Peter Takirambudde

Peter Takirambudde Munnayuganda Omukulembeze w'ekitongole ekirwanirizi ky'eddembe ekya Human Rights Watch ekya Sub-Saharan Africa.

Nga tannaba kwegatta ku kitongole kya Human Rights Watch mu 1995, yali Pulofeesa ku University of Botswana. Munnamateeka era nga yatikkirwa okuva ku Ssettendekero wa Makerere mu Uganda. Takirambudde yafuna PhD in International Business Law okuva ku Yale University, era nga aloopye ku bikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu mu bitundu nga Liberia ne Cabinda ne mu lutalo olw'atuumibwa Darfur conflict, yagamba

Newankubadde wabalukawo ekittabantu, ekipimo ky'obuzibu ky'ebyo ebyali bigenda mu maaso naddala ebikolwa eby'obukambwe mu lutalo lwa Darfur by'etaaga okufiibwako mu bwangu. Oluvanyuma lw'okulemererwa kwa Sudan okuvunaana abakozi b'ebikolobero, akakiiko k'eby'okwerinda k'etaaga okuweereza embeera eno ku lutalo lwa Darfur mu Kkooti y'ensi yonna.

Ensonga y'okutulugunya abantu olw'ebyobufuzi mu Zambia, Takirambudde yagamba

Singa Poliisi ya Zambia elemererwa okukola okunoonyereza okw'omubunnambiro ku kutemulwa kw'abannabyabufuzi, okutulugunya abantu olw'ebyobufuzi mu Zambia kwali kujja kweyongerayo. Obwenkanya bulina okukolebwa eri abalumizibwa olw'olulumbagana luno wamu n'abanyu ba Zambia.

Ensonda ez'esigika

[kyusa | edit source]