Sanctus Lino Wanok yazaalibwa nga 7 Ogwookunna 1957 ku kyalo Ukuru Pamach, mu Disitulikiti y'e Zombo, mu kitundu kya West Nile, mu kitundu ky'obukiikakkono bwa Uganda . Yafuuka Omulsumba w'Eklezia w'essaza ly'e Lira nga 9 ogwokubbiri 2019. [1]
Yatuuzibwa ku bu dyankoni nga 31 Ogwomunana 1986 mu Lutikko y'Abakatuliki e Edofe mu Arua . Yatuuzibwa kubusaserodoot nga 27 Ogwomwenda 1986 e Arua Omulabirizi Frederick Drandua . Yafuna diguli mu mateeka g’ennono okuva mu Pontifical Urban University e Roma. Yalondebwa okuba omusumba w’essaza ly’e Nebbi nga 8 Ogwokubbiri 2011, Paapa Benedict XVI n’atuuzibwa kubusumba nga 30 April 2011 e Nebbi. [2] [3]
Yalondebwa Paapa Francis okufuuka Omusumba w’essaza ly’e Lira nga 23 Ogwekkukminogumu 2018 n’atuuzibwa ng’Omusumba w’e Lira owokuna nga 9 Ogwokubbiri 2019 e Lira, n’adda mu bigere by’Omulabirizi Giuseppe Franzelli, eyali atuuse ku myaka 75 egy’okuwummula egy’ekiragiro.
Raphael p'Mony Wokorach ye Ssentebe omuggya ow'olukiiko olufuzi olwa Uganda Martyrs University 's Governing Council ng'adda mu bigere bya Wanok eyaweereza emyaka 8. Nga Ogwomunana, 2023, yatongozebwa ku Pope Paul Memorial Hotel, e Rubaga . [4]