Mary Jossy Nakhanda Okwakol (yazaalibwa 1951) munayuganda kakensa mu yunivaasite, munabyanjigiriza, mukugu ku bisolo era omukulembeze w'omu kitundu. Mu kiseera kino ye ssentebe w'ekitongole ekya Uganda National Examinations Board.
Nga kino tekinnabaawo, okuva mu Ogwekkumi 2006 okutuuka mu Ogwokutaano 2017, yaweereza ng'omumyuka w'akulira Univaasite eya Busitema, erimu ku yunivaasite z'eggwanga omwenda mu Uganda.
Yazaalibwa ku kyalo Namunyumya, mu disitulikiti y'e Iganga, mu buvanjuba bwa Uganda, awo nga mu 1951. Yasomera mu ssomero lya Namunyumya Mixed Primary School, ng'asoma pulayimale. Mary Okwakol yagenda mu ssomero lya Mount Saint Mary's College Namagunga.
Alina diguli mu Sayansi (BSc) mu Zoology, gyeyafuna mu 1974, okuva mu Makerere University, yunivaasite esingayo obukadde mu East Africa. Alina Master of Science (MSc), mu Zoology, gyeyafuna mu 1976, era okuva mu Makerere University. Diguli ye ey'okusatu(PHD) mu Zoology nayo yagifuna mu Makerere University mu 1992.
Oluvannyuma lw'okumaliriza e Makerere mu 1974, Mary Okwakol yayitibwa okuddayo mu Faculty of Science ng'omuyambi w'omusomesa. Amangu ago yatandika okusoma amasomo ga Masters era n'amaliriza mu 1976. Yalondebwa okuba omusomesa. Mu 1988, yafuuka omusomesa omujjuvu. Yayingira mu pulogulaamu ya PhD mu University of Oxford mu Bungereza, naye teyasobola kweyongerayo na misomo gye olw'obuvunaanyizibwa bw'amaka mu Uganda. Yakyusibwa n'agenda e Makerere n'attikirwa mu 1992. Okuva olwo yaweebwa obwa kakensa okuva eri Makerere. Mu kutondebwawo kwa Yunivasite ya Gulu mu 2004, yalondebwa ng'omumyuka w'omukulembeze w'essomero, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa lwe yalondebwa ng'omumyuka w'akulira yunivasite ya Busitema mu 2006. Mu 2019, Mary yalondebwa nga Senkulu wa National Council of Higher Education, ekifo ky'alina okuva mu 2021.
Profesa Okwakol mmemba mu kibiina kya Forum for African Women Educationalists, ekitongole eky'obwanakyeewa ekya Pan-African, ekyatandikibwawo mu 1992, ekikola mu mawanga 32 ag'omu Afirika. Olukiiko luno lugendererwamu okuwa amaanyi abawala n'abakyala okuyita mu buyigirize obwesigamiziddwa ku kikula kyabwe. Ab'omu kibiina kino mwe muli abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu, abakugu mu by'ekikula, abanoonyereza, abakola enkola z'eby'enjigiriza, abawagizi b'abakulembeze b'omu yunivasite ne minisita Ow'eby'enjigiriza. Ekitongole kirina ekitebe kyaakyo ekikulu mu Nairobi, Kenya, era kirina woofiisi z'ebitundu mu Dakar, Senegal. Kakensa Okwakol yafulumya ebiwandiiko bingi mu mpapula z'amawulire era awandiise essuula mu bitabo bya ssaayansi ebikwata ku mirimu gye egy'enjawulo. Mu Ogw'okutaano 2014 yalondebwa okuweereza nga ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga aka Uganda National Examinations Board.
Busitema University Gulu University Ugandn Academics Eastern Region,Uganda Busoga sub-region