Shamirah Nabadda (yazaalibwa 26 September 1991) ddiifiri w'omupiira ogw'ebigere mu ggwanga Uganda. [1]
Nabadda yazaalibwa n'akulira mu kibuga Mbarara mu Uganda . Nabadda mwana wakusatu ku baana mukaaga ab'omwami Quraish Mutagubya n'omukyala Mastula Birungi. [2]
Nabadda yasomera mu Masaka SS gye yamalira siniya ey'omukaada era nafuna Uganda Advanced Certificate of Education . Yali mu ttiimu y’omupiira eyessomero era yazannyanga ng’omuzibizi ku ludda olwa kkono mu biseera bye ebya siniya. [3]
Oluvannyuma Nabadda yeegatta ku Western United eyazannyira mu liigi y’abakyala (FWEL) ey’oku ntikko. Olugendo lwe olw’obwa ddiifiri lwatandika bweyalamula mu ngeri eyasikiriza Abbas Sendyowa eyali omukungu wa FUFA mu Mbarara era nga ono mukwano gwa famire Nabadda mwasibuka ow’oku lusegere. Ono oluvanyuma yasemba Nabadda okugenda okusoma mu kkoosi ennyimpi ey’obwa ddiifiri ku FUFA Technical Centre e Njeru .
Mu 2018, yafuna Baaji ya Fifa . Nabadda yalamula omupiira gwe ogwasooka ku ddaala lyensi yonna mu mpaka ez'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za African Women's Championship era nga omuzannyo gwali wakati wa South Afrika ne Lesotho .
Nabadda yalondebwa okubeera omu kuba ddiifiri abaalamula mu mizannyo gya Olympics mu kibuga Paris mu mwaka 2024. Era nga baddiifiri 21, n'abayambi baabwe 42, kwossa abakugu mu kwekenneenya obutambi bwa vidiyo 20 ne baddiifiri 6 abayambi bebeetaba mu mpaka zino. Banno abaakola omugatte gwabantu 86 baava mu mawanga 45 okwetoloola ensi era nga kubbi 10 bokka bebaava ku lukalu lw'omuddugavu baava Afrika era nga yekka eyava mu Uganda ekyamufuula omukyala asooka okuva mu ggwanga Uganda okulamula emizannyo gya Olympics . Mu mpaka zino ye ne ba ddiffiri abalala basatu okuva mu Africa baakola nga ba ddifiiri abayambi[4] [5] [6]
Mu 2022, yalondebwa ekibiina ekiddukanya omupiira mu Afirika ki CAF okubeera omu ku ba ddiifiri 40 abaalamula mu mpaka zabakyala ez'omupiira ku lukalu lwa Afirika eziyitibwa Africa Women Cup of Nations ezaali e Morocco era yalondebwa ne mu mpaka za African Women’s Champions League eza 2023 ezaali mu Cote d’Ivoire wakati wa 5th ne 19th November. [7] [8]
Nabadda yasoma obwa ddiifiri ku FUFA Technical Center e Njeru era nga gye yatandikira olugendo lwe olw’okulamula nga alamula mu mpaka z’omupiira ku mitendera egya wansi.
Nabadda yatandika okusuumusibwa mu mwaka 2016 bwe yalondebwa okulamula empaka z’amasomero ezisinga obuganzi mu Uganda ezimanyiddwa nga Copa Coca-Cola. Oluvannyuma nalondebwa nga ddiifiri eyasinga abalala mu mpaka z’emipiira gw’amasomero ez’abawala.
Nabadda yafuna bbaagi ya Fufa, omutendera ogusinga okuba ogwawaggulu mu baddiifiri e Uganda era n'asumuusibwa okutandika okulamula empaka eziddirira liigi ya Uganda enkulu eziyitibwa FUFA Big League . Wano weyava oluvannyuma lwokwolesa omutindo omulunji okutandika okulamula mu liigi ya Uganda Premier .
Nabadda okutwalibwa mu mizannyo gya Olympics e Paris nakyo kya byafaayo kuba kyamufuula ddiifiri Munnayuganda owookubiri okulamula mu mizannyo gino nga eyasooka yali Ali Tomusange, eyalamula ezaali e Sydney, Australia, mu mwaka 2000. Kino era kyamufuula ddiifiri munnayuganda omukyala eyasooka okulamula mu Olympics zonna.
Nabadda era yalondebwa FIFA ng'omu ku bakungu abagenda agenda okulamula mu mpaka z'ensi yoona ezabawala abali wansi w'emyaka 17 zi FIFA U-17 Women's World Cup e Dominican Republic nga 6th October okutuuka nga 3rd November 2024. [9]