Patricia Apolot

 

Patricia Apolot mukyala Munnayuganda omukugu mu muzannyo gwa Mukyakamukyaka. Ye mukyala Nnantamegwa wa Uganda aliko mu muzannyo Gw'ensambaggere[1] era y'alina omusipi gwa Super Lightweight World Kickboxing Federation International, gwe yafuna mu Gwomukaaga 2015, nga yawangula Ivana Mirkov owa Serbia, mu Dunaújváros, Hungary.[2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Patricia yazaalibwa eri Josephine Aujo ne Emmanuel Mukula nga 6 Ogwekkuminogumu 1990. Yakulira mu Ngora, ng'alabirirwa Maama wa Jjajja we ku ludda lwa maama. Yasomera ku St. Aloysius Primary School okuva mu 1996 okutuusa mu 2002, olwo n'adda ku Teso Integrated Secondary School, ng'eno gyeyamalira emisomo gye egya O-Levo mu 2006. S6 yagimaliririza mu 2008.[3]

Oluvanyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya A-levo, Yasenguka n'adda mu Kampala okubeera ne nnyina. Oluvanyuma lw'okugezaako emizannyo egy'enjawulo nga Okusamba omupiira, yasalawo okukaza omuzannyo gw'okukuba ebikonde mu 2010. Ogwo gwe gwakyusibwa okufuuka Ensambaggere mu 2013. Mu 2014, yafuuka mukugu mu muzannyo gw'ensambaggere.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Mu Gwomusanvu 2014, yakuuma omusipi gwe ogwa national kickboxing bwe yawangula Jackie Nassimbwa[4] Nga 27 Ogwomukaaga 2015, mu Dunaújváros, Hungary, Patricia Apolot yawangula Ivana Mirkov owa Serbia, mu lu lwana lw'ebazannya mu mpaka z'ensi yonna eza World Kickboxing Federation (WKBF) female Lightweight title. Mu kaseera weyawangulira, Ivana yakwata kifo kya 16 mu nsi yonna mu mizannyo gya WKBF.[5] Mu Gwekkuminogumu 2015, Apolot yakuuma omusipi gwe bweyawangula eyali Nnantameggwa wa Anita Nagy, era mu Dunaújváros, ng'ayita mu kakoddyo ak'enguumi tonziriranga.[6] Omuwanguzi ono yalina ebirowoozo ebirala, okuva mu kutendekebwa mu Poliisi, okufuuka omusambi w'omupiira azannyira mu Proline Football Academy okumala emyaka ebiri. Yazannya emizannyo egiwera ne Ttiimu ye Ggwanga Uganda.

Awaadi z'eyafuna n'empaka z'eyavuganyamu

[kyusa | edit source]

Patricia Apolot alina ebitiibwa bino wammanga:

  1. Muwanguzi w'omudaali gwa Zaabu - Mt. Gorilla Taekwondo Open
  2. Muwanguzi w'omudaali gwa Zaabu - 2013 East Africa Inter-Club Boxing Championships
  3. 2014 National Kickboxing Champion (Female Lightweight Division)[7]
  4. World Kickboxing Federation International Titleholder (Female Lightweight Division).

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

 

  1. http://www.newvision.co.ug/news/658053-kickboxer-apolot-eyes-african-title.html
  2. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Patricia-Apolot--Uganda-s-female-kickboxing-star/-/689842/2822464/-/jwrjxr/-/index.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://ugandaradionetwork.com/story/female-kick-boxer-apolot-to-defend-title-friday
  5. http://ugandaradionetwork.com/story/apolot-tops-world-kickboxing-federation-women-lightweight-category#author
  6. http://www.monitor.co.ug/Sports/OtherSport/Powerful-Apolot-Nagy-retain-title/-/690284/2949782/-/omand4z/-/index.html
  7. http://ugandaradionetwork.com/story/patricia-apolot-retains-her-kick-boxing-title