Sheebah Karungi Mukyala munnayuganda eyazaalibwa 11 Novemba wa 1989. Ono y'omu ku bakyala abayimbi era nga batutumufu mu ggwanga Yuganda. Nga ojeeko okuyimba, Sheebah era muzinyi, munnakatemba era mulwanirizi wa ddembe lyabakyala. [1] Nga munnakatemba Sheebah yalabikira mu firimu ya Queen of Katwe mweyawebwa obuvunaanyizibwa okuzannya nga 'Shakira'. Nga omuzinyi ono yali mu kibiina ki Obsessions nga kino yakyegattako mu mwaka 2006 wabula oluvanyuma yakyabulira naatandika okufulumya ennyimba kuluwe era nga olwasooka okucaaka n'okumanyisa ennyo mu bantu lwelwo lweyatuuma "Ice Cream". [2]Oluyimba luno okumanya lwakwata abantu omugamba kyamuleetera n'okuwangula engule mu HiPipo Music Awards ey'omukyala eyasinga okuyimba mu mwaka 2015. Oluvunyuma engule yemu yajeeyongeza mu mwaka 2016, 2017, ne 2018. Era naawangula n'engule endala nnyinji eza HiPipo Music Awards[3].
Sheebah Karungi yazaalibwa era y’akuzibwa maama we yekka e mu ggombolola Kawempe mu kibuga Kampala. [4] Ono emisomo gya Pulayimale yajisommera ku Kawempe Muslim Primary School nga awo weyava okweyunga ku ssomero Midland High School, Kawempe okukwasaganya emisomo gya siniya wabula nga teyasobola kujimalako era naawandukira mu siniya ey’okubiri. [5] Ku myaka 15 ku kibiina ky'amazina ekiyitibwa Stingers oluvannyuma kyeyayabulira neyeggata ku Obsessions Music Group mu 2006. [6] Mu Obsessions yafuna gyefunira obwagazi obwamanyi n'ekinyegenyege eky'okuyimba era nga yakwatirayo entambi z'ennyimba bbiri nga tannakyabuulira okutandika okuyimba olugendo lw'okuyimba yekka. [7] [8]
Oluvanyuma lw'okwabulira Obsesions mu mwaka 2010, Sheebah yafulumya oluyimba lwe olwasooka nga ali yekka lweyatuuma "Kunyenyenza", era nga luno lwakolwa Pulodyuusa wenyimba omututumufu Washington era nga lwawandiikibwa Cindy kuluno yagattako olulala lweyatuuma "Bulikyenkola", nga luno yalukola ne KS Alpha wamu ne Prince Fahim nga ku luno kweyagatta "Baliwa" lweyayimba ne Coco Finger. Omulimu gwe ogw'okuyimba yeka gwafuna enkyukakyuka ennene bweyafulumya "Automatic" olw'awandiikibwa Sizzaman. Ku buwanguzi bwa "Automatic", yaddamu okukwatagana ne Sizzaman okufulumya "Ice Cream" era nga luno lwasasaana nnyo era nelubuna amayengo ga laadiyo ne terefayina ennene mu ggwanga. Oluvanyuma lwa 'Ice Cream' okucaaka Sheebah teyadda mabega era okwo yayongerezako oluyimba olulala olwakwatayo lweyatuuma "Twesana". [9] [10]
Mu 2014, yafulumya pulojekiti ye ey'omuziki eyasooka, Ice Cream, EP ey'ennyimba ttaano nga mulimu ennyimba ezaakwatayo omuli "Ice Cream" ne "Jordan". EP eno yasiimibwa nnyo era n’emuyamba okuwangula engule y'omuyimbi omukyala asinga mu mpaka za HiPipo Music Awards eza 2014 ne 2015.
Pulojekiti ye eyookubiri yatuumiddwa Nkwatako . [11]
Sheebah yategeka ekivvulu kya Nkwatako mu 2016 n'ekivvulu ky'Omwoyo 2018 ku Hotel Africana mu Kampala. Ebivvulu byombi byategekebwa abaali baddukanya emirimu gye mubuddde obwa aba Team No Sleep wansi wa Maneja wabayimbi omututumufu Jeff Kiiwa. Ekivvulu ky'Omwoyo kyayiyizibwa Cathy Patra ayiiya era alabikira mu vidiyo ze ezisinga obungi. Ku kivvulu kye ekyokubiri, eky'Omwoyo, Sheebah yavumirirwa olw’ebigambibwa nti yayolesa obunaffu mu kuyimba kwe nga ali ku siteegi. [12] [13]
Sheebah nga ojeeko okuba omuyiiya era mukyala munnabizinensi. Mu nteekateeka ye eya Sheebah Investments, agguddewo bizinensi eziwerako okwetoloola Kampala omuli The Red Bar, Red Events (omuzinyi Cathy Patra naye nga beba nnanyini), bizinensi etunda enviiri eyitibwa Sheebah by Natna, Holic Pads n’endala. [14] [15] Sheebah era alina ennyumba e munyonyo mu kampala nga kw’ogasse n’eryato.
