Supra Agarwal née Singhal (yazaalibwa 2 Ogwokusatu 1982, mu Kampala ) yali muwuzi wa Uganda ne Buyindi, nga yakuguka mu mpaka za sprint freestyle. Yavuganya mu misinde gya mmita 100 egy'abakazi ku mutendera ogwa freestylemu mpaka za Olypics mu 2000.
Singhal yavuganya ne Uganda mu misinde gya mmita 100 egy'abakazi ku mutendera ogwa freestyle ku mpaka zaOlympics mu 2000 e Sydney . Yafuna tikiti okuva mu FINA, wansi wa pulogulaamu ya Universality, mu budde bw’okuyingira obwa 59.20. Yasoomoozezza abawuzi abalala musanvu mu bbugumu erisooka okuli Maria Awori ow’emyaka 15 owa Kenya Nathalie Lee Baw ow’e Mauritius. Ng’ayingira empaka zino yakozesanga sipiidi okusimbula, yazirika n’akwata ensigo ey’omukaaga mu budde obubi obwa 1:08.15. Okuwuga kwa Singhal nakwo kwali kubuutikidwa omusujja n’okulumizibwa mu mikono ekyakendeeza ku budde bw’okutendekebwa obulungi n’okubisaako ebirowoozo. Singhal yalemererwa okutuuka ku semi, bwe yakwata ekifo kya ataano mu bibiri okutwalira awamu mu mpaka za prelims.
Mu kusooka, Supra yali nnantameggwa wa Uganda okumala emyaka 4 okuva mu 1996 okutuuka mu 2000. Yafuna emidaali gya zaabu 12 mu mpaka z’okuwuga eza East Africa ezaali e Mombasa mu Kenya mu 1997. Supra era yakiikirira Uganda mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu kibuga Kuala Lumpur ekya Malaysia mu 1998.
Mu kiseera kino Supra abeera mu New Delhi era ng’ali wamu ne bba Varun Agarwal, alina bizinensi z'ebirabo by'emmere mu Delhi eyitibwa Not Just Paranthas (NJP).