Zari Hassan

Zarinah Hassan yazaalibwa nga 23 Ogwomwenda 1980, amanyiddwa nga Zari Hassan, oba Zari the Boss Lady, munnyuganda omukyakaze, omuyimbi era omukyala omusuubuzi abeera mu South Africa, era gy'akolera emirimu gye..

Ye yasikira era avunaanyizibwa ku kukuuma erinnya ly'ekitongole ekya Brooklyn City College (BCC), ekitongole ky'ebyenjigiriza ekikyasinze okukulaakulana mu South Africa kye yatandikawo n'omwami we omugenzi Ivan Ssemwanga. BCC yasigaza ekitebe kyayo ekikulu mu Pretoria, n'amatabi mu Polokwane, Durban, Johannesburg, Nelspruit, Vereeniging ne Rustenburg.

Hassan yakomawo mu Uganda mu 2000, oluvannyuma lw'emyaka ebiri mu Bungereza. Oluvannyuma yagenda e South Africa gye yasisinkana era n'afumbirwa Ivan Semwanga. Baalina abaana basatu. Bayawukana mu 2013 oluvannyuma lwa Hassan okuvunaana Semwanga olw'okumuvuma.

Mu Ogw'okutaano 2017, Semwanga yafuna obulwadde bw'okusannyalala obw'amaanyi era n'aweebwa ekitanda mu ddwaliro lya Steve Biko Academic Hospital. Yafa nga 25 Ogwokutaano 2017. Yaziikibwa mu Uganda.

Oluvannyuma lw'olumbe, Hassan yakomawo e South Africa okulabirira bizinensi ze n'emmaali y'omugenzi bba. Alina abaana babiri n'omuyimbi owe Tanzania Diamond Platnumz .

Ebyawandiikibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]