Vincent Kayizzi (eyazaalibwa nga 6 Ogwokusatu 1984) munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'ebigere ogw'ensimbi azannyira OC Bokavu Dawa.
Kayizzi yatandika okuzannyira mu ttiimu ya Uganda Super League eya Kampala City Council FC. Mu sizoni ya 2006/07 yazannyirako mu ttiimu ey'amaanyi mu Rwanda eyitibwa APR FC. Mu Gwolubereberye 2009 yagenda e Bulaaya okuzannyira mu ttiimu yaLiigi ya Serbia ey'oku ntikko (Serbian second tier) FK Srem, ttiimu eyasooka mu Bulaaya okuleeta abazannyi Abannayuganda, nga Nestroy Kizito ne Phillip Ssozi. Yeeyongera okuzannyirako ttiimu endala mu Bulaaya, ng'azannyira Motor Lublin mu sizoni ya 2012-13 mu Polish Second League.[1]
Kayizzi azannyidde ttiimu ya Uganda ey'eggwanga okuva mu 2004, era okutuuka mu 2014, yaakazannya emipiira 40 n'ateeba ggoolo 4.[2]