Sheebah Karungi yafulumya akatambi ku mikutu gye gi mugatta bantu nga ayolesa obutali bumativu n'engeri omusajja omu gw'atayatuukiriza manya gwe yagamba nti yagezaako okumukwatirira awamu n'okumukabasanya ekikolwa ekitali kyabugunjufu. Ono mu mboozi ye yalambulula nti bino byamubaako mu kifo ekimu bweyali agenze okuyimba omusajja on gweyayogerako nti [16]yalina nabakuumi abali bakutte emmundu bwe yagezaako okumukabasanya n'okumusendasenda mu bikolwa ebyomukwano nga tannayimba. [17] Neewankubadde nga abantu banji baalajanira Sheebah ayatuukirize amanya g'omusajja oyo, Sheebah yeerema era nakisigaza nga kyama [18]
Omwaka | Erinnya | Obuvunaanyizibwa | Abatutumufu abalala abaalimu |
---|---|---|---|
2016 | <i id="mwhA">Nnabagereka Wa Katwe</i> | Shakira | Lupita Nyong'o, David Oyelowo ne Madina Nalwanga |
Omwaka | Omukolo gw'engule | Ekirabo | Eyagifuna oba eyagimufulinra | Result | Ref |
---|---|---|---|---|---|
The Uganda Music Awards | Omuyimbi w'omwaka omukyala | Ye Kenyini | Yawangula | [20] | |
2018 | Abryanz styles and fashion awards | Vidiyo y'omuziki esinga omutindo mu kwambala | Ye Kenyini/mummy Yo | Template:Nom | [21] |
2017 | Zzina Awards | Omuyimbi w'Omwaka | Ye Kenyini | Yawangula | [22] |
Omuyimbi w'omwaka omukyala | Ye Kenyini | Yawangula | [22] | ||
Enkwatagana y'omwaka | Sheebah & Ykee Benda | Yawangula | [22] | ||
Abryanz Style and Fashion Awards | Vidiyo y'omuziki esinga omutindo mu kwambala mu Uganda | "The Way" | Template:Nom | ||
2016 | Omuyimbi omukyala asinga okumanya emisono mu Uganda | Template:Nom | |||
[./Https://en.wikipedia.org/wiki/2016_Nigeria_Entertainment_Awards 2016 Nigeria Entertainment Awards] | Omuyimbi omukyala asinga mu Afirika | Ye Kenyini | Template:Nom | [23] | |
Zzina Awards | Omuyimbi w'omwaka omukyala | Template:Won | [24] | ||
4th HiPipo Music Awards | Template:Won | [25] | |||
Omuyimbi asinga | Template:Nom | [26] | |||
Best Afropop Song | "Nipe Yote" | Template:Nom | [26] | ||
"Otubatisa" | Template:Nom | [26] | |||
Vidiyo esinga mu buvanjuba bwa Afirika | "Siri Zari" | Template:Nom | [26] | ||
Vidiyo Y'Omwaka | Template:Won | [27] | |||
Uganda Entertainment Awards 2016 | Omuyimbi w'omwaka omukyala | Ye Kenyini | Template:Won | [28] | |
Omuyimbi w'Omwaka | Template:Nom | [28] | |||
Best Dance/Live Performance | Template:Nom | [29] | |||
Best Dancehall Artist | Template:Nom | [29] | |||
Vidiyo Y'Omwaka | "Nkwatako" | Template:Nom | [30] | ||
2015 | 3rd HiPipo Music Awards | Omuyimbi w'omwaka omukyala | Ye Kenyini | Template:Won | [31] |
Omuyimbi w'Omwaka | Template:Nom | [32] | |||
Ekolagana y'abayimbi esinga | Ye ne Pallaso | Template:Nom | [32] | ||
Oluyimba lw'Omwaka | "Twesana" | Template:Nom | [32] | ||
Best Ragga Dancehall Song | "Mundongo" with Pallaso | Template:Nom | [32] | ||
Best Afrobeat Song | "Twesana" | Template:Nom | [32] | ||
Best Afropop Song | "Go Down Low" with Pallaso | Template:Won | [33] | ||
Uganda Entertainment Awards 2015 | Omuyimbi w'omwaka omukyala | Ye Kenyini | Template:Won | [34] | |
Best Dancehall Artist | Template:Nom | [35] |