Zarina Bhimji (yazalibwa mu 1963[1]) Muyindi nga nzaalwa y'omu Uganda era nga mukubi wa bifaananyi awangalira mu Bungereza. Yalondebwa okwetaba mu mpaka za Turner Prize mu 2007,[2] ekyayolesebwa ku Documenta 11 mu 2002,[3] era akiikirirwa mu bifaananyi bya Tate, mu Kkaddiyizo lya Museum of Contemporary Art mu Chicago ne Moderna Museet mu Stockholm.
Yazaalibwa mu Mbarara, Uganda, Bhimji yasomera ku Leicester Polytechnic (1982–1983), Goldsmiths' College (1983–1986) ne Slade School of Fine Art, University College London (1987–1989).[4] Emirimu gye gyalabikirako mu Creative Camera mu Gwokuna 1990,[5] ne mu katabo ka landmark issue of Ten.8 mu myaka gya 1992.[6]
Mu 2001, Bhimji y'ategeka omwoleso gwe ogwasooka mu U.S., Cleaning the Garden, ku terekero ly'ebifaananyi erya Talwar Gallery, New York[7] era n'awangula awaadi ya EAST award ku EASTinternational ng'abasunsuzi kwaliko Mary Kelly ne Peter Wollen.[8]
Yetaba mu mpaka z'okwolesa eza documenta 11 ez'anyinyitira okuva mu Gwomukaaga okutuusa mu Gwomwenda 2002 ne filimu ye eya 16 mm.[9]
Okuva mu 2003 okutuusa 2007, yatambula ensi eziwerako omuli India, East Africa ne Zanzibar, ng'ayekkenyenya ebiwandiiko by'amateeka n'emboozi z'abo abatandiikawo obufuzi bw'amatwale mu nsi ezo ng'ayita mu kufuna emboozi eyakafubo n'abantu ab'enjawulo saako n'okukuba ebifaananyi.[10]
Mu 2003 Bhimji yafuna Awaadi y'omukubi w'ebifaanyi asinze mu mpaka za International Center for Photography's, Infinity Award.[11]
Mu 2007, yalabikira ku lukalala lw'abakubi b'ebifaananyi olwa Turner Prize okuva mu Uganda. Omulamwa gwaabwe gwali gukwata ku kugobebwa kw'Abayindi okuva mu Uganda nga bagobebwa Idi Amin saako okufiirizibwa n'ennaku ebyaddirira.[12] Ebifaananyi by'ayolesebwa mu Tterekero ly'ebifaananyi erya Haunch of Venison mu Bungereza ne Zurich. Ebimu ku byeyayolesa mu Turner Prize mwalimu filimu ya Waiting, eyakwatibwa mu kkolero erifulumya emiguwa erya sisal-processing factory.
Etterekero ly'ebifaananyi erya Tate linyonyola emirimu gye:
Mu 2012, okwolesa kw'emirimu gye okw'amaanyi kwategekebwa ku Tterekero ly'ebifaananyi erya Whitechapel Gallery, London, Ogusooka–Ogwokusatu 2012, okwalaga emirimu gye okumala emyaka 25. Kwatandiika n'okutongoza filimu ye, Yellow Patch (2011), ku The New Art Gallery Walsall[13] ne Whitechapel Gallery. Filimu yasinzira ku by'obusuubuzi n'okutambula kw'abantu ebikolebwa ku Ssemayanja wa India. Nga ekifaananyi ekimanyikiddwa nga monograph kyafulumizibwa aba Ridinghouse.[14]
Nga mulimu ebifaananyi ebisoba mu 100 ebitawangibwa, Lead White kwefumitiriza ku buyinza n'obulungi. ye ntikko y'okunonyereza okwali kumaze ebbanga ly'abyasa okwetoloola ensi yonna, okunoonyereza okuva mu materekero g'ebiwandiiko by'Amawanga ag'enjawulo okufuna obuvo bw'ebigambo,emisittale, ne sitampu. Bhimji awandiika ebitontome ng'ayita mu kutereza n'okuddigana ebiwandiiko ebyo, ng'ateekateeka ebiyiiye okuyita mu nyimba okwongera okuvumbula ebya amaterekero g'ebiwandiiko ky'egakola, engeri gy'ebasunsulamu n;okulaga ebiwandiiko by'amatendekero. Emirimu gino gy'etobesemu enkola y'emitimbagano n'ebibumbe omuli okutunga engoye nga guno gwegali omulundi gwa Bhimji ogwasooka nga agenderera okuteeka essira ku ndabika y'olugoye n'emiwatwa, ekitangala n'ebisiikirize. Omulimu gwe ogusembyeyo ogwa, Lead White gwasabibwa aba Sharjah Art Foundation.[15] Lead White yayolesebwa mu Tate Britain mu 2018/19.[16]
Emirimu gya Bhimji giterekebwa mu materekero gano wammanga:
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Lua error: Invalid configuration file.