Rema Namakula amanyikiddwa nga Rema muyimbi omukyala Munnayuganda.[1]
Rema yazaalibwa omugenzi Hamida Nabbosa n’omugenzi Mukiibi Ssemakula mu Lubaga Hospital, nga 24 April 1991.[2] Ye muggalanda mu famire ye. Yasomera ku Kitante Primary School mu masomo ge ag’eddaala erisooka. Yasomera ku st. Balikuddembe Senior Secondary School mu madaala ga ‘O’ ne ‘A’. Oluvannyumma,yeeyunga ku Kyambogo University.[2]
Yatandika okuyimba karaoke mu luwummula lwa ssiniya ey'omukaaga. Oluvannyuma, yatandika okukola nga kiyambi w'omuyimbi omulala omukyala omunayuganda Halima Namakula, eyafuuka mentor we mu maaso eyo.Yeeyongerayo n'ebyokuyimba nga akola nga kiyambi mu kuddamu ennyimba nga ayambako omuyimbi omulala munnayuganda Bebe Cool mu Gagamel, Bebe Cool's recording group. Mu 2013, Bebe Cool ,yali alaba tterefayina n’alengera Rema nga ayogera ku kutongoza alubaamu ye eya ssekinnoomu,ekintu Bebecool kye yali tamanyiiko n'olwensonga eyo yamugoba olwo Rema ne yeetongola ng’omuyimbi eyeemaliridde.Yafulumya "Oli Wange" olwawandiikibwa Nince Henry mu 2013 nga luno lwamwatiikiriza nnyo mu nsiike y'ebyokuyimba mu Uganda.[1]
Mu 2016, Rema Namakula yalondebwa okukiikirira Uganda mu Coke Studio Africa Sizoni eyookuna.Abayimbi bannayuganda abalala abaalondebwa mwe mwali Lydia Jazmine, Eddy Kenzo ssaako Radio ne Weasel.[3] Abeetabi abalala mu kuyitibwa kuno mwalimu 2Baba (2Face Idibia) okuva e Nigeria ne Trey Songz okuva mu United States.[4]
Rema Namakula yagwa mu mukwano n'omuyimbiEddy Kenzo ng'ekiseera kiyiseewo.[5]Rema Namakula yazaala omwana omuwala ku Paragon Hospital,mu kibuga Kampala ekirinaanye Bugoloobi. Kenzo (amannya amatuufu Edrisa Musuuza)alina kati omwana omulala(Maya Musuuza) gwe yazaala mu mukazi we eyasooka yakkiriza nti ye yali kitaawe w'omwana era n'amutuuma Aamaal Musuuza.[5] .[6]
(1) Oli Wange (2) Katonotono (3) Lean On Me (4) Lowooza Kunze (5) Deep in Love (6) Muchuuzi (7) Atuuse (8) Kukaliba (9) Fire Tonight (10) Ceaze and Sekkle ne (11) Banyabo.[7]
HiPipo Music Awards 2013: ze yawangula
Awaadi za HiPipo 2014: ze yawangula
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)
{{cite web}}
: Empty citation (help)