Mpigi | |
---|---|
Country | Uganda |
Region | Central Uganda |
District | Mpigi District |
Elevation | Template:Infobox settlement/impus |
Abantu (2020 Estimate) | |
• Total | 49,500[1] |
Ekibuga ky'Empigi kisangibwa mu ssaza ly'e Mawokota mu Disitulikiti y'e Mpigi, mu masekkati ga Uganda . Mpigi kitebe kya munisipaali, enzirukanya y’emirimu n’ebyobusuubuzi mu Disitulikiti eyo. Disitulikiti eno yatuumibwa erinnya ly’ekibuga lyennyini. [2]
Mpigi kibuga kikulu ekiyitamu abantu nga kisangibwa kilometres 40 (25 mi) mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kye kisinga obunene, ku luguudo lwa Kampala–Masaka . [3] Ekibuga Mpigi we kiri kigifuula ekifo eky'okuyingirira mu disitulikitie z'enjawu kuli Mpigi, Wakiso, Butambala, Gomba, Mityana, Kalungu ne Kalangala, nga bayita ku myalo egyenjawulo okukka ku lubalama lw'ennyanja Victoria . Ku lusozi Mbale olusangibwa munda mu kibuga mukibuga kino, okusibuka omu ku bakatonda b'ennono abamanyiddwa ennyo mu Buganda ; Kibuuka Omumbaale. kulusozi luno kwe kuli embuga y'ab'ekika ky'e "Ndiga" (endiga). Endagiriro y'ekibuga ku maapu eri 0°13'48.0"N 32°19'48.0"E (Latitude:0.2300, Longitude:32.3300). [4] Mpigi Town Council etudde ku buwanvu bwa 1,217 metres (3,993 ft) waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja obutereevu . [5]
Mu kubala abantu mu ggwanga mu mwaka gwa 2002, abantu mu kibuga ky'eMpigi baali emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bina34,400. Ate mu mwaka gwa 2010, ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) ekivunanyizibwa ku bibalo, kyabalirira nti omuwendo gw’abantu mu kibuga kino gwali mu mitwalo esatu mu kanaana mu mu bisatu 38,300. Mu mwaka gwa 2011, UBOS yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Mpigi gwali emitwalo esatu mu kanaana mu lunaana 38,800. [6] Ate mu mwaka gwa 2014, okubala abantu mu ggwanga lyonna kwalaga nti omuwendo gw’abantu mu Mpigi gwalinya ku bantu emitwalo enna mu enkumisatu mu bisatu mu nkaaga 43,360. [7]
Mu mwaka gwa 2015, ekitongole kya UBOS kyabalirira nti abantu b’omu kibuga kino baali bali mu mitwalo enna mu enkumi nnya mu bibri 44,200. Mu mwaka gwa 2020, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu mu gwanga kyabalirira nti abantu b’e Mpigi mu makkati g’omwaka baali bakunukiriza emitwalo enna mu kenda mu bitano 49,500, nga ku bano abantu emitwalo ebiri mu enkumitaano mu bibri 25,200 (50.9 ku buli 100) baali bakyala ate 24,300 (49.1 ku buli 100) baali basajja. Ekitongole kya UBOS kyabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Mpigi Town gwakula ku kigero kya wakati wa bitundu 2.29 ku buli 100 buli mwaka, wakati w'omwaka gwa 2015 ne 2020. [1]
Ebifo bino wammanga bisangibwa munda mu Mpigi oba okumpi n’ensalo zaakyo: [4]
1. 1. . Ekitebe ky’abaddukanya disitulikiti y’e Mpigi
2. 2..ofiisi za town councel y'ekibuga
3. 3. . Akatale ka Mpigi Central market
4. 4. . Kkooti y'omulamuzi omukulu e Mpigi
5. 5. . Mpigi Military Barracks, ekitongole ekitandikibwawo eggye lya Uganda People's Defence Force
6. 6. . Police Barracks e mpigi, nga yatekeebwawo ekitongole kya Poliisi ya Uganda
7. 7. . Ekkomera e Mpigi nga lino lyatandikibwawo ekitongole ky’amakomera mu Uganda
8. . Mpigi Hospital, eddwaliro ly'ebitanda 100 nga liddukanyizibwa minisitule y'ebyobulamu mu Uganda [8]
9. 9. . Oluguudo lwa Kampala-Mpigi Expressway, oluguudo olusasulwa emirongooti ena wakati wa Kampala ne Mpigi, nga luzimbibwa, nga lusuubirwa okuggwa mu 2025. [9]
Ekibuga kino kimanyiddwa nnyo ng'ekibuga ekikulu eky'amakolero g'engooma nga ngoma drums . Engoma zonna wano zikoleddwa n’emikono. [10]