Ruth Doreen Mutebe Munnayuganda obumubazzi w'ebitabo, munnabizinensi, era akwasaganya ensonga z'abakungu, aweereza nga sentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku mbalirira y'omunda(Internal Audit) ku Umeme Limited, ekitongole ekisinga obunene mu Uganda.[1]
Yazaalibwa mu Uganda, circa 1976. Siniya ye yagisomera ku Tororo Girls School . Diguli ye eyasooka, ey'Okudukanya Bizinensi, yagifunila ku Yunivasitte y'eMakerere, Yunivasitte ya Gavumenti ya Uganda esinga obukulu n'obunene. Eyo yagigobereza n'okufuna satifikeeti nga omubazi w'ebitabo nembalira wa Gavumenti akakasiddwa (Certified Public Accountant), okuva mu kitongole ky'ababazi beebitabo abakakasidwa mu Uganda (Institute of Certified Public Accountants of Uganda.[2]
Diguli ye gyeyassooka okwongelako, ey'Obukugu mu Sayansi w'Empuliziganya za Tekinoloogiya (Master of Science in Information Technology, yamuweebwa essomero lya Wharton School of Business, mu Philadelphia, Pennsylvania, mu United States. Diguli ye eyokubiri gye yaddamu okwongerako, ey'Obukugu mu Sayansi wa Kompyuta yamuweebwa Yunivasitte ya Uganda Technology and Management University, Yunivasiite y'obwa nanyinni.
Mu 2003, yaweebwa omulimu nga omusomesa ku Multitech Business School, esangibwa ku senta yaabwe ey'okusomesa mu Soroti, nga aweereza mu busobozi obwo paka mu Gwekumineebiri 2005. Yakola nga siniya w'embalirira ne Kisaka and Company CPA, ekitongole kyabulijjo eky'ebuzibwaako mu by'embalira n'okudukanya ebitu. Mu mwaaka gumu, okuva mu Gwokubiri 2006 paka mu Gwokuna 2007, yaweereza nga sentebe w'akakiiko ke by'enfuna mu kitongole kya Excel Insurance Company Limited, okuva ku kitebbe kyaabwe ekikulu mu Kampala, Ekibuga kya Uganda ekikulu.
Mu mweezi Ogusooka 2008, Mutebe yaweebwa omulimu gwa sentebe w'akakiiko k'omunda akakola kubyenbalirira mu Finance Trust Bank, banka y'abasuubuzi (a retail commercial bank), nga aweereza mu busobozi obwa paka mu Gwomusavu 2016. Nga amaliriza okukola nga sentebe w'akakiiko k'embalira y'omunda ku Barclays Bank of Uganda, mu mwaaka gumu n'ekitundu, yaweebwa omulimu mukifo kyalimu kati mu Gwomusanvu 2018.
Mutebe ye mumyuuka wa Pulezidenti wa Institute of Internal Auditors Uganda, era wamu aweereza ng'omumyuuka wa Pulezidenti wa Institute of Certified Public Accountants of Uganda (ICPAU), omukyaala eyasooka okuweereza ku kifo kino, okuva ICPAU bweyatandikibwaawo mu mwaka gwa 1992.[3][4]