Stella Arach-Amoko

 

Mary Stella Arach-Amoko (16 Ogwokuna 1954 – 17 Ogwomukaaga 2023) yali Munnayuganda, Mulamuzi eyaweereza ng'omulamuzi wa Kkooti ya Uganda Ensukkulumu okuva nga 20 Ogwomukaaga 2013 okutuusa nga 17 Ogwomukaaga 2023.[1]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Arach-Amoko yaweereza mu kkooti y'omuwolereza wa Gavumenti okuva mu 1979 okutuusa mu 1997, nga y'ava ku kifo ky'omuwaabi wa Gavumenti n'afuuka Kaminsona w'emisango egilimu okuliyirirwa. Mu 1997, yalondebwa ng'omulamuzi wa Kkooti enkulu nga yaweereza okutuusa mu 2010.[2]

Arach-Amoko yaweereza mu kkooti ya East African Court of Justice ng'omulamui okuva mu 2006 okutuusa mu 2008, era okuva mu 2008 n'okutuusa mu 2013, Ng'omuyuka w'omulamuzi wa Divizoni ya Kkooti esookerwamu. Mu 2010, yali omu ku bannamateeka abalabwamu obusobozi okuva mu kakiiko k'essiga eddamuzi nga 'omu ku basunsulwa okubeera Omulamuzi wa Uganda omukulu .

Wakati w'Ogwokuna nga 15 2018 ne 14 Ogwokuna 2020, Arach-Amoko yaweereza nga ssentebe w'akakiiko k'aba mmemba mwenda abakwasaganya ettendekero lya Uganda's Law Development Centre.[3] Mu 2010 yalondebwa okugenda mu Kkooti ya Uganda ejulirwamu.[4]

Mu biseera bye, Arach-Amoko yali akwasaganyiza emisango egiwerako. Mu 2006, yagoba omusango gwa munnakibiina kya National Resistance Movement Francis Babu eyali awakanya obuwanguzi bwa Erias Lukwago ng'omubaka mu Paalamenti owa Kampala Central Division. Mu 2012, mu kkooti ejulirwamu, yakola okusalawo okwasazaamu obuwanguzi bwa mmemba wa NRM Faisal Kikulukunyu ng'omubaka mu Paalamenti ow'Essaza lye Butambala. Okusalawo kuno kwaganyula Muhammad Muwanga Kivumbi owa Democratic Party.

Ebimukwatako eby'omunda n'okufa kwe

[kyusa | edit source]

Arach-Amoko yali mufumbo eri Ambassada Idule Amoko ng;ono okuva mu Gwokuna 2019 okutuusa kakaano, yali omumyuka w'akulira misoni ku Kitebe kya Uganda mu Addis Ababa, Ethiopia.[5][6]

Stella Arach-Amoko yafiira mu Kampala nga 17 Ogwomukaaga 2023, ku myaka 69. Yazaala abaana basatu.[7] Omu ku bbo ye Ivy Amoko.[8]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-05. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://medium.com/@princemulindwaisaac/profiling-the-justices-of-the-supreme-court-the-career-side-b3a3d0e02bc9
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-12-03. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-16. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://observer.ug/news/headlines/60492-mabirizi-returns-to-supreme-court-in-new-age-limit-petition
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-25. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/supreme-court-judge-arach-amoko-dies-at-69-4273220
  8. http://kawowo.com/2014/01/06/ivy-amoko-a-chess-playing-law-clerk/