/anti-gay-ugandan-extremist-martin-ssempa-us-citizen-testimony
  7. https://allafrica.com/stories/200403100019.html
  8. https://web.archive.org/web/20091225191303/http://www.martinssempa.com/warren-response.html
  9. http://www.independent.co.ug/index.php/component/content/article/106-myblog/1923-tribal-politics-role-of-the-church-in-peace-building
  10. https://web.archive.org/web/20120926174046/http://af.reuters.com/article/topNews/idAFJOE60E0E720100115?pageNumber=1&virtualBrandChannel=0
  11. http://www.huffingtonpost.com/2010/02/18/martin-ssempa-anti-gay-ug_n_467157.html
  12. https://gayety.co/explaining-the-why-are-you-gay-meme
  13. http://www.thedailybeast.com/blogs-and-stories/2009-01-07/the-truth-about-rick-warren-in-africa/full/
  14. {{cite web}}: Empty citation (help)
  15. https://www.hrw.org/news/2007/10/11/letter-congressional-caucus-about-us-support-ugandan-homophobia
  16. https://www.metroweekly.com/2009/12/c-street-rick-warren-george-b/
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-05. Retrieved 2024-09-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)