Mercyline Chelangat (yazaalibwa nga 17 Ogwekkuminebiri 1997) Munnayugandamuddusi wa mbiro mpanvu.[1] Yavuganya mu misinde gy'abakyala egy'ensi yonna mu 2017 mu mmita 10,000.[2] Mu 2018, yavuganya mu mpaka z'abakyala ba bbingwa egya 2018 African Cross Country Championships egyali mu Chlef, Algeria.
Mu gwomukaaga 2021, yayitamu okukiikirira Uganda mu mpaka za Olympics wa 2020.[3]