Savio Kabugo (yazaalibwa nga 20 Ogusooka, 1995) muzannyi wa mupiira Munnayuganda nga mu kiseera kino azannyira jwaneng galaxy fc mu botswana.
Savio azannye omupiira gw'ensimbi mu kiraabu ez’enjawulo nga Victoria University SC, KCCA FC, URA FC era mu kiseera kino azannyira mu Proline FC.
Oluvannyuma lw'okuzannya obulungi mu Fufa Super League, Uganda Cup era ne mu Uganda, Savio yeefunira omukisa okugezesebwa mu Bidvest Wits mu Gwomukaaga, 2013. [1] Mu Gwomwenda, 2014 ng’ali ku ttiimu y’eggwanga Savio Kabugo yafuna obuvune era omupiira gwe yasembayo okuzannya mu kiraabu mu 2014 gwali mu Gwakkumineebiri nga bavuganya ne Bright Stars, gwe yasobola okuzannya oluvannyuma lw’okumira eddagala eriweweeza ku bulumi. [2]
Mu Gusooka, 2015 Savio yeegatta ku kiraabu ya Kampala City Council Authority [3] Savio Kabugo y'omu ku bazannyi ba KCCA FC abaafuna akabenje nga bagenda e Ntungamo nga beetegekera fayinolo ya Uganda Cup 2015 nga bavuganya SC Villa. [4]
Nga 4 Ogwekkumineebiri, 2015 Savio Kabugo yassa omukono ku ndagaano ya kiraabu ya URA ey'omwaka ogumu. [5] Kabugo yazannyira abasolooza emisolo emipiira mukaaga emijjuvu, URA bwe yakubwa kiraabu ya Express ggoolo 2-1 mu Gwokusatu, 2016 gwe mupiira gwe yasembayo okuzannya mu kiraabu ya URA. [6]
Mu Gwomunaana, 2016 Savio Kabugo yeegatta ku kiraabu ya Proline [7] Nga 18 Ogwekkumi, 2016 Savio Kabugo yateeba ggoolo ye esooka mu kiraabu ya Proline nga battunka ne kiraabu ya Sadolin paints mu kisaawe ky'e Kyabazinga e Bugembe. [8]
Mu Gwekkumineebiri, 2018, Savio yeegatta ku kiraabu ya AS Vita okuva mu SC Villa n'endagaano y'emyaka esatu. [9]
Nga 31 Ogwekkumi, 2019, Savio yeegatta ku kiraabu ya Sebeta City eya Ethiopia . [10]
Savio Kabugo yasooka okulabikirako ku ttiimu ya Uganda nga 6 Ogwokubiri, 2013 mu kisaawe ky'e Amahoro, Kigali mu mupiira gw’omukwano ogw’ensi yonna wakati wa Uganda ne Rwanda omupiira gwaggweera mu maliri 2-2. Kabugo yazannya ng'omuzibizi omukulu ne Denis Guma . [11] Savio Kabugo ajjukirwa nnyo olw’omutwe gwe yakuba ku ddakiika ey’omwenda ogwatuusa Uganda ku buwanguzi obw'amaanyi 1-0 nga bavuganya ne "Bannaghana" abaawagirwa ennyo mu mipiira egyakamalirizo mu mpaka z'okusunsula abeetaba mu kikopo ky'amwanga mu 2015 ezaayindira mu kisaawe ky'e Namboole. [12] Mu Gusooka, 2014, omutendesi Milutin Sedrojevic, [13] yamuyita okubeera ku ttiimu ya Uganda egenda okuzannya empaka z'amawanga ga Afrika eza 2014 . [14] [15] Ttiimu eno yakwata kya kusatu mu kibinja ky'empaka zino oluvannyuma lw'okuwangula Burkina Faso, okukola amaliri ne Zimbabwe n'okuwangulwa Morocco . [16] [17]
Savio Kabugo ye yali Omuzira nga Uganda ekuba Ghana ggoolo 1-0 e Namboole mu mupiira gwa AFCON Qualifier mu Gwekkuminogumu, 2014. Ggoolo ye ye yateeba n'omutwe yayamba ttiimu y'eggwanga (Cranes) okufuna obuwanguzi obwali bwetaagibwa ennyo. Ku ebyo kw’ogatta nti bulijjo yabuukanga mu bbanga okufuna omupiira era emirundi egisinga yagufunanga.. Ng’akozesa omubiri gwe, yali musajja wa kiwago ddala okuyitako omwali okusimba amakuuli n'okunyakula omupiira bye yawangulanga. [18] Oluvannyuma lw’omupiira gwa Uganda ne Togo mu kisaawe e Namboole, omuzibizi wa Cranes, Savio Kabugo yaweebwa omujoozi gw’omupiira era n’engatto z'omupiira okuva ewa Emmanuel Adebayor mu kasenge ka Cranes akambalirwamu oluvannyuma lw’okumusanyusa ng'asamba omupiira. [19]
omuwendo | Olunaku olw'omweezi | Ekifo | Omuvuganya | Okuteeba | Alizaati | Empaka |
---|---|---|---|---|---|---|
1. 1. . | 15
Ogwekkuminoogumu 2014 |
Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | </img> Ghana | 1 –0 | 1–0 | Okusunsulamu abasunsuddwa mu mpaka za Afrika eza 2015 |
Savio Kabugo yafiirwa bazadde be bombi ku myaka emito. [20] Kizibwe wa Ivan Bukenya, omuzannyi w’omupiira omukugu mu Uganda eyazannyirako Kaizer Chiefs mu liigi y’omupiira eya South Afirika.
SC Yunivaasite ya Victoria
Ssekinnoomu
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)