Omukutule era oyinza okukiyita "emu enkutule" oba "emwenkutule" kubanga mu butuufu omukutule guba muwendo omulamba omukutulemu ebitundu. Singa oddira emi n'ogikutulamu ebitundutundu , buli kitundu kiyitibwa " mukutule", ekitegeeza "omuwendo omukutulemu". Muwanga anokoolayo emikutule egy'enjawulo mu Luganda bwati:
(a)Omukutule ogwa nigeemu(unit fraction)
(b) Omukutule omutuukirivu(Proper fraction).Guno guba ne kinnawansi nga nnene okusinga kinnawaggulu.Ekyok. 1/2.
(c) Omukutule ogutali mutuukirivu( improper fraction). Guno guba ne kinnawansi nga kitono okusinga kinnawaggulu.Ekyok. 2/1
(d) Omukkutule omugattike (Mixed fraction). 3 1/5
(e) Omujjuulirizo gw'omukutule(the compliment of a fraction).
Ekyok. 2/5 gwe mujjuulirizo gwa 3/5
(f)Omukutule ogwa bulijjo(Common fraction) gubaako kinnawansi(denominator) ne kinnawaggulu (numerator).Ekyok. 2/10. Omukutule ogw'omutonnyeze nga 0.2 tegubalibwa nga mukutule gwa bulijjo.
(g)Omukutule ogw'omutonnyeze(Decimal fraction).
Ekyok. 0.2 mukutule ogw'omutonnyeze. Guno si mukutule ogwa bulijjo(not a Common fraction)