Matthias Ssekamaanya

 

Matthias Ssekamaanya (yazaalibwa 15 Ogwekkumi 1936), musosodooti mu Uganda, era nga ye Bishop Emeritus w’essaza lyabakatoliki ly’e Lugazi, nga yalondebwa ku kifo ekyo nga 9 Ogwokussatu 1985 era nga yawummula obusumba nga 4 Ogwekkuminogumu 2014. [1]

Obulamu bwomubuto n’obusaserdooti

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssekamaanya yazaalibwa nga 15 Ogwekkumi 1936, ku kyalo Kasolo, mu Disitulikiti y’e Mubende mu Buganda Yatuuzibwa ku bwafaaza nga 19 December 1965 mu Ssaza lya Kampala era n’aweereza nga Omusaserodooti mu Ssaza ekkulu lya Kampala, okutuusa nga 9 Ogwokussatu1985. [1]

Yalondebwa okuba omusumba nga 9 Ogwokussatu 1985, n’aweereza nga Auxiliary Bishop wa Kampala era nga Titular Bishop wa Iziriana. Yatuuzibwa ku busumba nga 2 Ogwomukaaga 1985 e Kampala nga Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga †, Ssaabasumba wa Kampala, ng’ayambibwako Omusumba Barnabas Rugwizangonga Halem 'Imana †, Omusumba w'e Kabale n'Omusumba Paul Lokiru Kalanda †, Omusumba w'e Moroto . [1]

Yalondebwa okuba Omusumba w’essaza ly’e Lugazi nga 30 Ogwekkuminogumu 1996 nga yatuuzibwa Paapa John Paul II n’atuuzibwa ng’Omusumba w’e Lugazi eyasooka (eyatandikawo). Nga 4 Ogwekkumi nogumu 2014, okulekulira kwe olw’emyaka gye kwakkirizibwa Paapa Francis, eyalonda OmusumbaChristopher Kakooza okumuddira mu bigere. [1] [2]

  • Abajulizi ba Uganda
  • Obukatoliki bwa Roma mu Uganda

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bssek.html
  2. http://press.vatican.va/content/salastampa/it/bollettino/pubblico/2014/11/04/0815/01718.html#Rinuncia%20del%20Vescovo%20di%20Lugazi%20%28Uganda%29%20e%20nomina%20del%20successore