Ngala kitundu kya gavumenti ez'ebitundu mu ssaza ly'e Borno mu Nigeria, okuliraana ensalo ne Cameroon . Ekitebe kyayo kiri mu kibuga Gamboru Ngala .
Tekirina kitundu kya yiika 1,465 km2 n'obungi bwabantu abenkana 237,071 mu kubala abantu mu mwaka gwa 2006.
Koodi ya posita eyekitundu kino eri 611.[1]
Yemu ku LGAs ekkumi n'omukaaga ezisomesa Dikwa Emirate, a Eggwanga erye nnonobisangibwa mu gwanga lya Borno , Nigeria.[2]
Ettaka eriri mu Ngala okutwalira awamu lirimu ebiwonvu ebibikkiddwa kungulu omusenyu ne bumba okusingira ddala okukunnganyizibwa kwo musenyu olwekikolwa ky'empewo ezifuga okufuuwa omusenyu gwa sahara ogutabuddwa okuva mu ddungu okutuuka mu bitundu eby'ebbali . Omugga gwa Gnadda gwe mugga gwokka ogiyita mu kitundu ekyo . Enkuba mu Ngala etonnya sizoni.Erina ebiseera byayo mu mwezi ogwomunaana n'ogwomwenda .
Ebyobugagga ebyomuttaka omuli ebbumba ne bentonite.[3]
Ebbugumu lyo mewzi ogwokuna mu Ngala liri 106°F,ate e bbugumu erisinga obutono mu mwezi gwo lubereberye mu mwaka liri 79°F, Okwo gattako sizono ye bbugumu.[4]
Abantu abali mu bifo ebisomerwamu abansinga kubo bakozesa nnyo ennimi zino Kanuri, Hausa/Fulani-.